< 以赛亚书 54 >

1 你这不怀孕、不生养的要歌唱; 你这未曾经过产难的要发声歌唱,扬声欢呼; 因为没有丈夫的比有丈夫的儿女更多。 这是耶和华说的。
“Yimba ggwe omugumba atazaalanga; tandika okuyimbira mu ddoboozi ery’omwanguka osanyukire ddala ggwe atalumwanga kuzaala. Kubanga ggwe eyalekebwa ojja kuba n’abaana bangi okusinga oyo akyalina bba,” bw’ayogera Mukama.
2 要扩张你帐幕之地, 张大你居所的幔子,不要限止; 要放长你的绳子, 坚固你的橛子。
“Gaziya weema yo, owanvuye emiguwa gyayo, tokwata mpola; nyweza enkondo zo.
3 因为你要向左向右开展; 你的后裔必得多国为业, 又使荒凉的城邑有人居住。
Kubanga olisaasaanira ku mukono gwo ogwa ddyo era n’ogwa kkono, n’ezzadde lyo lirirya amawanga, era abantu bo balituula mu bibuga ebyalekebwa awo ebyereere.
4 不要惧怕,因你必不致蒙羞; 也不要抱愧,因你必不致受辱。 你必忘记幼年的羞愧, 不再记念你寡居的羞辱。
“Totya kubanga toliddayo kukwatibwa nsonyi. Toggwaamu maanyi kubanga togenda kuswazibwa. Olyerabira ensonyi z’obuvubuka bwo, n’ekivume ky’obwannamwandu bwo tolikijjukira nate.
5 因为造你的是你的丈夫; 万军之耶和华是他的名。 救赎你的是以色列的圣者; 他必称为全地之 神。
Kubanga Omutonzi wo ye balo, Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye. Omutukuvu wa Isirayiri ye Mununuzi wo, Katonda ow’ensi yonna, bw’ayitibwa.
6 耶和华召你, 如召被离弃心中忧伤的妻, 就是幼年所娶被弃的妻。 这是你 神所说的。
Kubanga Mukama Katonda yakuyita okomewo, ng’omukazi eyali alekeddwawo ng’alina ennaku ku mutima; omukazi eyafumbirwa ng’akyali muto, n’alekebwawo,” bw’ayogera Katonda wo.
7 我离弃你不过片时, 却要施大恩将你收回。
“Nakulekako akaseera katono nnyo; naye ndikukuŋŋaanya n’okusaasira okungi.
8 我的怒气涨溢, 顷刻之间向你掩面, 却要以永远的慈爱怜恤你。 这是耶和华—你的救赎主说的。
Obusungu obubuubuuka bwe bwankwata nakweka amaaso gange okumala ekiseera, naye ndikukwatirwa ekisa n’okwagala okutaliggwaawo,” bw’ayogera Mukama Katonda, Omununuzi wo.
9 这事在我好像挪亚的洪水。 我怎样起誓不再使挪亚的洪水漫过遍地, 我也照样起誓不再向你发怒, 也不斥责你。
“Kubanga gye ndi, bino biri nga bwe byali mu biseera bya Nuuwa. Nga bwe nalayira nti amazzi ga Nuuwa tegagenda kuddamu kulabikako ku nsi, bwe ntyo ndayira nti siriddayo kukusunguwalira wadde okukunenya.
10 大山可以挪开, 小山可以迁移; 但我的慈爱必不离开你; 我平安的约也不迁移。 这是怜恤你的耶和华说的。
Kubanga ensozi ziyinza okuvaawo n’obusozi okuggyibwawo naye okwagala kwange okutaggwaawo tekulisagaasagana so n’endagaano yange ey’emirembe teriggyibwawo,” bw’ayogera Mukama Katonda akusaasira.
11 你这受困苦、被风飘荡不得安慰的人哪, 我必以彩色安置你的石头, 以蓝宝石立定你的根基;
Mukama agamba nti, “Ggwe Yerusaalemi ekibuga ekibonyaabonyezebwa, ekisuukundibwa emiyaga awatali kulaba ku mirembe; laba ndikuzimba buto n’amayinja ag’amabala amalungi, emisingi gyo ne gizimbibwa ne safiro.
12 又以红宝石造你的女墙, 以红玉造你的城门, 以宝石造你四围的边界。
Ebitikkiro byo ndibikola n’amayinja amatwakaavu, n’emiryango gyo ne ngikola ne kabunkulo, ne bbugwe yenna ne mwetoolooza amayinja ag’omuwendo.
13 你的儿女都要受耶和华的教训; 你的儿女必大享平安。
N’abaana bo bonna baliyigirizibwa Mukama; n’emirembe gy’abaana bo giriba mingi.
14 你必因公义得坚立, 必远离欺压,不致害怕; 你必远离惊吓,惊吓必不临近你。
Olinywezebwa mu butuukirivu era toojoogebwenga, kubanga tolitya, onoobanga wala n’entiisa kubanga terikusemberera.
15 即或有人聚集,却不由于我; 凡聚集攻击你的,必因你仆倒。
Omuntu yenna bwakulumbanga kiriba tekivudde gye ndi. Buli anaakulumbanga anaawangulwanga ku lulwo.
16 吹嘘炭火、打造合用器械的铁匠是我所造; 残害人、行毁灭的也是我所造。
Laba nze natonda omuweesi, awujja amanda agaliko omuliro n’aweesa ekyokulwanyisa olw’omugaso gwakyo. Era nze natonda abazikiriza abakozesa ekyokulwanyisa okumalawo obulamu.
17 凡为攻击你造成的器械必不利用; 凡在审判时兴起用舌攻击你的, 你必定他为有罪。 这是耶和华仆人的产业, 是他们从我所得的义。 这是耶和华说的。
Naye teri kyakulwanyisa kye baliweesa ekirikwolekera ne kikusobola, era oliwangula buli lulimi olulikuvunaana era oluwoza naawe. Guno gwe mugabo gw’abaddu ba Mukama, n’obutuukirivu bwabwe obuva gye ndi,” bw’ayogera Mukama.

< 以赛亚书 54 >

A Dove is Sent Forth from the Ark
A Dove is Sent Forth from the Ark