< 民数记 17 >

1 耶和华对摩西说:
Awo Mukama n’agamba Musa nti,
2 “你晓谕以色列人,从他们手下取杖,每支派一根;从他们所有的首领,按着支派,共取十二根。你要将各人的名字写在各人的杖上,
“Tegeeza abaana ba Isirayiri baleete emiggo kkumi n’ebiri nga gireetebwa abakulembeze baabwe mu buli kika, omuggo gumu buli kika. Owandiike erinnya lya buli musajja ku muggo gwe gw’aleese.
3 并要将亚伦的名字写在利未的杖上,因为各族长必有一根杖。
Wandiika erinnya lya Alooni ku muggo oguvudde mu kika kya Leevi. Kubanga buli mukulembeze w’ekika ky’obujjajja ajja kubeera n’omuggo ggumu.
4 你要把这些杖存在会幕内法柜前,就是我与你们相会之处。
Olyoke ogiteeke mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu mu maaso g’Essanduuko ey’Endagaano, we mbasisinkana.
5 后来我所拣选的那人,他的杖必发芽。这样,我必使以色列人向你们所发的怨言止息,不再达到我耳中。”
Kale nno omuggo gw’oyo gwe nnaalonda gujja kutojjera; bwe ntyo nzija kusirisa okukwemulugunyiza kuno okutatadde okw’abaana ba Isirayiri.”
6 于是摩西晓谕以色列人,他们的首领就把杖交给他,按着支派,每首领一根,共有十二根;亚伦的杖也在其中。
Musa n’ategeeza abaana ba Isirayiri; abakulembeze baabwe ne bamuleetera emiggo, buli mukulembeze omuggo gumu gumu, ng’ebika by’obujjajjaabwe bwe byali, okugatta gyonna gy’emiggo kkumi n’ebiri, nga n’omuggo gwa Alooni mwe guli.
7 摩西就把杖存在法柜的帐幕内,在耶和华面前。
Musa n’ateeka emiggo egyo mu maaso ga Mukama Katonda mu Weema ya Mukama ey’Endagaano.
8 第二天,摩西进法柜的帐幕去。谁知利未族亚伦的杖已经发了芽,生了花苞,开了花,结了熟杏。
Awo bwe bwakya enkya Musa n’ayingira mu Weema ya Mukama awali Essanduuko ey’Endagaano, era laba, ng’omuggo gwa Alooni ow’omu kika kya Leevi nga gutojjedde nga guliko n’obutabi obuto, nga gutaddeko n’ebibala ebyengedde.
9 摩西就把所有的杖从耶和华面前拿出来,给以色列众人看;他们看见了,各首领就把自己的杖拿去。
Musa n’afulumya emiggo gyonna ng’agiggya mu maaso ga Mukama Katonda, n’agireeta awali abaana ba Isirayiri; ne bagitunuulira, buli omu n’aggyawo omuggo gwe.
10 耶和华吩咐摩西说:“把亚伦的杖还放在法柜前,给这些背叛之子留作记号。这样,你就使他们向我发的怨言止息,免得他们死亡。”
Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Omuggo gwa Alooni guzzeeyo awali Essanduuko ey’Endagaano gukuumirwenga awo ng’akabonero ak’okulabulanga abajeemu. Ekyo kinaasirisa okunneemulugunyiza, balyoke bawone okufa.”
11 摩西就这样行。耶和华怎样吩咐他,他就怎样行了。
Musa n’akola nga Mukama bwe yamulagira.
12 以色列人对摩西说:“我们死啦!我们灭亡啦!都灭亡啦!
Awo abaana ba Isirayiri ne bagamba Musa nti, “Laba, ffenna tujja kufa! Tujja kuggwaawo, tujja kuzikirira.
13 凡挨近耶和华帐幕的是必死的。我们都要死亡吗?”
Buli muntu anaasembereranga Eweema ya Mukama ajjanga kufa. Ffenna tuli ba kuzikirira?”

< 民数记 17 >