< 耶利米书 51 >

1 耶和华如此说: 我必使毁灭的风刮起, 攻击巴比伦和住在立加米的人。
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Laba, ndiyimusa omwoyo gw’omuzikiriza alumbe Babulooni n’abantu ba Lebukamaayi.
2 我要打发外邦人来到巴比伦, 簸扬她,使她的地空虚。 在她遭祸的日子, 他们要周围攻击她。
Ndituma abagwira e Babulooni bamuwewe era bazikirize ensi ye; balimulumba ku buli luuyi ku lunaku olw’okuzikirira kwe.
3 拉弓的,要向拉弓的和贯甲挺身的射箭。 不要怜惜她的少年人; 要灭尽她的全军。
Omulasi talikuba busaale bwe, taliyambala wadde ebyambalo bye ebyokulwanyisa. Temusonyiwa batabani be; muzikiririze ddala amaggye ge.
4 他们必在迦勒底人之地被杀仆倒, 在巴比伦的街上被刺透。
Baligwa nga battiddwa e Babulooni, nga batuusiddwako ebiwundu eby’amaanyi mu nguudo ze.
5 以色列和犹大虽然境内充满违背以色列圣者的罪, 却没有被他的 神—万军之耶和华丢弃。
Kubanga Yuda ne Isirayiri tebinnalekebwa Katonda waabwe, oyo Mukama Katonda ow’Eggye, wadde ng’ensi yaabwe esingiddwa omusango mu maaso g’Omutukuvu wa Isirayiri.
6 你们要从巴比伦中逃奔, 各救自己的性命! 不要陷在她的罪孽中一同灭亡; 因为这是耶和华报仇的时候, 他必向巴比伦施行报应。
“Mudduke Babulooni. Mudduke okuwonya obulamu bwammwe. Temusaanawo olw’ebibi bye. Kiseera kya Mukama okwesasuza; alimusasula ekyo ekimusaanira.
7 巴比伦素来是耶和华手中的金杯, 使天下沉醉; 万国喝了她的酒就颠狂了。
Babulooni yali kikompe kya zaabu mu mukono gwa Mukama; yatamiiza ensi yonna. Amawanga gaanywa wayini we, kyegavudde galaluka.
8 巴比伦忽然倾覆毁坏; 要为她哀号; 为止她的疼痛, 拿乳香或者可以治好。
Babulooni kirigwa mangu ago ne kimenyekamenyeka. Mukikungubagire. Munoonye eddagala olw’obulumi bw’akyo oboolyawo anaawonyezebwa.
9 我们想医治巴比伦, 她却没有治好。 离开她吧!我们各人归回本国; 因为她受的审判通于上天,达到穹苍。
“‘Twandiwonyezza Babulooni, naye tayinza kuwonyezeka. Leka tumuleke buli muntu adde mu nsi ye, kubanga omusango gwe gutuuse mu bwengula, gusituse gulinnye okutuuka ku bire.’
10 耶和华已经彰显我们的公义。 来吧!我们可以在锡安 报告耶和华—我们 神的作为。
“‘Mukama atulwaniridde, mujje tukitegeeze mu Sayuuni ekyo Mukama Katonda waffe ky’akoze.’
11 你们要磨尖了箭头, 抓住盾牌。 耶和华定意攻击巴比伦,将她毁灭,所以激动了米底亚君王的心;因这是耶和华报仇,就是为自己的殿报仇。
“Muwagale obusaale, mukwate engabo! Mukama ayungudde bakabaka ab’e Bumeedi, kubanga ekigendererwa kye kuzikiriza Babulooni. Mukama aliwalana eggwanga, aliwalana eggwanga olwa yeekaalu ye.
12 你们要竖立大旗, 攻击巴比伦的城墙; 要坚固了望台, 派定守望的设下埋伏; 因为耶和华指着巴比伦居民所说的话、 所定的意,他已经作成。
Muyimuse bendera mwolekere bbugwe wa Babulooni! Mwongereko abakuumi, muteekeko abaserikale, mutegeke okulumba mbagirawo! Mukama alituukiriza ekigendererwa bye, ensala ye okwolekera abantu ba Babulooni.
13 住在众水之上多有财宝的啊, 你的结局到了! 你贪婪之量满了!
Gwe abeera okumpi n’amazzi amangi, omugagga mu bintu eby’omuwendo, enkomerero yo etuuse, ekiseera kyo eky’okuzikirizibwa kituuse.
14 万军之耶和华指着自己起誓说: 我必使敌人充满你,像蚂蚱一样; 他们必呐喊攻击你。
Mukama Katonda ow’Eggye yeerayiridde ku lulwe; ddala ndikujjuza abasajja, ng’ebibinja by’enzige, era balireekaana nga bakuwangudde.
15 耶和华用能力创造大地, 用智慧建立世界, 用聪明铺张穹苍。
“Ensi yagikola n’amaanyi ge; yagiteekawo n’amagezi ge, n’ayanjuluza eggulu n’okutegeera kwe.
16 他一发声,空中便有多水激动; 他使云雾从地极上腾。 他造电随雨而闪, 从他府库中带出风来。
Bw’abwatuka, amazzi ag’omu ggulu gawuluguma; ayimusa ebire okuva ku nkomerero y’ensi. Amyansisa eggulu mu nkuba era n’aggya empewo mu mawanika ge.
17 各人都成了畜类,毫无知识。 各银匠都因他的偶像羞愧; 他所铸的偶像本是虚假的, 其中并无气息,
“Buli muntu talina magezi wadde okutegeera; Buli muweesi aswadde olw’ebifaananyi bya bakatonda by’akoze n’emikono gye. Ebifaananyi bye bya bulimba; tebirina mukka.
18 都是虚无的,是迷惑人的工作, 到追讨的时候,必被除灭。
Tebiriiko kye bigasa, ebisaanye okunyoomebwa ebirizikirizibwa nga Mukama azze okusala omusango.
19 雅各的分不像这些, 因他是造作万有的主; 以色列也是他产业的支派。 万军之耶和华是他的名。
Oyo omugabo gwa Yakobo tali nga bano, kubanga yakola ebintu byonna, nga mwotwalidde n’eggwanga ly’omugabo gwe, n’erinnya lye ye Mukama Katonda ow’Eggye.
20 你是我争战的斧子和打仗的兵器; 我要用你打碎列国, 用你毁灭列邦;
“Muli mbazzi yange, ekyokulwanyisa kyange eky’olutalo, mmwe be nkozesa okubetenta amawanga, mmwe be nkozesa okuzikiriza obwakabaka,
21 用你打碎马和骑马的; 用你打碎战车和坐在其上的;
era ggwe gwe ndikozesa okubetenta embalaasi n’omwebagazi, ggwe gwe ndikozesa okubetenta ekigaali n’omuvuzi waakyo,
22 用你打碎男人和女人; 用你打碎老年人和少年人; 用你打碎壮丁和处女;
era ggwe gwe ndikozesa okubetenta omusajja n’omukazi, era ggwe ndikozesa okubetenta omukadde n’omuvubuka, era ggwe gwe ndikozesa okubetenta omuvubuka n’omuwala omuto.
23 用你打碎牧人和他的群畜; 用你打碎农夫和他一对牛; 用你打碎省长和副省长。
Ggwe gwe ndikozesa okubetenta omusumba n’ekisibo kye, ggwe gwe ndikozesa okubetenta omulimi n’ente ennume, ggwe gwe ndikozesa okubetenta bagavana n’abakungu.
24 耶和华说:“我必在你们眼前报复巴比伦人和迦勒底居民在锡安所行的诸恶。”
“Ndisasula Babulooni ne bonna ababeeramu nga mulaba olw’ebibi byonna bye baakola mu Sayuuni,” bw’ayogera Mukama.
25 耶和华说: 你这行毁灭的山哪, 就是毁灭天下的山, 我与你反对。 我必向你伸手, 将你从山岩滚下去, 使你成为烧毁的山。
“Mbalinako ensonga, ggwe olusozi oluzikiriza, mmwe abazikiriza ensi yonna,” bw’ayogera Mukama. “Ndikugolererako omukono gwange, nkusuule ku mayinja g’ensozi, nkufuule olusozi olutakyayaka.
26 人必不从你那里取石头为房角石, 也不取石头为根基石; 你必永远荒凉。 这是耶和华说的。
Tewali jjinja lirikuggibwako kukola jjinja lya ku nsonda, wadde ejjinja lyonna okukola omusingi, kubanga olibeera matongo emirembe gyonna,” bw’ayogera Mukama.
27 要在境内竖立大旗, 在各国中吹角, 使列国预备攻击巴比伦, 将亚拉腊、米尼、亚实基拿各国招来攻击她; 又派军长来攻击她, 使马匹上来如蚂蚱,
“Yimusa bendera mu ggwanga! Fuuwa omulere mu mawanga! Tegeka amawanga okumulwanyisa; koowoola obwakabaka buno bumulumbe: obwa Alalati ne Mini ne Asukenaazi. Londa omuduumizi amulumba, weereza embalaasi eziri ng’ekibinja ky’enzige.
28 使列国和米底亚君王,与省长和副省长, 并他们所管全地之人,都预备攻击她。
Teekateeka amawanga okumulwanyisa; bakabaka Abameedi, bagavana baabwe era n’abakungu baabwe bonna, n’amawanga ge bafuga.
29 地必震动而瘠苦; 因耶和华向巴比伦所定的旨意成立了, 使巴比伦之地荒凉,无人居住。
Ensi ekankana ne yeenyola olw’obulumi, kubanga ebigendererwa bya Mukama eri Babulooni tebikyuka, okuzikiriza ensi ya Babulooni waleme kubaawo agibeeramu.
30 巴比伦的勇士止息争战, 藏在坚垒之中。 他们的勇力衰尽,好像妇女一样。 巴比伦的住处有火着起, 门闩都折断了。
Abalwanyi ba Babulooni balekedde awo okulwana; basigadde mu bigo byabwe. Baweddemu amaanyi; bafuuse nga bakazi. Ebifo bye mw’abeera byokeddwa omuliro; emitayimbwa gy’oku nzigi ze gimenyeddwa.
31 跑报的要彼此相遇, 送信的要互相迎接, 报告巴比伦王说: 城的四方被攻取了,
Matalisi omu agoberera omulala, omubaka omu n’agoberera munne, okulangirira eri kabaka w’e Babulooni nti ekibuga kye kyonna kiwambiddwa,
32 渡口被占据了, 苇塘被火烧了, 兵丁也惊慌了。
entindo z’emigga baziwambye, ensenyi ziyidde omuliro, n’abaserikale batidde.”
33 万军之耶和华—以色列的 神如此说: 巴比伦城好像踹谷的禾场; 再过片时,收割她的时候就到了。
Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, “Muwala wa Babulooni ali ng’egguuliro, mu kiseera w’analinnyiririrwa; ebiseera eby’okumukungula binaatera okutuuka.”
34 以色列人说: 巴比伦王尼布甲尼撒吞灭我,压碎我, 使我成为空虚的器皿。 他像大鱼将我吞下, 用我的美物充满他的肚腹, 又将我赶出去。
“Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni atukubyekubye, atutabudde, tufuuse ekikompe ekyereere. Atumize ng’omusota n’olubuto lwe n’alujjuza ebyassava byaffe ebiwooma, ffe n’atusesema.
35 锡安的居民要说: 巴比伦以强暴待我, 损害我的身体, 愿这罪归给她。 耶路撒冷人要说: 愿流我们血的罪归到迦勒底的居民。
Leka okubonaabona okututuuseeko kubeere ku Babulooni,” bwe boogera abatuula mu Sayuuni. “Leka omusaayi gubeere ku abo ababeera mu Babulooni,” bwayogera Yerusaalemi.
36 所以,耶和华如此说: 我必为你伸冤,为你报仇; 我必使巴比伦的海枯竭,使她的泉源干涸。
Mukama kyava ayogera nti, “Laba ndikulwanirira era ndikuwolerera eggwanga; Ndikaliza ennyanja ye n’ensulo ze.
37 巴比伦必成为乱堆,为野狗的住处, 令人惊骇、嗤笑, 并且无人居住。
Babulooni kirifuuka bifunvu, mpuku ya bibe, ekintu ekyenyinyalwa n’okusekererwa, ekifo omutali abeeramu.
38 他们要像少壮狮子咆哮, 像小狮子吼叫。
Abantu baakyo bonna bawuluguma ng’empologoma ento, bavuumira wamu ng’abaana b’empologoma.
39 他们火热的时候, 我必为他们设摆酒席, 使他们沉醉,好叫他们快乐, 睡了长觉,永不醒起。 这是耶和华说的。
Naye nga bakyabuguumirira, ndibategekera ekijjulo, mbatamiize balyoke balekaane nga baseka, olwo beebake emirembe gyonna nga tebazuukuse,” bw’ayogera Mukama.
40 我必使他们像羊羔、 像公绵羊和公山羊下到宰杀之地。
“Ndibaserengesa ng’abaana b’endiga, battibwe, ng’endiga n’embuzi.
41 示沙克何竟被攻取? 天下所称赞的何竟被占据? 巴比伦在列国中何竟变为荒场?
“Sesaki nga kiriwambibwa, okujaguza kw’ensi yonna kugwewo. Babulooni kifuuse matongo eri amawanga!
42 海水涨起,漫过巴比伦; 她被许多海浪遮盖。
Ennyanja eribuutikira Babulooni; amayengo gaayo agawuluguma galigisaanikira.
43 她的城邑变为荒场、旱地、沙漠, 无人居住,无人经过之地。
Ebibuga bye birisigala matongo, ensi enkalu ey’eddungu, ensi eteriimu muntu, eteyitamu muntu yenna.
44 我必刑罚巴比伦的彼勒, 使他吐出所吞的。 万民必不再流归他那里; 巴比伦的城墙也必坍塌了。
Ndibonereza Beri mu Babulooni, mmusesemye bye yali amize. Amawanga nga tegakyesomba kugenda gyali. Ne bbugwe wa Babulooni aligwa.
45 我的民哪,你们要从其中出去! 各人拯救自己,躲避耶和华的烈怒。
“Mukiveemu, abantu bange! Mudduke muwonye obulamu bwammwe! Mudduke muwone obusungu bwa Mukama obubuubuuka.
46 你们不要心惊胆怯, 也不要因境内所听见的风声惧怕; 因为这年有风声传来; 那年也有风声传来, 境内有强暴的事, 官长攻击官长。
Temutya wadde okuggwaamu amaanyi ng’eŋŋambo ziyitiŋŋana mu nsi; olugambo olumu lujja omwaka guno, olulala omwaka ogujja, eŋŋambo z’entalo mu ggwanga, era ez’omufuzi ng’alwana ne mufuzi munne.
47 日子将到,我必刑罚巴比伦雕刻的偶像。 她全地必然抱愧; 她被杀的人必在其中仆倒。
Kubanga ekiseera kijja lwe ndibonereza ebifaananyi bya bakatonda ba Babulooni abaakolebwa n’emikono; ensi eyo yonna eritabanguka, n’emirambo gy’abantu baayo abattiddwa gyonna gibeere omwo.
48 那时,天地和其中所有的, 必因巴比伦欢呼, 因为行毁灭的要从北方来到她那里。 这是耶和华说的。
Eggulu n’ensi ne byonna ebibirimu birireekana olw’essanyu olwa Babulooni, abalimuzikiriza balimulumba okuva mu bukiikakkono,” bw’ayogera Mukama.
49 巴比伦怎样使以色列被杀的人仆倒, 照样她全地被杀的人也必在巴比伦仆倒。
“Babulooni kirigwa olw’Abayisirayiri abaafa, nga bonna abaafa mu nsi yonna bwe baweddewo olwa Babulooni.
50 你们躲避刀剑的要快走, 不要站住! 要在远方记念耶和华, 心中追想耶路撒冷。
Mmwe abawonye ekitala, mwanguwe okugenda! Mujjukire Mukama nga muli mu nsi ey’ewala, mulowooze ku Yerusaalemi.”
51 我们听见辱骂就蒙羞,满面惭愧, 因为外邦人进入耶和华殿的圣所。
“Tuweddemu amaanyi kubanga tuvumiddwa era tukwatiddwa ensonyi, kubanga abagwira bayingidde mu bifo ebitukuvu eby’ennyumba ya Mukama.”
52 耶和华说: 日子将到,我必刑罚巴比伦雕刻的偶像, 通国受伤的人必唉哼。
“Naye ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama, “lwe ndibonereza ebifaananyi bya bakatonda be, be yakola n’emikono, era mu nsi ye yonna, abaliko ebisago balisinda.
53 巴比伦虽升到天上, 虽使她坚固的高处更坚固, 还有行毁灭的从我这里到她那里。 这是耶和华说的。
Newaakubadde nga Babulooni atuuka ku bire era ne yeenyweza n’ebigo bye eby’amaanyi, ndimusindikira abazikiriza,” bw’ayogera Mukama.
54 有哀号的声音从巴比伦出来; 有大毁灭的响声从迦勒底人之地发出。
“Eddoboozi ly’okukaaba liva mu Babulooni, eddoboozi ery’okuzikirira okunene okuva mu nsi y’Abakaludaaya.
55 因耶和华使巴比伦变为荒场, 使其中的大声灭绝。 仇敌仿佛众水, 波浪匉訇,响声已经发出。
Mukama alizikiriza Babulooni, alizikiza oluyoogaano lwakyo olunene. Amayengo g’abalabe galijja ng’amazzi amangi; okuwuluguma kw’amaloboozi kuliwulirwa.
56 这是行毁灭的临到巴比伦。 巴比伦的勇士被捉住, 他们的弓折断了; 因为耶和华是施行报应的 神, 必定施行报应。
Omuzikiriza alirumba Babulooni; abalwanyi be baliwambibwa, n’emitego gyabwe girimenyebwa. Kubanga Mukama Katonda asasula, alisasula mu bujjuvu.
57 君王—名为万军之耶和华的说: 我必使巴比伦的首领、 智慧人、省长、副省长,和勇士都沉醉, 使他们睡了长觉,永不醒起。
Nditamiiza abakungu be n’abasajja be abajjudde amagezi, ne bagavana, ab’ebitongole awamu n’abalwanyi; balyebaka emirembe gyonna era tebalizuukuka,” bw’ayogera Kabaka ayitibwa Mukama Katonda ow’Eggye.
58 万军之耶和华如此说: 巴比伦宽阔的城墙必全然倾倒; 她高大的城门必被火焚烧。 众民所劳碌的必致虚空; 列国所劳碌的被火焚烧, 他们都必困乏。
Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti, “Bbugwe wa Babulooni omunene alisendebwa era n’emiryango gye emiwanvu gyokebwe; abantu beetawanyiza bwerere nga bafuba, okutawaana kw’eggwanga kuliba nku za muliro.”
59 犹大王西底家在位第四年,上巴比伦去的时候,玛西雅的孙子、尼利亚的儿子西莱雅与王同去(西莱雅是王宫的大臣),先知耶利米有话吩咐他。
Buno bwe bubaka Yeremiya bwe yawa omukungu Seraya mutabani wa Neriya, mutabani wa Maseya, bwe yagenda e Babulooni ne Zeddekiya kabaka wa Yuda, nga Zeddekiya afuga mu mwaka gwe ogwokuna. Seraya ye yali omu ku bakungu abakulu.
60 耶利米将一切要临到巴比伦的灾祸,就是论到巴比伦的一切话,写在书上。
Yeremiya yali awandiise mu muzingo ebikangabwa byonna ebyali bigenda okutuuka ku Babulooni, byonna ebyali biwandiikiddwa ebyali bikwata ku Babulooni.
61 耶利米对西莱雅说:“你到了巴比伦务要念这书上的话;
Yagamba Seraya nti, “Bw’otuuka mu Babulooni, laba ng’osoma mu ddoboozi ery’omwanguka ebigambo bino byonna.
62 又说:‘耶和华啊,你曾论到这地方说:要剪除,甚至连人带牲畜没有在这里居住的,必永远荒凉。’
Olwo ogambe nti, ‘Ayi Mukama, ogambye nti olizikiriza ekifo kino, nti tewali nsolo oba muntu alikibeeramu; kibeere matongo emirembe gyonna.’
63 你念完了这书,就把一块石头拴在书上,扔在幼发拉底河中,
Bw’omalanga okusoma omuzingo guno gusibeeko ejjinja ogukanyuge mu mugga Fulaati.
64 说:‘巴比伦因耶和华所要降与她的灾祸,必如此沉下去,不再兴起,人民也必困乏。’” 耶利米的话到此为止。
Olyoke ogambe nti, ‘Bw’ati Babulooni bwalisaanawo aleme kubbulukuka olw’akabi ke ndimuleetako. N’abantu be balizikirira.’” Ebigambo bya Yeremiya bikoma awo.

< 耶利米书 51 >