< 箴言 3 >

1 我儿,不要忘记我的法则; 你心要谨守我的诫命;
Mwana wange, teweerabiranga bintu bye nakuyigiriza, era okuumanga ebiragiro byange mu mutima gwo,
2 因为它必将长久的日子, 生命的年数与平安,加给你。
kubanga bijja kuwangaaza obulamu bwo ku nsi, era bikukulaakulanye.
3 不可使慈爱、诚实离开你, 要系在你颈项上,刻在你心版上。
Amazima n’ekisa tobyerabiranga; byesibe mu bulago bwo, obiwandiike ku mutima gwo.
4 这样,你必在 神和世人眼前 蒙恩宠,有聪明。
Bw’otyo bw’onoofuna okuganja n’okusiimibwa eri Katonda n’eri abantu.
5 你要专心仰赖耶和华, 不可倚靠自己的聪明,
Weesige Mukama n’omutima gwo gwonna, so teweesigamanga ku magezi go gokka.
6 在你一切所行的事上都要认定他, 他必指引你的路。
Mukama mukulembezenga mu by’okola byonna, naye anaakuluŋŋamyanga n’owangula.
7 不要自以为有智慧; 要敬畏耶和华,远离恶事。
Amagezi go tegakusigulanga, naye otyanga Mukama, era weewale okukola ebibi.
8 这便医治你的肚脐, 滋润你的百骨。
Onoofunanga obulamu mu mubiri gwo n’amagumba go ne gadda buggya.
9 你要以财物 和一切初熟的土产尊荣耶和华。
Mukama mugulumizenga n’eby’obugagga byo; n’ebibala ebisooka eby’ebintu byo byonna eby’omu nnimiro yo,
10 这样,你的仓房必充满有余; 你的酒榨有新酒盈溢。
olwo amaterekero go lwe ganajjulanga ebintu enkumu, era n’amasenero go ne gajjula ne gabooga omwenge omusu.
11 我儿,你不可轻看耶和华的管教, 也不可厌烦他的责备;
Mwana wange tonyoomanga kukangavvula kwa Mukama, n’okunenya kwe kulemenga okukukooya,
12 因为耶和华所爱的,他必责备, 正如父亲责备所喜爱的儿子。
kubanga Mukama anenya oyo gw’ayagala, nga kitaawe w’omwana bw’anenya mutabani we gwe yeenyumiririzaamu.
13 得智慧,得聪明的, 这人便为有福。
Aweereddwa omukisa oyo afuna amagezi, omuntu oyo afuna okutegeera,
14 因为得智慧胜过得银子, 其利益强如精金,
kubanga amagezi gasinga ffeeza era galimu amagoba okusinga zaabu.
15 比珍珠宝贵; 你一切所喜爱的,都不足与比较。
Amagezi ga muwendo mungi okusinga amayinja ag’omuwendo omungi: era tewali kyegombebwa kiyinza kugeraageranyizibwa nago.
16 她右手有长寿, 左手有富贵。
Mu mukono gwago ogwa ddyo mwe muli obuwanguzi; ne mu mukono gwago ogwa kkono ne mubaamu obugagga n’ekitiibwa.
17 她的道是安乐; 她的路全是平安。
Mu magezi mulimu essanyu, era n’amakubo gaago ga mirembe.
18 她与持守她的作生命树; 持定她的,俱各有福。
Amagezi muti gwa bulamu eri abo abagakwata ne baganyweza; abo abagakwata ne baganyweza baliweebwa omukisa.
19 耶和华以智慧立地, 以聪明定天,
Amagezi, Mukama ge yakozesa okuteekawo emisingi gy’ensi; n’okutegeera kwe yakozesa okuteekawo eggulu;
20 以知识使深渊裂开, 使天空滴下甘露。
n’okumanya kwe, kwe yakozesa okwawula obuziba bw’ennyanja, era n’ebire ne bivaamu omusulo.
21 我儿,要谨守真智慧和谋略, 不可使她离开你的眼目。
Mwana wange, beeranga n’okuteesa okulungi n’okusalawo ebisaana, ebyo biremenga okukuvaako,
22 这样,她必作你的生命, 颈项的美饰。
binaabeeranga obulamu eri emmeeme yo, era ekyokwambala ekirungi ekinaawoomesanga obulago bwo.
23 你就坦然行路, 不致碰脚。
Bw’otyo bw’onootambulanga nga onyweredde mu kkubo lyo, era ekigere kyo tekijjanga kwesittala.
24 你躺下,必不惧怕; 你躺卧,睡得香甜。
Bw’onoogalamiranga toobenga na kutya, weewaawo bw’oneebakanga otulo tunaakuwoomeranga.
25 忽然来的惊恐,不要害怕; 恶人遭毁灭,也不要恐惧。
Totyanga kabenje kootomanyiridde, wadde okuzikirira okujjira abakozi b’ebibi,
26 因为耶和华是你所倚靠的; 他必保守你的脚不陷入网罗。
Kubanga Mukama y’anaabeeranga obwesigwa bwo, era anaalabiriranga ekigere kyo ne kitakwatibwa mu mutego.
27 你手若有行善的力量,不可推辞, 就当向那应得的人施行。
Tommanga birungi abo be bisaanira bwe kibeera mu buyinza bwo okukikola.
28 你那里若有现成的,不可对邻舍说: 去吧,明天再来,我必给你。
Togambanga muliraanwa wo nti, “Genda, onodda enkya ne nkuwa,” ate nga kye yeetaaga okirina.
29 你的邻舍既在你附近安居, 你不可设计害他。
Totegekanga kukola bulabe ku muliraanwa wo, atudde emirembe ng’akwesiga.
30 人未曾加害与你, 不可无故与他相争。
Tovunaananga muntu n’omu awatali nsonga nga talina kabi k’akukoze.
31 不可嫉妒强暴的人, 也不可选择他所行的路。
Tokwatirwanga obuggya omuntu ayigganya abalala, era tokolanga nga ye bw’akola,
32 因为,乖僻人为耶和华所憎恶; 正直人为他所亲密。
kubanga omuntu omugwagwa wa muzizo eri Mukama, naye abo abagolokofu abalinamu obwesige.
33 耶和华咒诅恶人的家庭, 赐福与义人的居所。
Ekikolimo kya Mukama kiri ku nnyumba y’ababi, naye awa omukisa ennyumba y’abatuukirivu.
34 他讥诮那好讥诮的人, 赐恩给谦卑的人。
Ddala ddala, Mukama anyooma abanyoomi, naye abeetoowaza abawa ekisa.
35 智慧人必承受尊荣; 愚昧人高升也成为羞辱。
Ab’amagezi balisikira ekitiibwa, naye abasirusiru baliswazibwa.

< 箴言 3 >