< 撒迦利亚书 6 >
1 我又举目观看,见有四辆车从两山中间出来;那山是铜山。
Ne nyongera okuyimusa amaaso gange, era laba, amagaali g’embalaasi ana nga gava wakati w’ensozi bbiri, n’ensozi ezo zaali nsozi za bikomo.
Eggaali esooka ng’esikibwa embalaasi za lukunyu, eyookubiri nga nzirugavu.
Eggaali eyokusatu ng’esikibwa mbalaasi njeru, eyokuna yo ng’esikibwa za kikuusikuusi atabikiddwamu n’obwoya obweru. Embalaasi ezo zonna zaali z’amaanyi.
4 我就问与我说话的天使说:“主啊,这是什么意思?”
Ne ndyoka mbuuza malayika eyali ayogera nange nti, “Bino bitegeeza ki mukama wange?”
5 天使回答我说:“这是天的四风,是从普天下的主面前出来的。”
Malayika n’anziramu nti, “Ezo z’empewo ennya ez’omu ggulu; ziva kweyanjula mu maaso ga Mukama ow’ensi yonna.
6 套着黑马的车往北方去,白马跟随在后;有斑点的马往南方去。
Ekigaali eky’embalaasi enzirugavu kigenda mu nsi ey’omu bukiikakkono, ate ekyo eky’enjeru mu bugwanjuba, ekyo ekyali kisikibwa embalaasi ez’obwoya obweru, kiraga mu nsi ey’omu bukiikaddyo.”
7 壮马出来,要在遍地走来走去。天使说:“你们只管在遍地走来走去。”它们就照样行了。
Awo embalaasi ezo ez’amaanyi nga zivudde mu maaso ga Mukama, ne zifuba okutambulatambula mu nsi yonna; n’azigamba nti, “Mugende, mutambuletambule mu nsi yonna.” Awo ne zitambulatambula mu nsi yonna.
8 他又呼叫我说:“看哪,往北方去的已在北方安慰我的心。”
Awo n’ampita n’aŋŋamba nti, “Laba, ezo eziraga mu nsi ey’obukiikakkono ziwummuzza Omwoyo wange mu nsi ey’omu bukiikakkono.”
Ekigambo kya Mukama ne kijja gye ndi nga kigamba nti,
10 “你要从被掳之人中取黑玳、多比雅、耶大雅的金银。这三人是从巴比伦来到西番雅的儿子约西亚的家里。当日你要进他的家,
“Genda eri bano: Kerudayi, ne Tobiya, ne Yedaya, abaakomawo okuva mu buwaŋŋanguse mu Babulooni, olunaku olwo lwennyini olage mu nnyumba ya Yosiya, mutabani wa Zeffaniya, mwe bali.
11 取这金银做冠冕,戴在约撒答的儿子大祭司约书亚的头上,
Ddira effeeza ne zaabu okole engule ogitikkire ku mutwe gwa Yoswa, kabona asinga obukulu, omwana wa Yekozadaaki.
12 对他说,万军之耶和华如此说:看哪,那名称为大卫苗裔的,他要在本处长起来,并要建造耶和华的殿。
Mugambe nti, bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, ‘Laba omuntu erinnya lye ye Ttabi; alirokera mu kifo kye, azimbe yeekaalu ya Mukama.
13 他要建造耶和华的殿,并担负尊荣,坐在位上掌王权;又必在位上作祭司,使两职之间筹定和平。
Oyo y’alizimba yeekaalu ya Mukama, era alijjula ekitiibwa. Alituula ku ntebe ye ey’obwakabaka, n’afuga. Era y’aliba Kabona ku ntebe ye ey’obwakabaka; walibaawo okutegeeragana okw’emirembe wakati wa Ttabi ne Yoswa.’
14 这冠冕要归希连、多比雅、耶大雅,和西番雅的儿子贤,放在耶和华的殿里为记念。”
Era n’engule ya kubeera mu yeekaalu ya Mukama ng’ekijjukizo eri Keremu, ne Tobiya ne Keeni omwana wa Zeffaniya.
15 远方的人也要来建造耶和华的殿,你们就知道万军之耶和华差遣我到你们这里来。你们若留意听从耶和华—你们 神的话,这事必然成就。
Era n’abo abali ewala balijja okuyamba okuzimba yeekaalu ya Mukama, era mulimanya nga Mukama ow’Eggye yantuma gye muli. Bino tebirirema kubaawo singa munaagondera eddoboozi lya Mukama Katonda wammwe n’obumalirivu.”