< 约拿书 4 >
Naye Yona n’anyiiga nnyo.
2 就祷告耶和华说:“耶和华啊,我在本国的时候岂不是这样说吗?我知道你是有恩典、有怜悯的 神,不轻易发怒,有丰盛的慈爱,并且后悔不降所说的灾,所以我急速逃往他施去。
N’alyoka yeemulugunyiza Katonda n’amugamba nti, “Kino ddala kye nalowooza, Mukama, bwe nnali mu nsi ye waffe, lwe wasooka okuŋŋamba okujja eno. Kye kyanzirusa n’okunzirusa okugenda e Talusiisi; kubanga namanya nti ggwe oli Katonda ajjudde obulungi, alwawo okusunguwala, alina ekisa ekingi, era namanya nti ojja kwanguwa okukyusa entegeka zo ez’okuzikiriza abantu bano.
3 耶和华啊,现在求你取我的命吧!因为我死了比活着还好。”
Kale nno nkwegayiridde Mukama nzita; okufa kisinga okuba omulamu.”
Awo Mukama n’agamba nti, “Olina ekituufu kw’osinziira okunyiiga?”
5 于是约拿出城,坐在城的东边,在那里为自己搭了一座棚,坐在棚的荫下,要看看那城究竟如何。
Awo Yona n’afuluma ebweru w’ekibuga n’abeera ku luuyi lwakyo olw’ebuvanjuba, era ne yeekolerawo akasiisira mu makoola, n’alinda alabe ekinatuuka ku kibuga.
6 耶和华 神安排一棵蓖麻,使其发生高过约拿,影儿遮盖他的头,救他脱离苦楚;约拿因这棵蓖麻大大喜乐。
Ebikoola by’akasiisira bwe by’awotoka olw’omusana, Mukama Katonda n’ategeka ekiryo ne kimera mangu amakoola gaakyo ne gabikka ku mutwe gwa Yona ne gakendeeza ku musana. Yona n’asanyuka nnyo olw’ekiryo.
7 次日黎明, 神却安排一条虫子咬这蓖麻,以致枯槁。
Naye ate enkeera Katonda n’aleeta ekiwuka, ne kirya ekiryo ne kikala ne kifa.
8 日头出来的时候, 神安排炎热的东风,日头曝晒约拿的头,使他发昏,他就为自己求死,说:“我死了比活着还好!”
Ng’enjuba yeewanise, Katonda n’alyoka alagira embuyaga ey’Ebuvanjuba ey’olubugumu okufuuwa Yona, omusana ne gumwokya nnyo mu mutwe okutuusa lwe yazirika. N’ayagala afe. N’ayogera nti, “Okufa kusinga okuba omulamu.”
9 神对约拿说:“你因这棵蓖麻发怒合乎理吗?”他说:“我发怒以至于死,都合乎理!”
Mukama n’alyoka amubuuza nti, “Olina ekituufu kw’osinziira okunyiiga olw’ekiryo ekikaze ne kifa?” Yona n’addamu nti, “Yee, kituufu nze okunyiiga ennyo n’okwegomba okufa.”
10 耶和华说:“这蓖麻不是你栽种的,也不是你培养的;一夜发生,一夜干死,你尚且爱惜;
Mukama n’amugamba nti, “Osaalirwa olw’ekibikka kyo ekyonoonese songa si ggwe wakimeza, ate nga kyo kyali kya kiseera buseera.
11 何况这尼尼微大城,其中不能分辨左手右手的有十二万多人,并有许多牲畜,我岂能不爱惜呢?”
Kale lwaki nange sandisaasidde Nineeve, ekibuga ekyo ekinene n’abantu baamu emitwalo ekkumi n’ebiri n’okusingawo, n’ente zaakyo ennyingi bwe zityo, abantu abatasobola kwawula kirungi na kibi?”