< 以赛亚书 28 >
1 祸哉!以法莲的酒徒, 住在肥美谷的山上, 他们心里高傲, 以所夸的为冠冕, 犹如将残之花。
Zikusanze engule ey’amalala g’abatamiivu aba Efulayimu, zikusanze ekimuli ekiwotoka eky’obulungi bw’ekitiibwa kye, ekiri ku mutwe gw’ekiwonvu ekigimu, Zikusanze ekibuga ky’abo abatamiivu.
2 看哪,主有一大能大力者, 像一阵冰雹, 像毁灭的暴风, 像涨溢的大水, 他必用手将冠冕摔落于地。
Laba, Mukama wa maanyi mangi ddala, ng’embuyaga ey’omuzira n’embuyaga ezikiriza, ng’enkuba ey’amaanyi ereeta amataba, bwe ndisuula ekibuga ekyo n’amaanyi mangi.
Engule ey’amalala ey’abatamiivu ba Efulayimu aligibetenta n’ebigere bye.
4 那荣美将残之花, 就是在肥美谷山上的, 必像夏令以前初熟的无花果; 看见这果的就注意, 一到手中就吞吃了。
Ekimuli ekyo ekiwotoka eky’obulungi bw’ekitiibwa kye ekiri waggulu w’ekiwonvu ekigimu, kiriba ng’ettiini erisooka okwengera nga n’amakungula tegannatuuka, era omuntu bw’aliraba alinoga n’alirya.
5 到那日,万军之耶和华 必作他余剩之民的荣冠华冕,
Mu biro ebyo Mukama Katonda ow’Eggye aliba ngule ya kitiibwa, engule ennungi ey’abantu be abaasigalawo.
6 也作了在位上行审判者公平之灵, 并城门口打退仇敌者的力量。
Aliba n’omwoyo ogw’okusala ensonga mu bwenkanya oyo atuula n’asala emisango, Aliba nsibuko ya maanyi eri abo abawoza olutabaalo ku wankaaki.
7 就是这地的人也因酒摇摇晃晃, 因浓酒东倒西歪。 祭司和先知因浓酒摇摇晃晃, 被酒所困, 因浓酒东倒西歪。 他们错解默示, 谬行审判。
Ne bano nabo batagala olw’omwenge, era bawabye olw’ekitamiiza; Bakabona ne bannabbi batagala olw’ekitamiiza, era bawabye olw’omwenge; bawabye olw’ekitamiiza, batagala ne bava mu kwolesebwa, era tebasalawo nsonga.
Weewaawo emmeeza zonna ziriko ebisesemye, tewakyali kifo kiyonjo.
9 讥诮先知的说: 他要将知识指教谁呢? 要使谁明白传言呢? 是那刚断奶离怀的吗?
“Ani gw’agezaako okuyigiriza? Ani gw’annyonnyola obubaka bwe? Abaana abaakalekayo okuyonka oba abo abaakaggibwa ku mabeere?
10 他竟命上加命,令上加令, 律上加律,例上加例, 这里一点,那里一点。
Kubanga kola okole, kola okole Ekiragiro ku kiragiro, ekiragiro ku kiragiro, Wano katono na wali katono.”
11 先知说:不然,主要借异邦人的嘴唇 和外邦人的舌头对这百姓说话。
Weewaawo, Katonda alyogera eri abantu abo n’emimwa emigenyi mu lulimi olugwira,
12 他曾对他们说: 你们要使疲乏人得安息, 这样才得安息,才得舒畅, 他们却不肯听。
abo be yagamba nti, Kino kye kifo eky’okuwummuliramu eri oyo akooye, era kye kifo eky’okuwerera naye ne bagaana okuwuliriza.
13 所以,耶和华向他们说的话是 命上加命,令上加令, 律上加律,例上加例, 这里一点,那里一点, 以致他们前行仰面跌倒, 而且跌碎,并陷入网罗被缠住。
Noolwekyo ekigambo kya Mukama kyekiriva kibeera gye bali kola okole, kola okole, ekiragiro ku kiragiro, ekiragiro ku kiragiro, wano katono na wali katono, balyoke bagende bagwe kya bugazi, era balitegebwa, era ne batuukako ebisago ne bawambibwa.
14 所以,你们这些亵慢的人, 就是辖管住在耶路撒冷这百姓的, 要听耶和华的话。
Noolwekyo muwulire ekigambo kya Mukama Katonda mmwe abantu abanyoomi, mmwe abafuga abantu ababeera mu Yerusaalemi ne mubanyooma.
15 你们曾说: 我们与死亡立约, 与阴间结盟; 敌军如水涨漫经过的时候, 必不临到我们; 因我们以谎言为避所, 在虚假以下藏身。 (Sheol )
Weewaawo mwewaana nga bwe mugamba nti, “Twakola endagaano n’okufa, era twalagaana n’amagombe. Ekikangabwa eky’amaanyi ne bwe kijja, tekirina kye kiyinza kutukola, kubanga tufudde obulimba ekiddukiro kyaffe, era mu bukuusa mwe twekwese.” (Sheol )
16 所以,主耶和华如此说: 看哪,我在锡安放一块石头作为根基, 是试验过的石头, 是稳固根基,宝贵的房角石; 信靠的人必不着急。
Mukama Katonda Ayinzabyonna kyava agamba nti, “Laba, nteeka mu Sayuuni ejjinja, ejjinja eryagezesebwa, ery’oku nsonda, ery’omuwendo, okuba omusingi; oyo alyesiga taliterebuka.
17 我必以公平为准绳, 以公义为线铊。 冰雹必冲去谎言的避所; 大水必漫过藏身之处。
Ndifuula obwenkanya okuba omuguwa ogupima, n’obutuukirivu okuba omuguwa ogutereeza, era omuzira gulyera ekiddukiro ekyobulimba, n’amazzi galyanjaala ku kifo eky’okwekwekamu.
18 你们与死亡所立的约必然废掉, 与阴间所结的盟必立不住。 敌军如水涨漫经过的时候, 你们必被他践踏; (Sheol )
N’endagaano gye walagaana n’okufa erijjulukuka, n’endagaano gye walagaana n’amagombe terinywera. Ekikangabwa eky’amaanyi bwe kirijja, kiribagwira. (Sheol )
19 每逢经过必将你们掳去。 因为每早晨他必经过, 白昼黑夜都必如此。 明白传言的必受惊恐。
Weewaawo buli lwe kinaayitanga, kinaabagwiranga buli lukya emisana n’ekiro.” Era okutegeera obubaka buno kirireeta ntiisa njereere.
20 原来,床榻短,使人不能舒身; 被窝窄,使人不能遮体。
Weewaawo ekitanda kimpi okwegololerako, ne bulangiti nnyimpi okwebikka.
21 耶和华必兴起,像在毗拉心山; 他必发怒,像在基遍谷, 好做成他的工,就是非常的工; 成就他的事,就是奇异的事。
Weewaawo Mukama aligolokoka nga bwe yagolokoka ku Lusozi Perazimu, era alisunguwala nga bwe yasunguwalira mu Kiwonvu eky’e Gibyoni, alyoke akole omulimu gwe, omulimu gwe ogwewuunyisa, atuukirize omulimu gwe, omulimu gwe ogwewuunyisa.
22 现在你们不可亵慢, 恐怕捆你们的绑索更结实了; 因为我从主—万军之耶和华那里听见, 已经决定在全地上施行灭绝的事。
Noolwekyo mulekeraawo okunyooma, enjegere zammwe zireme kweyongera kubazitoowerera. Nawulira okuva eri Mukama Katonda ow’Eggye ng’awa ekiragiro ekizikiriza ensi yonna.
Muwulirize, era muwulire eddoboozi lyange; Musseeyo omwoyo, muwulire kye ŋŋamba.
24 那耕地为要撒种的, 岂是常常耕地呢? 岂是常常开垦耙地呢?
Omulimi bw’alima nga yeetegekera okusimba, alima lutata? Alima bw’ayimirira n’atema amavuunike mu ttaka?
25 他拉平了地面, 岂不就撒种小茴香, 播种大茴香, 按行列种小麦, 在定处种大麦, 在田边种粗麦呢?
Bw’amala okulyanjaala, tasigamu mpinnamuti, n’asaasaanya kumino? Tasiga ŋŋaano mu kifo kyayo, ne sayiri mu kibanja kyayo, n’omukyere mu nnimiro yaagwo?
Katonda we amuwa ebiragiro, n’amuyigiriza ekkubo etuufu.
27 原来打小茴香,不用尖利的器具, 轧大茴香,也不用碌碡; 但用杖打小茴香, 用棍打大茴香。
Empinnamuti teziwuulibwa na luso, newaakubadde okunyiga kumino ne nnamuziga w’eggaali. Empinnamuti zikubibwa na muggo ne kumino n’ekubibwa n’oluga.
28 做饼的粮食是用磨磨碎, 因它不必常打; 虽用碌碡和马打散, 却不磨它。
Empeke eteekwa okuseebwa okuvaamu omugaati, So n’omuntu tagiwuula butamala. Newaakubadde ng’agitambulizaako nnamuziga w’eggaali lye eriwuula, Embalaasi ze si zeezigisa.
29 这也是出于万军之耶和华— 他的谋略奇妙; 他的智慧广大。
Bino byonna nabyo biva eri Mukama Katonda ow’Eggye, ow’ekitalo mu kuteesa ebigambo, asinga amagezi.