< 民数记 11 >

1 众百姓发怨言,他们的恶语达到耶和华的耳中。耶和华听见了就怒气发作,使火在他们中间焚烧,直烧到营的边界。
Awo abantu ne beemulugunya olw’ebizibu byabwe nga ne Mukama awulira; bwe yabawulira obusungu bwe ne bubuubuuka. Omuliro ne guva eri Mukama ne gwakira mu bo, ne gwokya ebitundu ebimu ebyali bikomererayo eby’olusiisira lwabwe.
2 百姓向摩西哀求,摩西祈求耶和华,火就熄了。
Abantu ne bakaabirira Musa; Musa n’asaba Mukama, omuliro ne guzikira.
3 那地方便叫做他备拉,因为耶和华的火烧在他们中间。
Ekifo ekyo ne kituumibwa erinnya Tabera, kubanga omuliro ogwava eri Mukama gwabaakiramu.
4 他们中间的闲杂人大起贪欲的心;以色列人又哭号说:“谁给我们肉吃呢?
Abagwira abaali beetabudde mu baana ba Isirayiri ne baluluunkanira ebyokulya; n’abaana ba Isirayiri nabo ne bongera okukaaba nga bwe bagamba nti, “Singa nno tufuna ku nnyama ne tulyako!
5 我们记得,在埃及的时候不花钱就吃鱼,也记得有黄瓜、西瓜、韭菜、葱、蒜。
Tukyajjukira ebyennyanja bye twalyanga mu Misiri nga tewali na kye tubisasulidde, ne wujju n’ensujju, n’enderema n’obutungulu ne katungulukyumu n’ebyokuliira.
6 现在我们的心血枯竭了,除这吗哪以外,在我们眼前并没有别的东西。”
Naye kaakano n’okwoya emmere kutuweddemu, buli we tukuba eriiso tulaba mmaanu eno!”
7 这吗哪仿佛芫荽子,又好像珍珠。
Emmaanu yafaanananga ng’ensigo za koliyanda, nga n’ekifaananyi kyayo kiri ng’ekya bideriamu.
8 百姓周围行走,把吗哪收起来,或用磨推,或用臼捣,煮在锅中,又做成饼,滋味好像新油。
Abantu baagendanga ne bagikuŋŋaanya ne bagiseera ku lubengo oba ne bagisekulira mu binu, ne bagifumba mu ntamu oba ne bakolamu bukeeke. Nga mu kamwa ebanga ekoleddwa n’amafuta ga zeyituuni.
9 夜间露水降在营中,吗哪也随着降下。)
Omusulo bwe gwagwanga mu lusiisira ekiro n’emmaanu nayo n’egwa nagwo.
10 摩西听见百姓各在各家的帐棚门口哭号。耶和华的怒气便大发作,摩西就不喜悦。
Musa n’awulira abantu aba buli luggya nga bakaaba, buli omu ng’akaabira mu muzigo gw’eweema ye; obusungu bwa Mukama Katonda ne bubuubuuka nnyo, ne Musa n’asoberwa n’anyiikaala.
11 摩西对耶和华说:“你为何苦待仆人?我为何不在你眼前蒙恩,竟把这管理百姓的重任加在我身上呢?
Musa n’agamba Mukama Katonda nti, “Lwaki oleetedde omuddu wo obuzibu buno? Nkoze ki ekitakusanyusizza ne kikuleetera okwetikka omugugu gw’abantu bano bonna?
12 这百姓岂是我怀的胎,岂是我生下来的呢?你竟对我说:‘把他们抱在怀里,如养育之父抱吃奶的孩子,直抱到你起誓应许给他们祖宗的地去。’
Nze nali olubuto omwali abantu bano bonna? Nze nabazaala? Lwaki oŋŋamba okubasitula mu mikono gyange ng’omulezi w’abaana bw’asitula omwana omuwere mbatwale mu nsi gye wabasuubiza ng’ogirayirira bajjajjaabwe?
13 我从哪里得肉给这百姓吃呢?他们都向我哭号说:‘你给我们肉吃吧!’
Ennyama abantu bano bonna gye banaalya nnaagiggya wa? Kubanga baneetayirira nga bankaabirira nti, ‘Tuwe ennyama tulye!’
14 管理这百姓的责任太重了,我独自担当不起。
Sisobola kusitula bantu bano bonna bw’omu kubanga obuzito bwabwe buyinza okummenya nga ndi nzekka.
15 你这样待我,我若在你眼前蒙恩,求你立时将我杀了,不叫我见自己的苦情。”
Obanga bw’otyo bw’ojja okumpisa, ate nga bulijjo ondaga ekisa kyo, kale nno nzitiraawo kaakano oleme kundeka ne neereetera okwezikiriza.”
16 耶和华对摩西说:“你从以色列的长老中招聚七十个人,就是你所知道作百姓的长老和官长的,到我这里来,领他们到会幕前,使他们和你一同站立。
Mukama n’agamba Musa nti, “Nfunira abasajja nsanvu mu bakulu ba Isirayiri b’omanyi nga be bakulu b’abantu era nga be bakulembeze baabwe obaleete ku Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, bayimirire awo naawe.
17 我要在那里降临,与你说话,也要把降于你身上的灵分赐他们,他们就和你同当这管百姓的重任,免得你独自担当。
Nzija kukka awo njogere naawe; era nzija kutoola ku mwoyo oguli mu ggwe ngubateekemu, balyokenga bakusitulireko omugugu gw’abantu oleme kugwetikkanga wekka.
18 又要对百姓说:‘你们应当自洁,预备明天吃肉,因为你们哭号说:谁给我们肉吃!我们在埃及很好。这声音达到了耶和华的耳中,所以他必给你们肉吃。
“Abantu bagambe nti, ‘Mwetukuze nga mwetegekera olunaku lw’enkya, lwe mujja okulya ennyama. Kubanga Mukama Katonda yabawulira nga mumukaabirira bwe muti nti, “Singa tufunye ku nnyama ne tulyako! Bwe twali mu Misiri twali bulungi!” Noolwekyo Mukama ajja kubawa ennyama mugirye.
19 你们不止吃一天、两天、五天、十天、二十天,
Temugenda kugirya mu lunaku lumu, oba mu nnaku bbiri, oba mu nnaku ttaano, oba mu nnaku kkumi, oba nnaku abiri;
20 要吃一个整月,甚至肉从你们鼻孔里喷出来,使你们厌恶了,因为你们厌弃住在你们中间的耶和华,在他面前哭号说:我们为何出了埃及呢!’”
naye kumala mwezi mulambirira, okutuusa lw’erifulumira mu nnyindo zammwe n’ebanyiwa, kubanga mwesamudde Mukama Katonda abeera mu mmwe, ne mumukaabirira nga mugamba nti, “Mu Misiri twaviirayo ki?”’”
21 摩西对耶和华说:“这与我同住的百姓、步行的男人有六十万,你还说:‘我要把肉给他们,使他们可以吃一个整月。’
Musa n’agamba nti, “Abantu bano mwe ndi bawera omuwendo gwa mitwalo nkaaga abatambuza ebigere, naawe ogamba nti, ‘Nzija kubawa ennyama gye banaalya okumala omwezi mulamba!’
22 难道给他们宰了羊群牛群,或是把海中所有的鱼都聚了来,就够他们吃吗?”
Ebisolo ebiri mu biraalo ne mu bisibo bwe binattibwa binaabamala? Nantiki ebyennyanja byonna eby’omu nnyanja bwe binaavubibwa ne bibaweebwa, binaabamala?”
23 耶和华对摩西说:“耶和华的膀臂岂是缩短了吗?现在要看我的话向你应验不应验。”
Mukama n’agamba Musa nti, “Omukono gwa Mukama Katonda guyimpawadde? Kaakano ojja kulaba obanga ekigambo kyange kye nkugambye kinaatuukirira oba tekiituukirire.”
24 摩西出去,将耶和华的话告诉百姓,又招聚百姓的长老中七十个人来,使他们站在会幕的四围。
Awo Musa n’afuluma n’ategeeza abantu ebigambo bya Mukama Katonda; n’akuŋŋaanya abasajja nsanvu mu bakulembeze b’abantu n’abayimiriza okumpi ne Weema ya Mukama.
25 耶和华在云中降临,对摩西说话,把降与他身上的灵分赐那七十个长老。灵停在他们身上的时候,他们就受感说话,以后却没有再说。
Awo Mukama Katonda n’akkira mu kire n’ayogera ne Musa, n’addira ku mwoyo ogwali mu Musa n’agussa mu bakulembeze ensanvu. Omwoyo bwe baagufuna ne batandika okutegeeza obunnabbi, kyokka tebaddayo nate kukikola.
26 但有两个人仍在营里,一个名叫伊利达,一个名叫米达。他们本是在那些被录的人中,却没有到会幕那里去。灵停在他们身上,他们就在营里说预言。
Waaliwo abasajja babiri nga bayitibwa Eridaadi ne Medadi, baali babaliddwa ku bakulembeze ensanvu, naye bo ne basigala mu lusiisira, ne batagenda ku Weema ya Mukama; nabo baafuna omwoyo, era ne bategeeza obunnabbi mu lusiisira.
27 有个少年人跑来告诉摩西说:“伊利达、米达在营里说预言。”
Omuvubuka n’adduka n’agenda ategeeza Musa nti, “Eridaadi ne Medadi bategeeza obunnabbi mu lusiisira.”
28 摩西的帮手,嫩的儿子约书亚,就是摩西所拣选的一个人,说:“请我主摩西禁止他们。”
Awo Yoswa mutabani wa Nuuni, omuweereza wa Musa gwe yali yeerondedde ng’akyali muvubuka n’agamba nti, “Mukama wange Musa, baziyize.”
29 摩西对他说:“你为我的缘故嫉妒人吗?惟愿耶和华的百姓都受感说话!愿耶和华把他的灵降在他们身上!”
Naye Musa n’amugamba nti, “Okwatiddwa obuggya ku lwange? Kyandibadde kirungi singa abantu ba Mukama bonna bannabbi, ne Mukama Katonda n’abawa omwoyo gwe!”
30 于是,摩西和以色列的长老都回到营里去。
Musa n’abakulembeze ba Isirayiri ne baddayo mu lusiisira.
31 有风从耶和华那里刮起,把鹌鹑由海面刮来,飞散在营边和营的四围;这边约有一天的路程,那边约有一天的路程,离地面约有二肘。
Awo empewo n’eva eri Mukama Katonda n’ereeta obugubi nga buva mu nnyanja ne bugwa okwebungulula olusiisira nga bukoze entuumo nga ya mita emu okuva ku ttaka, nga bujjuza ebbanga lya lugendo lwa lunaku lumu ku ludda olumu olw’olusiisira n’olugendo lwa lunaku lumu ku ludda olulala.
32 百姓起来,终日终夜,并次日一整天,捕取鹌鹑;至少的也取了十贺梅珥,为自己摆列在营的四围。
Ku lunaku olwo ne ku lunaku olwaddirira abantu ne bakuŋŋaanya obugubi emisana n’ekiro. Tewali yakuŋŋaanya buzito bwakka wansi wa kilo lukumi; ne babwanika buli wantu mu lusiisira.
33 肉在他们牙齿之间尚未嚼烂,耶和华的怒气就向他们发作,用最重的灾殃击杀了他们。
Naye ennyama yali ekyali mu mannyo gaabwe nga tebannaba kugirya, obusungu bwa Mukama Katonda ne bubuubuukira abantu n’abaleetera kawumpuli ow’amaanyi ennyo.
34 那地方便叫做基博罗·哈他瓦,因为他们在那里葬埋那起贪欲之心的人。
Noolwekyo ekifo ekyo kyekyava kituumibwa Kiberosu Katava, kubanga awo we baaziika abantu abaalina omulugube.
35 百姓从基博罗·哈他瓦走到哈洗录,就住在哈洗录。
Abantu bwe baava e Kiberosu Katava ne batambula okutuuka e Kazerosi ne babeera awo.

< 民数记 11 >