< 歷代志上 25 >

1 大衛和眾首領分派亞薩、希幔,並耶杜頓的子孫彈琴、鼓瑟、敲鈸、唱歌。他們供職的人數記在下面:
Awo Dawudi n’abaduumizi b’eggye, ne baawula abamu ku batabani ba Asafu, n’aba Kemani, n’aba Yedusuni okuweereza, n’okukola obunnabbi, nga bwe bakuba ennanga, n’entongooli, n’ebitaasa. Olukalala lw’abasajja abaakolanga omulimu ogw’okuweereza okwo, lwali:
2 亞薩的兒子撒刻、約瑟、尼探雅、亞薩利拉都歸亞薩指教,遵王的旨意唱歌。
Ku batabani ba Asafu: Zakkuli, ne Yusufu, ne Nesaniya ne Asalera, era abo nga bakulirwa Asafu, eyakolanga ogw’obunnabbi, ate ye ng’akulirwa kabaka.
3 耶杜頓的兒子基大利、西利、耶篩亞、哈沙比雅、瑪他提雅、示每共六人,都歸他們父親耶杜頓指教,彈琴,唱歌,稱謝,頌讚耶和華。
Ku batabani ba Yedusuni: Gedaliya, ne Zeri, ne Yesaya, ne Simeeyi, ne Kasabiya ne Mattisiya, be mukaaga awamu, nga bakulirwa kitaabwe Yedusuni, eyakolanga ogw’obunnabbi, nga bw’akuba n’ennanga nga beebaza n’okutendereza Mukama.
4 希幔的兒子布基雅、瑪探雅、烏薛、細布業、耶利摩、哈拿尼雅、哈拿尼、以利亞他、基大利提、羅幔提‧以謝、約施比加沙、瑪羅提、何提、瑪哈秀;
Ku batabani ba Kemani kabona wa kabaka: Bukkiya, ne Mattaniya, ne Wuziyeeri, ne Sebuweri, ne Yerimosi, ne Kananiya, ne Kanani, ne Eriyaasa, ne Giddaluti, ne Lomamutyezeri, ne Yosubekasa, ne Mallosi, ne Kosiri, ne Makaziyoosi.
5 這都是希幔的兒子,吹角頌讚。希幔奉上帝之命作王的先見。上帝賜給希幔十四個兒子,三個女兒,
Abo bonna baali baana ba Kemani nnabbi aweereza kabaka, abaamuweebwa olw’okusuubiza kwa Katonda, okuyimusanga erinnya lye. Katonda yamuwa abaana aboobulenzi kkumi na bana, n’aboobuwala basatu.
6 都歸他們父親指教,在耶和華的殿唱歌、敲鈸、彈琴、鼓瑟,辦上帝殿的事務。亞薩、耶杜頓、希幔都是王所命定的。
Abo bonna baavunaanyizibwanga ba kitaabwe, olw’okuyimba mu yeekaalu ya Mukama, nga bakuba ebitaasa, n’entongooli, n’ennanga, olw’okuweerezanga okw’omu nnyumba ya Katonda. Asafu, ne Yedusuni, ne Kemani baali bakolera wansi kabaka.
7 他們和他們的弟兄學習頌讚耶和華;善於歌唱的共有二百八十八人。
Omuwendo gw’abo n’eŋŋanda zaabwe abatendekebwa ne bakuguka mu by’okuyimbira Mukama baali ebikumi bibiri mu kinaana mu munaana.
8 這些人無論大小,為師的、為徒的,都一同掣籤分了班次。
Bonna baakubira obululu emirimu gye baaweebwa, abato n’abakulu, omutendesi ne gwe batendeka.
9 掣籤的時候,第一掣出來的是亞薩的兒子約瑟。第二是基大利;他和他弟兄並兒子共十二人。
Akalulu akaasooka akaali aka Asafu kagwa ku Yusufu, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri; akookubiri kagwa ku Gedaliya, batabani be, n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;
10 第三是撒刻;他和他兒子並弟兄共十二人。
akookusatu kagwa ku Zakkuli, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;
11 第四是伊洗利;他和他兒子並弟兄共十二人。
akookuna kagwa ku Izuli, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;
12 第五是尼探雅;他和他兒子並弟兄共十二人。
akookutaano kagwa ku Nesaniya, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;
13 第六是布基雅;他和他兒子並弟兄共十二人。
ak’omukaaga kagwa ku Bukkiya, batabani be, n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;
14 第七是耶薩利拉;他和他兒子並弟兄共十二人。
ak’omusanvu kagwa ku Yesalera, batabani be, n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;
15 第八是耶篩亞;他和他兒子並弟兄共十二人。
ak’omunaana kagwa ku Yesaya, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;
16 第九是瑪探雅;他和他兒子並弟兄共十二人。
ak’omwenda kagwa ku Mattaniya, batabani be, n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;
17 第十是示每;他和他兒子並弟兄共十二人。
ak’ekkumi kagwa ku Simeeyi, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;
18 第十一是亞薩烈;他和他兒子並弟兄共十二人。
ak’ekkumi n’akamu kagwa ku Azaleri, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;
19 第十二是哈沙比雅;他和他兒子並弟兄共十二人。
ak’ekkumi noobubiri kagwa ku Kasabiya, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;
20 第十三是書巴業;他和他兒子並弟兄共十二人。
ak’ekkumi noobusatu kagwa ku Subayeri, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;
21 第十四是瑪他提雅;他和他兒子並弟兄共十二人。
ak’ekkumi noobuna kagwa ku Mattisiya, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;
22 第十五是耶利摩;他和他兒子並弟兄共十二人。
ak’ekkumi noobutaano kagwa ku Yeremosi, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;
23 第十六是哈拿尼雅;他和他兒子並弟兄共十二人。
ak’ekkumi n’omukaaga kagwa ku Kananiya, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;
24 第十七是約施比加沙;他和他兒子並弟兄共十二人。
ak’ekkumi n’omusanvu kagwa ku Yosubekasa, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;
25 第十八是哈拿尼;他和他兒子並弟兄共十二人。
ak’ekkumi n’omunaana kagwa ku Kanani, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;
26 第十九是瑪羅提;他和他兒子並弟兄共十二人。
ak’ekkumi n’omwenda kagwa ku Mallosi, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;
27 第二十是以利亞他;他和他兒子並弟兄共十二人。
ak’amakumi abiri kagwa ku Eriyaasa, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;
28 第二十一是何提;他和他兒子並弟兄共十二人。
ak’amakumi abiri mu akamu kagwa ku Kosiri, batabani be, n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;
29 第二十二是基大利提;他和他兒子並弟兄共十二人。
ak’amakumi abiri mu bubiri kagwa ku Giddaluti, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;
30 第二十三是瑪哈秀;他和他兒子並弟兄共十二人。
ak’amakumi abiri mu busatu, kagwa ku Makaziyoosi, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;
31 第二十四是羅幔提‧以謝;他和他兒子並弟兄共十二人。
ak’amakumi abiri mu buna kagwa ku Lomamutyezeri, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri.

< 歷代志上 25 >