< 约书亚记 12 >

1 以色列人在约旦河外向日出之地击杀二王,得他们的地,就是从亚嫩谷直到黑门山,并东边的全亚拉巴之地。
Bano be bakabaka b’ensi Abayisirayiri be baawangula era bannyini nsi Abayisirayiri gye baatwala eri ebuvanjuba bwa Yoludaani, okuva ku kiwonvu ekya Alunoni okutuuka ku lusozi Kerumooni, ne Alaba yonna ku luuyi olw’ebuvanjuba.
2 这二王,有住希实本、亚摩利人的王西宏。他所管之地是从亚嫩谷边的亚罗珥和谷中的城,并基列一半,直到亚扪人的境界,雅博河
Sikoni kabaka w’Abamoli eyafuga mu Kesuboni, okuva ku Aloweri, ekiri ku mabbali g’ekiwonvu ekya Alunoni, n’ekibuga ekiri wakati mu kiwonvu, n’ekitundu ekya Gireyaadi, okutuuka ku mugga Yaboki, y’ensalo y’abaana ba Amoni; kino ng’ogasseeko n’ekitundu Gireyaadi,
3 与约旦河东边的亚拉巴,直到基尼烈海,又到亚拉巴的海,就是盐海,通伯·耶西末的路,以及南方,直到毗斯迦的山根。
ne Alaba okutuuka ku nnyanja Kinnerosi, ku luuyi olw’ebuvanjuba, ne ku Nnyanja ya Araba y’Ennyanja ey’Omunnyo ku luuyi olw’ebuvanjuba mu kkubo ery’e Besu Yesimosi, ne ku luuyi olw’obukiikaddyo wansi w’olusozi Pisuga,
4 又有巴珊王噩。他是利乏音人所剩下的,住在亚斯他录和以得来。
ne ku nsalo ya Ogi kabaka w’e Basani, omu ku baasembayo ku ba Balefa eyafuganga mu Asutaloosi ne mu Ederei.
5 他所管之地是黑门山、撒迦、巴珊全地,直到基述人和玛迦人的境界,并基列一半,直到希实本王西宏的境界。
Era ye yali afuga olusozi Kerumooni ne Saleka ne Basani yenna okutuuka ku nsalo ey’Abagesuli, n’Abamaakasi, n’ekitundu kya Gireyaali, ensalo ya Sikoni kabaka we Kesuboni.
6 这二王是耶和华仆人摩西和以色列人所击杀的;耶和华仆人摩西将他们的地赐给吕便人、迦得人,和玛拿西半支派的人为业。
Musa omuweereza wa Mukama n’abaana ba Isirayiri babawangula, era ensi yaabwe Musa omuweereza wa Mukama n’agiwa Abalewubeeni, n’Abagaadi n’ekitundu ky’ekika kya Manase.
7 约书亚和以色列人在约旦河西击杀了诸王。他们的地是从黎巴嫩平原的巴力·迦得,直到上西珥的哈拉山。约书亚就将那地按着以色列支派的宗族分给他们为业,
Bano be bakabaka b’ensi, Yoswa n’abaana ba Isirayiri be baawangula ku luuyi lw’ebugwanjuba olwa Yoludaani okuva ku Baalugadi mu kiwonvu kya Lebanooni okutuuka ku lusozi Kalaki okwambuka okutuuka e Seyiri. Yoswa yagiwa ebika bya Isirayiri bigigabane nga bwe byali byayawulwamu.
8 就是赫人、亚摩利人,迦南人、比利洗人、希未人、耶布斯人的山地、高原亚拉巴、山坡、旷野,和南地。
Mu nsi ey’ensozi, ne mu nsi ey’ensenyi ne mu Alaba ne ku bitundu ebya wansi ku nsozi, ne mu ddungu ne mu nsi ey’obugwanjuba mu Negevu, ensi ez’Abakiiti, n’Abamoli, n’Abakanani, n’Abaperezi, n’Omukiivi, n’Omuyebusi.
9 他们的王:一个是耶利哥王,一个是靠近伯特利的艾城王,
Kabaka w’e Yeriko omu, ne kabaka w’e Ayi ekiriraanye Beseri omu,
10 一个是耶路撒冷王,一个是希伯 王,
ne kabaka w’e Yerusaalemi omu, ne kabaka w’e Kebbulooni omu,
11 一个是耶末王,一个是拉吉王,
ne kabaka w’e Yalamusi omu, ne kabaka w’e Lakisi omu,
12 一个是伊矶伦王,一个是基色王,
n’ow’e Egulooni omu, n’ow’e Gezeri omu,
13 一个是底璧王,一个是基德王,
ne kabaka w’e Debiri omu, n’ow’e Gederi omu,
14 一个是何珥玛王,一个是亚拉得王,
n’ow’e Koluma omu, n’ow’e Yaladi omu,
15 一个是立拿王,一个是亚杜兰王,
n’ow’e Libuna omu, n’ow’e Adulamu omu,
16 一个是玛基大王,一个是伯特利王,
n’ow’e Makkeda omu, n’ow’e Beseri omu,
17 一个是他普亚王,一个是希弗王,
ne kabaka ow’e Tappua omu, n’owe Keferi omu,
18 一个是亚弗王,一个是拉沙 王,
n’ow’e Afeki omu n’ow’e Lasaloni omu,
19 一个是玛顿王,一个是夏琐王,
n’ow’e Madoni omu, n’ow’e Kazoli omu,
20 一个是伸 ·米 王,一个是押煞王,
ne kabaka w’e Simuloni Meroni omu, ne kabaka w’e Akusafu omu,
21 一个是他纳王,一个是米吉多王,
n’ow’e Taanaki omu, n’ow’e Megiddo omu,
22 一个是基低斯王,一个是靠近迦密的约念王,
n’ow’e Kedesi omu, ne kabaka w’e Yokuneamu ku Kalumeeri omu,
23 一个是多珥山冈的多珥王,一个是吉甲的戈印王,
ne kabaka w’e Doli ku lusozi Doli omu, ne kabaka w’e Goyiyimu mu Girugaali omu,
24 一个是得撒王;共计三十一个王。
n’ow’e Tiruza omu. Bonna awamu bakabaka amakumi asatu mu omu.

< 约书亚记 12 >