< 诗篇 131 >
1 大卫上行之诗。 耶和华啊,我的心不狂傲, 我的眼不高大; 重大和测不透的事, 我也不敢行。
Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi. Ayi Mukama siri wa malala, so n’amaaso gange tegeegulumiza. Siruubirira bintu binsukiridde newaakubadde ebintu eby’ekitalo ebinsinga.
2 我的心平稳安静, 好像断过奶的孩子在他母亲的怀中; 我的心在我里面真像断过奶的孩子。
Naye ŋŋonzezza emmeeme yange era ngisiriikirizza ng’omwana bw’asiriikirira nga nnyina amuggye ku mabeere. Omwana avudde ku mabeere nga bw’asiriikirira, n’emmeeme yange bw’eri bw’etyo.
Ayi Isirayiri, weesigenga Mukama okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.