< 诗篇 126 >
1 上行之诗。 当耶和华将那些被掳的带回锡安的时候, 我们好像做梦的人。
Oluyimba nga balinnya amadaala. Mukama bwe yakomyawo abawaŋŋanguse ba Sayuuni, twafaanana ng’abaloota.
2 我们满口喜笑、 满舌欢呼的时候, 外邦中就有人说: 耶和华为他们行了大事!
Olwo akamwa kaffe ne kajjula enseko, ne nnimi zaffe ne ziyimba ennyimba ez’essanyu. Amawanga ne gagamba nti, “Mukama abakoledde ebikulu.”
Mukama atukoledde ebikulu, kyetuvudde tusanyuka.
4 耶和华啊,求你使我们被掳的人归回, 好像南地的河水复流。
Otuzze obuggya, Ayi Mukama, tufaanane ng’emigga egikulukutira mu lusenyi.
Abo abasiga nga bakaaba amaziga, baliyimba ennyimba ez’essanyu nga bakungula.
6 那带种流泪出去的, 必要欢欢乐乐地带禾捆回来!
Oyo agenda ng’akaaba ng’atwala ensigo okusiga; alikomawo ng’ayimba ennyimba ez’essanyu ng’aleeta ebinywa bye.