< 路得记 2 >
1 拿俄米的丈夫以利米勒的亲族中,有一个人名叫波阿斯,是个大财主。
Nawomi yalina mulamu we, ng’ava mu kika kya bba, Erimereki, nga mugagga, erinnya lye nga ye Bowaazi.
2 摩押女子路得对拿俄米说:“容我往田间去,我蒙谁的恩,就在谁的身后拾取麦穗。”拿俄米说:“女儿啊,你只管去。”
Awo Luusi Omumowaabu n’agamba Nawomi nti, “Ka ŋŋende mu nnimiro okulonda ebirimba bya sayiri, ngoberere oyo anankwatirwa ekisa.” Nawomi n’amuddamu nti, “Genda, muwala wange.”
3 路得就去了,来到田间,在收割的人身后拾取麦穗。她恰巧到了以利米勒本族的人波阿斯那块田里。
Amangwago, n’agenda, n’atandika okulonda mu nnimiro abakunguzi we bayise. Awo ne yesanga ng’atuuse mu nnimiro ya Bowaazi, ow’omu kika kya Erimereki.
4 波阿斯正从伯利恒来,对收割的人说:“愿耶和华与你们同在!”他们回答说:“愿耶和华赐福与你!”
Mu kiseera kye kimu Bowaazi n’atuuka okuva e Besirekemu, n’agamba abakunguzi be nti, “Mukama Katonda abeere nammwe.” Nabo ne bamuddamu nti, “Naawe Mukama Katonda akuwe omukisa.”
5 波阿斯问监管收割的仆人说:“那是谁家的女子?”
Awo Bowaazi n’abuuza nampala wa bakunguzi be nti, “Omuwala ono w’ani?”
6 监管收割的仆人回答说:“是那摩押女子,跟随拿俄米从摩押地回来的。
N’amuddamu nti, “Ono ye muwala Omumowaabu eyajja ne Nawomi okuva e Mowaabu.
7 她说:‘请你容我跟着收割的人拾取打捆剩下的麦穗。’她从早晨直到如今,除了在屋子里坐一会儿,常在这里。”
Atwegayiridde alondelonde abakunguzi we bayise mu binywa, era asiibye akola okuva obw’enkya okutuusa essaawa eno, okuggyako akabanga akatono ke yawumuddemu.”
8 波阿斯对路得说:“女儿啊,听我说,不要往别人田里拾取麦穗,也不要离开这里,要常与我使女们在一处。
Awo Bowaazi n’agamba Luusi nti, “Wuliriza, muwala ggwe. Togendanga n’olondanga mu nnimiro endala yonna, tovanga mu eno, naye obeeranga wamu nabaweereza bange abawala.
9 我的仆人在那块田收割,你就跟着他们去。我已经吩咐仆人不可欺负你;你若渴了,就可以到器皿那里喝仆人打来的水。”
Gendereranga ennimiro basajja bange mwe bamaze okukungula, era ogobererenga abawala. Abasajja mbalagidde obutakutawanya. Era ennyonta bw’ekulumanga, onywenga ku mazzi abasajja ge basenye.”
10 路得就俯伏在地叩拜,对他说:“我既是外邦人,怎么蒙你的恩,这样顾恤我呢?”
Awo Luusi bwe yawulira ebyo, n’avuunama ku ttaka, ng’agamba nti, “Ng’ondaze ekisa mu maaso go, n’onfaako nze, munnaggwanga.”
11 波阿斯回答说:“自从你丈夫死后,凡你向婆婆所行的,并你离开父母和本地,到素不认识的民中,这些事人全都告诉我了。
Naye Bowaazi n’addamu nti, “By’okoledde nnyazaala wo kasookedde balo afa, ne bwe waleka kitaawo ne nnyoko era n’abantu bo n’ojja mu nsi ey’abantu botomanyi, babintegezezza byonna.
12 愿耶和华照你所行的赏赐你。你来投靠耶和华—以色列 神的翅膀下,愿你满得他的赏赐。”
Mukama Katonda wa Isirayiri gwe weeyuna wansi w’ebiwaawaatiro bye, akusasule olw’ebyo by’okoze. MukamaKatonda wa Isirayiri, oyo gwe weewagamye wansi w’ebiwawaatiro bye, akuwe empeera ennene ddala.”
13 路得说:“我主啊,愿在你眼前蒙恩。我虽然不及你的一个使女,你还用慈爱的话安慰我的心。”
Awo Luusi n’addamu nti, “Nneeyongere okulaba ekisa mu maaso go mukama wange, kubanga oyogedde ebigambo ebyekisa eri omuweereza wo era emmeeme yange ogizizza mu nteeko wadde nga sigwanira kuba omu ku baweereza bo.”
14 到了吃饭的时候,波阿斯对路得说:“你到这里来吃饼,将饼蘸在醋里。”路得就在收割的人旁边坐下;他们把烘了的穗子递给她。她吃饱了,还有余剩的。
Ekiseera ekyokulya bwe kyatuuka, Bowaazi n’agamba Luusi nti, “Jjangu okoze omugaati gwo mu wayini akatuuse.” Awo Luusi bwe yatuula wansi, Bowaazi n’amuwa sayiri ensiike, n’alya, n’akkuta, n’emulemera nawo.
15 她起来又拾取麦穗,波阿斯吩咐仆人说:“她就是在捆中拾取麦穗,也可以容她,不可羞辱她;
Oluvannyuma ng’okulya kuwedde, n’agolokoka agende alonde, era Bowaazi n’alagira abaddu be nti, “Ne bw’anaalonda mu binywa temumugaana.
16 并要从捆里抽出些来,留在地下任她拾取,不可叱吓她。”
Wakiri, mumuleke yerondere mu miganda so temumuwuuna.”
17 这样,路得在田间拾取麦穗,直到晚上,将所拾取的打了,约有一伊法大麦。
Awo Luusi n’alonda mu nnimiro okutuuka akawungeezi, oluvannyuma n’awuula ne sayiri gye yali akuŋŋaanyizza, n’aweza nga kilo kkumi na ssatu.
18 她就把所拾取的带进城去给婆婆看,又把她吃饱了所剩的给了婆婆。
Yonna n’agyetikka, n’agitwala mu kibuga, ne nnyazaala we n’agiraba. Era yamuleetera ne ku mmere gye yali afissizzaawo.
19 婆婆问她说:“你今日在哪里拾取麦穗,在哪里做工呢?愿那顾恤你的得福。”路得就告诉婆婆说:“我今日在一个名叫波阿斯的人那里做工。”
Nnyazaala we yasanyuka nnyo, era n’amubuuza nti, “Wakoze mu nnimiro y’ani leero? Aweebwe omukisa oyo akukwatiddwa ekisa!” Awo Luusi n’abuulira nnyazaala we nannyini nnimiro mwe yakoze, n’erinnya ly’omwami nga ye Bowaazi.
20 拿俄米对儿妇说:“愿那人蒙耶和华赐福,因为他不断地恩待活人死人。”拿俄米又说:“那是我们本族的人,是一个至近的亲属。”
Nawomi namugamba nti, “Mukama Katonda atalekanga kulaga kisa eri abalamu n’abafu, amuwe omukisa. Anti omusajja oyo muganda waffe ddala, era y’omu ku banunuzi baffe ddala.”
21 摩押女子路得说:“他对我说:‘你要紧随我的仆人拾取麦穗,直等他们收完了我的庄稼。’”
Luusi Omumowaabu n’ayongerako nti, “N’okuŋŋamba yaŋŋambye nti nkolere wamu n’abakozi be okutuusa lwe balimala eby’okukungula bye.”
22 拿俄米对儿妇路得说:“女儿啊,你跟着他的使女出去,不叫人遇见你在别人田间,这才为好。”
Awo Nawomi n’agamba Luusi muka mwana we nti, “Kijja kuba kirungi nnyo muwala wange, okubeeranga kumpi nabaweereza be abakazi, kubanga singa onoogenda mu nnimiro y’omulala akabi kayinza okukutuukako.”
23 于是路得与波阿斯的使女常在一处拾取麦穗,直到收完了大麦和小麦。路得仍与婆婆同住。
Awo Luusi n’abeeranga kumpi n’abaweereza ba Bowaazi ng’alonda okutuusa amakungula ga sayiri n’eŋŋaano bwe gaggwa, n’abeeranga wamu ne nnyazaala we.