< 约伯记 41 >
1 你能用鱼钩钓上鳄鱼吗? 能用绳子压下它的舌头吗?
“Oyinza okusikayo lukwata n’eddobo, oba okusiba olulimi lwayo n’omuguwa?
2 你能用绳索穿它的鼻子吗? 能用钩穿它的腮骨吗?
Oyinza okuyingiza omuguwa mu nnyindo zaayo, oba okuwummula oluba lwayo n’eddobo?
Eneekwegayirira ng’ekusaba nti, ogikwatirwe ekisa? Eneeyogera naawe mu bigambo ebigonvu?
Eneekola naawe endagaano ogitwale ekuweereze obulamu bwayo bwonna?
5 你岂可拿它当雀鸟玩耍吗? 岂可为你的幼女将它拴住吗?
Onoozannya nayo nga bw’ozannya n’akanyonyi, oba okugisiba n’olukoba ng’agisibira bawala bo?
6 搭伙的渔夫岂可拿它当货物吗? 能把它分给商人吗?
Abasuubuzi banaagiramuza, oba banaagibala ng’ekyamaguzi?
7 你能用倒钩枪扎满它的皮, 能用鱼叉叉满它的头吗?
Oyinza okuvuba eddiba lyayo n’olijjuza amalobo, oba omutwe okugufumita n’amafumu agafumita ebyennyanja?
8 你按手在它身上,想与它争战, 就不再这样行吧!
Bw’oligissaako engalo zo ekirivaamu tolikyerabira, toliddayo kukikola!
Essuubi lyonna ery’okugiwangula ffu, okugirabako obulabi kimalamu amaanyi.
10 没有那么凶猛的人敢惹它。 这样,谁能在我面前站立得住呢?
Teri n’omu mukambwe nnyo asobola kugyaŋŋanga. Kale, ani oyo asobola okuyimirira mu maaso gange?
11 谁先给我什么,使我偿还呢? 天下万物都是我的。
Ani alina kye yali ampoze musasule? Byonna ebiri wansi w’eggulu byange.
12 论到鳄鱼的肢体和其大力,并美好的骨骼, 我不能缄默不言。
“Ku bikwata ku mikono n’ebigere byayo siisirike, amaanyi gaayo n’ekikula kyayo bya ssimbo.
Ani ayinza okugiggyako eddiba lyayo ery’oku ngulu? Ani ayinza okuyuza ekizibaawo kyayo eky’amaliba abiri?
Ani ayinza okuggula enzigi z’akamwa kaayo? Amannyo gaayo geetooloddwa entiisa.
15 它以坚固的鳞甲为可夸, 紧紧合闭,封得严密。
Omugongo gwe gujjudde enkalala z’engabo ezisibiddwa okumukumu.
Zonna zisibaganye nga tewali mpewo weeyita.
Zakwatagana, ziri ku zinnaazo era tezisobola kwawulibwa.
18 它打喷嚏就发出光来; 它眼睛好像早晨的光线。
Bw’eyasimula, ebimyanso bijja, n’amaaso gaayo gali nga enjuba ng’egwa.
Mu kamwa kaayo muvaamu ebiriro ebyaka. Kavaamu ensasi ez’omuliro.
20 从它鼻孔冒出烟来, 如烧开的锅和点着的芦苇。
Mu nnyindo zaayo muvaamu omukka ng’ogwentamu eyeesera eri ku muliro ogw’emmuli ezaaka.
Omukka oguva mu nnyindo zaayo gukoleeza Amanda.
Mu nsingo yaayo mulimu amaanyi, n’entiisa eri mu maaso gaayo.
Emiwula gy’ennyama yaayo gyegasse; gikutte nnyo era tegisobola kwenyeenya.
Ekifuba kyayo kigumu ng’olwazi, kigumu ng’olubengo.
25 它一起来,勇士都惊恐, 心里慌乱,便都昏迷。
Bwesituka ab’amaanyi batya. Badduka olw’okubwatuka kwayo.
26 人若用刀,用枪,用标枪, 用尖枪扎它,都是无用。
Ekitala bwe kigituukako tekirina kye kiyinza kumukolako, oba ffumu, oba omuwunda wadde akasaale akasongovu.
Emenya ebyuma gy’obeera nti ekutulakutula bisasiro, ebyo ebikomo ebimenyaamenya ng’emiti emivundu.
Akasaale tekayinza kugiddusa, amayinja ag’envumuulo gaba nga biti gy’eri.
Embukuuli nayo eri ng’ebisusunku gy’eri. Esekerera amafumu agakasukibwa.
Amagalagamba g’oku lubuto lwayo gali ng’engyo z’ensuwa. Bwe yeekulula mu bitosi ebeera ng’ekyuma ekiwuula.
Ereetera obuziba bw’ennyanja okuba ng’entamu eyeesera. Ennyanja n’eba ng’entamu y’omuzigo ogufumbibwa.
Mu mazzi mw’eyise, erekamu ekkubo ery’amayengo ameeru; ne kireeta n’ekirowoozo nti obuziba bulina envi.
Tewali kigyenkana ku nsi; ekitonde ekitatya.
34 凡高大的,它无不藐视; 它在骄傲的水族上作王。
Enyooma buli kisolo. Ye kabaka w’abo bonna ab’amalala.”