< 诗篇 7 >
1 大卫指着便雅悯人古实的话,向耶和华唱的流离歌。 耶和华—我的 神啊,我投靠你! 求你救我脱离一切追赶我的人,将我救拔出来!
Zabbuli ya Dawudi gye yayimbira Mukama ng’efa ku Kuusi Omubenyamini. Ayi Mukama, Katonda wange, neesiga ggwe: ngobaako bonna abangigganya era omponye,
si kulwa nga bantagulataagula ng’empologoma ne bankutulakutula obufiififi ne watabaawo amponya.
3 耶和华—我的 神啊,我若行了这事, 若有罪孽在我手里,
Ayi Mukama, Katonda wange, obanga nkoze kino, era ng’engalo zange ziriko omusango,
4 我若以恶报那与我交好的人— 连那无故与我为敌的,我也救了他,
obanga waliwo andaze ebirungi nze ne si muyisa bulungi, oba nzibye omulabe wange awatali nsonga:
5 就任凭仇敌追赶我,直到追上, 将我的性命踏在地下, 使我的荣耀归于灰尘。 (细拉)
Kale, abalabe bange baleke bangoberere bankwate, bankube wansi banninnyirire, banzitire mu nfuufu.
6 耶和华啊,求你在怒中起来, 挺身而立,抵挡我敌人的暴怒! 求你为我兴起!你已经命定施行审判!
Golokoka, Ayi Mukama, mu busungu bwo oziyize abalabe bange abajjudde obukambwe. Golokoka, Ayi Katonda wange, onnyambe ggwe asala omusango mu bwenkanya.
Kuŋŋaanya bannaggwanga bonna okukwetooloola; obafuge ng’oli waggulu ennyo.
8 耶和华向众民施行审判; 耶和华啊,求你按我的公义和我心中的纯正判断我。
Ggwe, Ayi Mukama, Ali Waggulu Ennyo, asalira amawanga gonna emisango, osale omusango gwange Ayi Mukama Ali Waggulu Ennyo ng’obutuukirivu bwange bwe buli, era n’amazima agali mu nze bwe gali.
9 愿恶人的恶断绝! 愿你坚立义人! 因为公义的 神察验人的心肠肺腑。
Ayi Katonda omutukuvu, akebera emitima n’emmeeme; okomye ebikolwa by’abakola ebibi: era onyweze abatuukirivu.
Katonda Ali Waggulu Ennyo ye ngabo yange; alokola abo abalina omutima omulongoofu.
11 神是公义的审判者, 又是天天向恶人发怒的 神。
Katonda mulamuzi wa mazima; era alaga ekiruyi kye buli lunaku.
12 若有人不回头,他的刀必磨快, 弓必上弦,预备妥当了。
Mukama awagala ekitala kye n’aleega omutego gwe ogw’obusaale.
Era ategese ebyokulwanyisa ebissi; era akozesa obusaale obw’omuliro.
14 试看恶人因奸恶而劬劳, 所怀的是毒害,所生的是虚假。
Omuntu ajjudde ebibi afuna emitawaana, n’azaala obulimba.
15 他掘了坑,又挖深了, 竟掉在自己所挖的阱里。
Asima ekinnya, n’akiwanvuya nnyo; ate n’akigwamu ye kye yasimye.
16 他的毒害必临到他自己的头上; 他的强暴必落到他自己的脑袋上。
Emitawaana gye gimwebunguludde; n’obukambwe bwe bumuddire.
17 我要照着耶和华的公义称谢他, 歌颂耶和华至高者的名。
Nneebazanga Mukama olw’obutuukirivu bwe; nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lya Mukama Ali Waggulu Ennyo.