< 诗篇 101 >

1 大卫的诗。 我要歌唱慈爱和公平; 耶和华啊,我要向你歌颂!
Zabbuli ya Dawudi. Nnaayimbanga ku kwagala kwo n’obutuukirivu bwo; nnaayimbiranga ggwe, Ayi Mukama.
2 我要用智慧行完全的道。 你几时到我这里来呢? 我要存完全的心行在我家中。
Nneegenderezanga, mu bulamu bwange ne nkola eby’obutuukirivu, naye olijja ddi gye ndi? Nnaabeeranga mu nnyumba yange nga siriiko kya kunenyezebwa.
3 邪僻的事,我都不摆在我眼前; 悖逆人所做的事,我甚恨恶, 不容沾在我身上。
Sijjanga kwereetereza kintu kyonna ekibi. Nkyayira ddala ebikolwa by’abo abava mu kkubo lyo; sijjanga kubyeteekako.
4 弯曲的心思,我必远离; 一切的恶人,我不认识。
Sijjanga kuba mukuusa; ekibi nnaakyewaliranga ddala.
5 在暗中谗谤他邻居的,我必将他灭绝; 眼目高傲、心里骄纵的,我必不容他。
Oyo alyolyoma muliraanwa we mu kyama, nnaamuzikiririzanga ddala; amaaso ag’amalala n’omutima ogw’amalala sijja kubigumiikirizanga.
6 我眼要看国中的诚实人,叫他们与我同住; 行为完全的,他要伺候我。
Abeesigwa abali mu nsi yaffe nnaabasanyukiranga, balyoke babeerenga nange; akola eby’obutuukirivu y’anamperezanga.
7 行诡诈的,必不得住在我家里; 说谎话的,必不得立在我眼前。
Atayogera mazima taabeerenga mu nnyumba yange. Omuntu alimba sirimuganya kwongera kubeera nange.
8 我每日早晨要灭绝国中所有的恶人, 好把一切作孽的从耶和华的城里剪除。
Buli nkya nnaazikirizanga abakola ebibi bonna mu nsi, bwe ntyo abakozi b’ebibi ne mbamalirawo ddala mu kibuga kya Mukama.

< 诗篇 101 >