< 歷代志上 3 >

1 大衛在希伯崙所生的兒子記在下面:長子暗嫩是耶斯列人亞希暖生的。次子但以利是迦密人亞比該生的。
Bano be baana Dawudi be yazaalira mu Kebbulooni: Omuggulanda ye yali Amunoni gwe yazaala mu Akinoamu Omuyezuleeri; owookubiri ye yali Danyeri gwe yazaala mu Abbigayiri Omukalumeeri;
2 三子押沙龍是基述王達買的女兒瑪迦生的。四子亞多尼雅是哈及生的。
owookusatu ye yali Abusaalomu gwe yazaala mu Maaka muwala wa Talumaayi kabaka w’e Gesuli; n’owookuna ye yali Adoniya gwe yazaala mu Kaggisi.
3 五子示法提雅是亞比她生的。六子以特念是大衛的妻以格拉生的。
Owookutaano ye yali Sefatiya, gwe yazaala mu Abitali n’ow’omukaaga nga ye Isuleyamu gwe yazaala mu Egula.
4 這六人都是大衛在希伯崙生的。大衛在希伯崙作王七年零六個月,在耶路撒冷作王三十三年。
Bano omukaaga Dawudi be yazaalira mu Kebbulooni, gye yafugira emyaka musanvu n’emyezi mukaaga. Dawudi yafugira mu Yerusaalemi emyaka amakumi asatu mu esatu,
5 大衛在耶路撒冷所生的兒子是示米亞、朔罷、拿單、所羅門。這四人是亞米利的女兒拔‧書亞生的。
era bano be baana be yazaalira eyo: Simeeyi, ne Sobabu, ne Nasani, ne Sulemaani be yazaala mu Besusebba muwala wa Amiyeeri.
6 還有益轄、以利沙瑪、以利法列、
N’abalala baali Ibukali, ne Erisaama, ne Erifereti,
7 挪迦、尼斐、雅非亞、
ne Noga, ne Nefegi, ne Yafiya,
8 以利沙瑪、以利雅大、以利法列,共九人。
ne Erisaama, ne Eriyada, ne Erifereti, bonna awamu mwenda.
9 這都是大衛的兒子,還有他們的妹子她瑪,妃嬪的兒子不在其內。
Bano bonna be baali batabani ba Dawudi, obutabala batabani be abalala aba bazaana be. Tamali ye yali mwannyinaabwe.
10 所羅門的兒子是羅波安;羅波安的兒子是亞比雅;亞比雅的兒子是亞撒;亞撒的兒子是約沙法;
Mutabani wa Sulemaani yali Lekobowaamu, ne Abiya nga ye mutabani wa Lekobowaamu, ne Asa nga ye mutabani wa Abiya, ne Yekosafaati nga ye mutabani wa Asa,
11 約沙法的兒子是約蘭;約蘭的兒子是亞哈謝;亞哈謝的兒子是約阿施;
ne Yolaamu nga ye mutabani wa Yekosafaati, ne Akaziya nga ye mutabani wa Yolaamu, ne Yowaasi nga ye mutabani wa Akaziya,
12 約阿施的兒子是亞瑪謝;亞瑪謝的兒子是亞撒利雅;亞撒利雅的兒子是約坦;
Amaziya nga ye mutabani wa Yowaasi, ne Azaliya nga ye mutabani wa Amaziya, ne Yosamu nga ye mutabani wa Azaliya.
13 約坦的兒子是亞哈斯;亞哈斯的兒子是希西家;希西家的兒子是瑪拿西;
Akazi yali mutabani wa Yosamu, ne Keezeekiya nga ye mutabani wa Akazi, ne Manase nga ye mutabani wa Keezeekiya.
14 瑪拿西的兒子是亞們;亞們的兒子是約西亞;
Amoni yali mutabani wa Manase, ne Yosiya nga ye mutabani wa Amoni.
15 約西亞的長子是約哈難,次子是約雅敬,三子是西底家,四子是沙龍。
Batabani ba Yosiya baali Yokanaani omuggulanda, ne Yekoyakimu ye yali owookubiri, ne Zeddekiya nga wa wakusatu, ne Sallumu nga wakuna.
16 約雅敬的兒子是耶哥尼雅和西底家。
Batabani ba Yekoyakimu baali Yekoniya ne Zeddekiya.
17 耶哥尼雅被擄。他的兒子是撒拉鐵、
Abaddirira mu lulyo lwa Yekoniya omuwambe be ba: Seyalutyeri mutabani we,
18 瑪基蘭、毗大雅、示拿薩、耶加米、何沙瑪、尼大比雅。
ne Malukiramu, ne Pedaya, ne Senazzali, ne Yekamiya, ne Kosama ne Nedabiya.
19 毗大雅的兒子是所羅巴伯、示每。所羅巴伯的兒子是米書蘭、哈拿尼雅,他們的妹子名叫示羅密。
Batabani ba Pedaya baali Zerubbaberi ne Simeeyi. Batabani ba Zerubbaberi baali Mesullamu ne Kananiya, ne Seronisi nga ye mwannyinaabwe.
20 米書蘭的兒子是哈舒巴、阿黑、比利家、哈撒底、于沙‧希悉,共五人。
N’abalala abataano be yazaala baali Kasuba, ne Okeri, ne Berekiya, ne Kasadiya ne Yusubukesedi.
21 哈拿尼雅的兒子是毗拉提、耶篩亞。還有利法雅的眾子,亞珥難的眾子,俄巴底亞的眾子,示迦尼的眾子。
Batabani ba Kananiya baali Peratiya ne Yesukaya, ne mutabani wa Yesukaya nga ye Lefaya, ne mutabani wa Lefaya nga ye Alunani, ne mutabani wa Alumani nga ye Obadiya, ne mutabani wa Obadiya nga ye Sekaniya.
22 示迦尼的兒子是示瑪雅;示瑪雅的兒子是哈突、以甲、巴利亞、尼利雅、沙法,共六人。
Ab’olulyo lwa Sekaniya baali Semaaya mutabani we, ng’abazzukulu be ba Kattusi, ne Igali, ne Baliya, ne Neyaliya, ne Safati. Abazzukulu bonna awamu baali mukaaga.
23 尼利雅的兒子是以利約乃、希西家、亞斯利干,共三人。
Batabani ba Neyaliya baali Eriwenayi, ne Kizukiya, ne Azulikamu, be baana basatu bonna awamu.
24 以利約乃的兒子是何大雅、以利亞實、毗萊雅、阿谷、約哈難、第萊雅、阿拿尼,共七人。
Batabani ba Eriwenayi baali Kodaviya, ne Eriyasibu, ne Peraya, ne Akkubu, ne Yokanaani, ne Deraya ne Anami, be baana musanvu.

< 歷代志上 3 >