< 耶利米书 28 >
1 当年,就是犹大王西底家登基第四年五月,基遍人押朔的儿子,先知哈拿尼雅,在耶和华的殿中当着祭司和众民对我说:
Mu mwezi ogwokutaano ogw’omwaka gwe gumu, gwe mwaka ogwokuna, obufuzi bwa Zeddekiya kabaka wa Yuda nga bw’akatandika, nnabbi Kananiya omwana wa Azuri eyali abeera e Gibyoni n’aŋŋambira mu nnyumba ya Mukama nga bakabona n’abantu bonna we bali nti,
2 “万军之耶和华—以色列的 神如此说:我已经折断巴比伦王的轭。
“Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Nzija kumenya ekikoligo kya kabaka w’e Babulooni.
3 二年之内,我要将巴比伦王尼布甲尼撒从这地掠到巴比伦的器皿,就是耶和华殿中的一切器皿都带回此地。
Emyaka ebiri nga teginnaggwaako, ndikomyawo ebintu by’omu nnyumba ya Mukama mu kifo kino, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni bye yaggya wano n’abitwala e Babulooni.
4 我又要将犹大王约雅敬的儿子耶哥尼雅和被掳到巴比伦去的一切犹大人带回此地,因为我要折断巴比伦王的轭。这是耶和华说的。”
Era ndikomyawo wano Yekoyakini mutabani wa Yekoyakimu kabaka wa Yuda n’abantu abalala bonna abaava mu Yuda abaatwalibwa e Babulooni,’ bw’ayogera Mukama, ‘kubanga ndimenya ekikoligo kya kabaka w’e Babulooni.’”
5 先知耶利米当着祭司和站在耶和华殿里的众民对先知哈拿尼雅说:
Awo nnabbi Yeremiya n’addamu mu bunnabbi bwa Kananiya nga ne bakabona n’abantu bonna we bali bayimiridde mu nnyumba ya Mukama, n’agamba nti,
6 “阿们!愿耶和华如此行,愿耶和华成就你所预言的话,将耶和华殿中的器皿和一切被掳去的人从巴比伦带回此地。
“Amiina! Bw’atyo Mukama bw’aba akola! Mukama atuukirize ebigambo by’oyogedde ng’akomyawo ebintu eby’omu nnyumba ya Mukama era n’abawambe bonna abakomyewo mu kifo kino okuva mu Babulooni.
Wabula, wuliriza kye ŋŋenda okwogera ng’owuliriza n’abantu bano bonna nga bawulira.
8 从古以来,在你我以前的先知,向多国和大邦说预言,论到争战、灾祸、瘟疫的事。
Okuva edda n’edda bannabbi abaatusooka, ggwe nange baategeezanga kubaawo kwa ntalo, na bikangabwa na kawumpuli okugwa ku mawanga n’obwakabaka obw’amaanyi.
9 先知预言的平安,到话语成就的时候,人便知道他真是耶和华所差来的。”
Naye nnabbi eyategeeza obunnabbi obw’emirembe ajja kulabibwa nga ddala atumiddwa Mukama era ng’obubaka bw’ategeeza butuukiridde.”
10 于是,先知哈拿尼雅将先知耶利米颈项上的轭取下来,折断了。
Awo nnabbi Kananiya n’alyoka akwata ekikoligo ekyali ku nsingo ya Yeremiya n’akimenya,
11 哈拿尼雅又当着众民说:“耶和华如此说:二年之内我必照样从列国人的颈项上折断巴比伦王尼布甲尼撒的轭。”于是先知耶利米就走了。
n’alyoka ayogera eri abantu bonna nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Mu ngeri y’emu bw’eti, bwe ndimenya ekikoligo ekya Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni okuva ku mawanga gonna mu myaka ebiri.’” Naye ye nnabbi Yeremiya n’avaawo ne yeetambulira.
12 先知哈拿尼雅把先知耶利米颈项上的轭折断以后,耶和华的话临到耶利米说:
Bwe waayitawo ebbanga ttono nga nnabbi Kananiya amenye ekikoligo ku nsingo ya Yeremiya, ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya nti,
13 “你去告诉哈拿尼雅说,耶和华如此说:你折断木轭,却换了铁轭!
“Genda ogambe Kananiya nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Omenye ekikoligo kya muti naye mu kifo kyakyo ojja kufunamu kikoligo kya kyuma.
14 因为万军之耶和华—以色列的 神如此说:我已将铁轭加在这些国的颈项上,使他们服事巴比伦王尼布甲尼撒,他们总要服事他;我也把田野的走兽给了他。”
Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Nditeeka ekikoligo eky’ekyuma mu nsingo z’amawanga gano gonna baweereze Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni era balimuweereza. Ndimuwa obuyinza n’ensolo azifuge.’”
15 于是先知耶利米对先知哈拿尼雅说:“哈拿尼雅啊,你应当听!耶和华并没有差遣你,你竟使这百姓倚靠谎言。
Awo nnabbi Yeremiya n’agamba nnabbi Kananiya nti, “Wuliriza, Kananiya! Mukama tannakutuma naye ggwe owalirizza eggwanga lino okwesiga obulimba.
16 所以耶和华如此说:看哪,我要叫你去世,你今年必死,因为你向耶和华说了叛逆的话。”
Noolwekyo kino Mukama kyagamba nti, ‘Ndikumpi okukuggya ku nsi. Omwaka guno gwennyini ogenda kufa, kubanga oyigirizza abantu okujeemera Mukama.’”
Mu mwezi ogw’omusanvu ogw’omwaka gwe gumu, Kananiya n’afa.