< 以赛亚书 49 >

1 众海岛啊,当听我言! 远方的众民哪,留心而听! 自我出胎,耶和华就选召我; 自出母腹,他就提我的名。
Mumpulirize mmwe ebizinga, mmwe muwulire kino amawanga agali ewala. Nnali sinazaalibwa Mukama n’ampita. Bwe nnali nkyali mu lubuto lwa mmange n’ayatula erinnya lyange.
2 他使我的口如快刀, 将我藏在他手荫之下; 又使我成为磨亮的箭, 将我藏在他箭袋之中;
Yakola akamwa kange ng’ekitala eky’obwogi, nankweka mu kisiikirize ky’omukono gwe. Yanfuula akasaale akazigule era nankweka mu mufuko gwe.
3 对我说:你是我的仆人以色列; 我必因你得荣耀。
Era n’aŋŋamba nti, “Ggwe muweereza wange, Isirayiri, mu ggwe mwe ndiweerwa ekitiibwa.”
4 我却说:我劳碌是徒然; 我尽力是虚无虚空。 然而,我当得的理必在耶和华那里; 我的赏赐必在我 神那里。
Naye ne njogera nti, “Nteganidde bwereere, amaanyi gange ng’amalidde bwereere era gafudde busa. Kyokka ate Mukama yannamula, n’empeera yange eri ne Katonda wange!”
5 耶和华从我出胎,造就我作他的仆人, 要使雅各归向他, 使以色列到他那里聚集。 原来耶和华看我为尊贵; 我的 神也成为我的力量。
Era kaakano Mukama ayogera, oyo eyammumba mu lubuto okubeera omuweereza we, okukomyawo Yakobo gy’ali era n’okukuŋŋaanya Isirayiri gy’ali. Kubanga ndi wa kitiibwa mu maaso ga Mukama era Katonda wange afuuse amaanyi gange.
6 现在他说:你作我的仆人, 使雅各众支派复兴, 使以色列中得保全的归回尚为小事, 我还要使你作外邦人的光, 叫你施行我的救恩,直到地极。
Mukama agamba nti, “Eky’okubeera omuweereza wange n’okuzza amawanga ga Yakobo era n’okukomyawo abantu ba Isirayiri kintu kitono nnyo. Nzija kukufuula ekitangaala eri abamawanga, olyoke oleete obulokozi bwange eri ensi yonna.”
7 救赎主—以色列的圣者耶和华 对那被人所藐视、本国所憎恶、 官长所虐待的如此说: 君王要看见就站起, 首领也要下拜; 都因信实的耶和华, 就是拣选你—以色列的圣者。
Bw’ati bw’ayogera Mukama, Omununuzi era Omutukuvu wa Isirayiri, eri oyo eyanyoomebwa n’akyayibwa amawanga, eri omuweereza w’abafuzi nti, “Bakabaka baliyimirira ne bakuwa ekitiibwa, abalangira balikulaba ne bakuvuunamira. Kino kiribaawo ku lwa Mukama, omwesigwa Omutukuvu wa Isirayiri, oyo akulonze.”
8 耶和华如此说: 在悦纳的时候,我应允了你; 在拯救的日子,我济助了你。 我要保护你, 使你作众民的中保; 复兴遍地, 使人承受荒凉之地为业。
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Ndikwanukula mu biro mwe ndisiimira, ku lunaku olw’obulokozi ndikuyamba. Ndikukuuma ne nkufuula endagaano eri abantu, muliddayo ku ttaka lyammwe ne muddizibwa ebitundu byammwe ebyazika,
9 对那被捆绑的人说:出来吧! 对那在黑暗的人说:显露吧! 他们在路上必得饮食, 在一切净光的高处必有食物。
nga mugamba abasibe nti, ‘Muveemu,’ n’abo abali mu kizikiza nti, ‘Mube n’eddembe!’ “Banaaliranga ku mabbali g’ekkubo, ne ku ntikko z’obusozi bwonna obwereere banasangangako omuddo.
10 不饥不渴, 炎热和烈日必不伤害他们; 因为怜恤他们的必引导他们, 领他们到水泉旁边。
Tebaalumwenga njala newaakubadde ennyonta, ebbugumu ly’omu ddungu teriibakwatenga newaakubadde omusana okubookya. Oyo abakwatirwa ekisa alibakulembera, anaabatwalanga awali enzizi z’amazzi.
11 我必使我的众山成为大道; 我的大路也被修高。
Era ndifuula ensozi zange zonna okuba amakubo era enguudo zange ennene zirigulumizibwa.
12 看哪,这些从远方来; 这些从北方、从西方来; 这些从秦国来。
Laba, abantu bange balidda okuva ewala, abamu, baliva mu bukiikakkono n’abalala ebuvanjuba, n’abalala bave mu nsi ye Sinimu.”
13 诸天哪,应当欢呼! 大地啊,应当快乐! 众山哪,应当发声歌唱! 因为耶和华已经安慰他的百姓, 也要怜恤他困苦之民。
Yogerera waggulu n’essanyu, era jjaguza ggwe ensi. Muyimbe mmwe ensozi! Kubanga Mukama agumya abantu be era alisaasira abantu be ababonyaabonyezebwa.
14 锡安说:耶和华离弃了我; 主忘记了我。
Naye Sayuuni n’ayogera nti, “Mukama andese, era Mukama wange anneerabidde.”
15 妇人焉能忘记她吃奶的婴孩, 不怜恤她所生的儿子? 即或有忘记的, 我却不忘记你。
“Nnyina w’omwana ayinza okwerabira omwana we gw’ayonsa, n’atasaasira mwana eyava mu lubuto lwe? Weewaawo, wadde ng’ayinza okumwerabira naye nze sirikwerabira.
16 看哪,我将你铭刻在我掌上; 你的墙垣常在我眼前。
Laba, nkuwandiise mu bibatu by’engalo zange; ebisenge byo binaabeeranga mu maaso gange.
17 你的儿女必急速归回; 毁坏你的,使你荒废的,必都离你出去,
Abaana bo banguwa okujja era abakuzimba balisukkuluma ku bakuzikiriza era abo abaakuzikirizanga balikuvaamu bagende.
18 你举目向四方观看; 他们都聚集来到你这里。 耶和华说:我指着我的永生起誓: 你必要以他们为妆饰佩戴, 以他们为华带束腰,像新妇一样。
Yimusa amaaso go otunule enjuuyi zonna olabe. Abantu bo beekuŋŋaanya bajja gy’oli. Nga bwe ndi Katonda omulamu, balikwesiimisa, obambale ng’ebikomo n’emidaali ebyebbeeyi ng’omugole bw’ayambala malidaadi,” bw’ayogera Mukama.
19 至于你荒废凄凉之处, 并你被毁坏之地, 现今众民居住必显为太窄; 吞灭你的必离你遥远。
“Wadde nga wazika n’olekebwa awo ensi yo n’ezikirizibwa, kaakano ojja kubeera mufunda nga toja mu bantu bo, era abo abakuteganya banaakubeeranga wala.
20 你必听见丧子之后所生的儿女说: 这地方我居住太窄, 求你给我地方居住。
Abantu bo abazaalibwa mu buwaŋŋanguse lumu balyogera ng’owulira nti, ‘Ekifo kino nga kifuuse kifunda bulala; tuwe ekifo aw’okubeera.’
21 那时你心里必说:我既丧子独居, 是被掳的,漂流在外。 谁给我生这些? 谁将这些养大呢? 撇下我一人独居的时候, 这些在哪里呢?
N’olyoka oyogera mu mutima gwo nti, ‘Ani eyanzaalira abaana bano bonna? Nafiirwa abaana bange bonna ng’ate ndi mugumba. Nawaŋŋangusibwa ne nsigala nzekka. Bano baava ludda wa? Nasigala nzekka, naye ate bano, baava wa?’”
22 主耶和华如此说: 我必向列国举手, 向万民竖立大旗; 他们必将你的众子怀中抱来, 将你的众女肩上扛来。
Bw’atyo bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Laba, ndikolera abamawanga obubonero era ndiyimusiza abantu ebbendera yange: era balireeta batabani bo nga babasitulidde mu bifuba ne bawala bo nga babasitulidde ku bibegabega byabwe.
23 列王必作你的养父; 王后必作你的乳母。 他们必将脸伏地,向你下拜, 并舔你脚上的尘土。 你便知道我是耶和华; 等候我的必不致羞愧。
Era bakabaka be balibeera ba kitammwe babalabirire, ne bannabagereka babeere bamaama ababayonsa. Balivuunama mu maaso go nga batunudde wansi; balikomba enfuufu y’omu bigere byo. Olwo lw’olimanya nti nze Mukama, abo bonna abannindirira n’abansuubiriramu tebalikwatibwa nsonyi.”
24 勇士抢去的岂能夺回? 该掳掠的岂能解救吗?
Omunyago guyinza okuggyibwa ku mutabaazi, oba omuwambe omutuukirivu okuwona omutabaazi?
25 但耶和华如此说: 就是勇士所掳掠的,也可以夺回; 强暴人所抢的,也可以解救。 与你相争的,我必与他相争; 我要拯救你的儿女。
Naye bw’ati bw’ayogera Mukama: “N’oyo eyawambibwa omutabaazi alisumululwa ateebwe, n’omunyago guggyibwe ku mulabe wo, kubanga ndiyomba n’oyo ayomba naawe, era ndirokola mponye abaana bo.
26 并且我必使那欺压你的吃自己的肉, 也要以自己的血喝醉,好像喝甜酒一样。 凡有血气的必都知道我—耶和华是你的救主, 是你的救赎主,是雅各的大能者。
Ndiriisa abakujooga ennyama yaabwe bo. Era balittiŋŋana batamiire omusaayi gwabwe, nga wayini. Olwo abalina omubiri bonna bamanye nti nze Mukama Omulokozi wo, Omununuzi wo, ow’Amaanyi owa Yakobo.”

< 以赛亚书 49 >