< 诗篇 15 >
1 大卫的诗。 耶和华啊,谁能寄居你的帐幕? 谁能住在你的圣山?
Zabbuli ya Dawudi. Ayi Mukama, ani anaabeeranga mu nnyumba yo? Ani anaatuulanga ku lusozi lwo olutukuvu?
Oyo ataliiko kya kunenyezebwa, akola eby’obutuukirivu, era ayogera eby’amazima nga biviira ddala mu mutima gwe.
3 他不以舌头谗谤人, 不恶待朋友, 也不随伙毁谤邻里。
Olulimi lwe talwogeza bya bulimba, era mikwano gye tagiyisa bubi, so tasaasaanya ŋŋambo ku baliraanwa be.
4 他眼中藐视匪类, 却尊重那敬畏耶和华的人。 他发了誓,虽然自己吃亏也不更改。
Anyooma ababi, naye abatya Mukama abassaamu ekitiibwa. Atuukiriza ky’asuubiza ne bwe kiba nga kimulumya.
5 他不放债取利, 不受贿赂以害无辜。 行这些事的人必永不动摇。
Bw’awola tasaba magoba; so takkiriza kulya nguzi ku muntu yenna. Oyo akola ebyo aliba munywevu emirembe gyonna.