< 创世记 36 >

1 以扫就是以东,他的后代记在下面。
Bino bye bifa ku b’olulyo lwa Esawu, ye Edomu.
2 以扫娶迦南的女子为妻,就是赫人以伦的女儿亚大和希未人祭便的孙女、亚拿的女儿阿何利巴玛,
Esawu yawasa abakazi ng’abaggya mu Bakanani: Yawasa Ada muwala wa Eroni Omukiiti, ne Okolibama muwala wa Ana mutabani wa Zibyoni Omukiivi,
3 又娶了以实玛利的女儿、尼拜约的妹子巴实抹。
ne Basimansi muwala wa Isimayiri muganda wa Nebayoosi.
4 亚大给以扫生了以利法;巴实抹生了流珥;
Ada n’azaalira Esawu Erifaazi, ne Basimansi n’azaala Leweri;
5 阿何利巴玛生了耶乌施、雅兰、可拉。这都是以扫的儿子,是在迦南地生的。
ne Okolibama n’azaala Yewusi, ne Yalamu ne Koola; abo be batabani ba Esawu abaamuzaalirwa mu nsi ya Kanani.
6 以扫带着他的妻子、儿女,与家中一切的人口,并他的牛羊、牲畜,和一切货财,就是他在迦南地所得的,往别处去,离了他兄弟雅各。
Awo Esawu n’atwala bakazi be, ne batabani be, ne bawala be n’abantu be bonna, n’ente ze, awamu n’ebintu bye byonna bye yafuna mu nsi ya Kanani; n’agenda mu nsi ey’ewala ku ya muganda we Yakobo.
7 因为二人的财物群畜甚多,寄居的地方容不下他们,所以不能同居。
Kubanga obugagga bwabwe bwali bungi nnyo nga tebukyabasobozesa kubeera wamu n’ensi mwe baali ng’ebafundiridde olw’obungi bw’ebisolo byabwe.
8 于是以扫住在西珥山里;以扫就是以东。
Olwo ye Esawu, era ye Edomu, n’abeera mu nsi ey’ensozi za Seyiri.
9 以扫是西珥山里以东人的始祖,他的后代记在下面。
Bino bye bifa ku b’olulyo lwa Esawu, kitaawe w’Abaedomu abaamuzaalirwa ng’ali mu nsi y’ensozi za Seyiri.
10 以扫众子的名字如下。以扫的妻子亚大生以利法;以扫的妻子巴实抹生流珥。
Batabani be baali: Erifaazi eyamuzaalirwa Ada, ne Leweri eyamuzaalirwa Basimansi.
11 以利法的儿子是提幔、阿抹、洗玻、迦坦、基纳斯。
Batabani ba Erifaazi baali Temani, ne Omali, ne Zefo, ne Gatamu ne Kenazi.
12 亭纳是以扫儿子以利法的妾;她给以利法生了亚玛力。这是以扫的妻子亚大的子孙。
Timuna yali mukazi wa Erifaazi, mutabani wa Esawu era yamuzaalira Ameleki. Abo be batabani ba Ada mukazi wa Esawu.
13 流珥的儿子是拿哈、谢拉、沙玛、米撒。这是以扫妻子巴实抹的子孙。
Bano be batabani ba Leweri: Nakasi, ne Zeera, ne Saama ne Mizza. Abo be bazzukulu ba Esawu ne mukazi we Basemasi.
14 以扫的妻子阿何利巴玛是祭便的孙女,亚拿的女儿;她给以扫生了耶乌施、雅兰、可拉。
N’abaana ba Okolibama muwala wa Ana, muzzukulu wa Zibyoni, baali Yewusi, ne Yalamu ne Koola, be yazaalira bba Esawu.
15 以扫子孙中作族长的记在下面。以扫的长子以利法的子孙中,有提幔族长、阿抹族长、洗玻族长、基纳斯族长、
Bano be bakulu b’enda ya Esawu: Enda ya Erifaazi omubereberye wa Esawu: Temani, ne Omali, ne Zefo, ne Kenazi,
16 可拉族长、迦坦族长、亚玛力族长。这是在以东地从以利法所出的族长,都是亚大的子孙。
ne Koola, ne Gatamu ne Amaleki abaali mu nsi ya Edomu be batabani ba Ada.
17 以扫的儿子流珥的子孙中,有拿哈族长、谢拉族长、沙玛族长、米撒族长。这是在以东地从流珥所出的族长,都是以扫妻子巴实抹的子孙。
Enda ya Leweri mutabani wa Esawu: Nakasi, ne Zeera, ne Samma ne Mizza nabo baali mu nsi ya Edomu, era baava mu Basimansi, mukazi wa Esawu.
18 以扫的妻子阿何利巴玛的子孙中,有耶乌施族长、雅兰族长、可拉族长。这是从以扫妻子,亚拿的女儿,阿何利巴玛子孙中所出的族长。
Abaazaalibwa Okolibama mukazi wa Esawu, muwala wa Ana: Yewusi, ne Yalamu ne Koola.
19 以上的族长都是以扫的子孙;以扫就是以东。
Abo bonna be baava mu Esawu, ye Edomu, era be bakulu b’enda zaabwe.
20 那地原有的居民—何利人西珥的子孙记在下面:就是罗坍、朔巴、祭便、亚拿、
Batabani ba Seyiri Omukooli abaabeeranga mu Edomu be ba Lotani, ne Sobali, ne Zibyoni, ne Ana,
21 底顺、以察、底珊。这是从以东地的何利人西珥子孙中所出的族长。
ne Disoni, ne Ezeri ne Disani. Abo be baava mu Bakooli, be baana ba Seyiri abaali mu nsi ya Edomu.
22 罗坍的儿子是何利、希幔;罗坍的妹子是亭纳。
Batabani ba Lotani baali Kooli, ne Kemamu, era Lotani yalina mwannyina nga ye Timuna.
23 朔巴的儿子是亚勒文、玛拿辖、以巴录、示玻、阿南。
Batabani ba Sobali be ba Aluvani, ne Manakasi, ne Eberi, ne Sefo ne Onamu.
24 祭便的儿子是亚雅、亚拿(当时在旷野放他父亲祭便的驴,遇着温泉的,就是这亚拿)。
Aba Zibyoni, be ba Aya ne Ana; ono ye Ana eyavumbula ensulo z’amazzi agookya, ezaali mu ddungu; bwe yali ng’alunda endogoyi za kitaawe Zibyoni.
25 亚拿的儿子是底顺;亚拿的女儿是阿何利巴玛。
Abaana ba Ana be ba Disoni ne Okolibama omuwala.
26 底顺的儿子是欣但、伊是班、益兰、基兰。
Bo batabani ba Disoni be ba Kemudaani, ne Esubani, ne Isulani ne Kerani.
27 以察的儿子是辟罕、撒番、亚干。
Aba Ezeri be ba Birani, ne Zaavani ne Akani.
28 底珊的儿子是乌斯、亚兰。
Ate aba Disani be ba Uzi ne Alani.
29 从何利人所出的族长记在下面:就是罗坍族长、朔巴族长、祭便族长、亚拿族长、
Bano be bakulu b’enda za Bakooli: Lotani, ne Sobali, ne Zibyoni, ne Ana,
30 底顺族长、以察族长、底珊族长。这是从何利人所出的族长,都在西珥地,按着宗族作族长。
ne Disoni, ne Ezeri ne Disani. Bano be bakulu b’enda za Bakooli ng’ebika byabwe bwe byali, mu nsi ya Seyiri.
31 以色列人未有君王治理以先,在以东地作王的记在下面。
Bakabaka abafuga ensi ya Edomu, nga tewannaba na kabaka afuga Isirayiri be bano:
32 比珥的儿子比拉在以东作王,他的京城名叫亭哈巴。
Bera mutabani wa Byori yafuga Edomu ng’asinziira mu kibuga kye Dinukaba.
33 比拉死了,波斯拉人谢拉的儿子约巴接续他作王。
Bera bwe yafa Yobabu mutabani wa Zeera ow’e Bozula n’afuga mu kifo kye.
34 约巴死了,提幔地的人户珊接续他作王。
Yobabu bwe yafa Kusamu Omutemani n’afuga mu kifo kye.
35 户珊死了,比达的儿子哈达接续他作王;这哈达就是在摩押地杀败米甸人的,他的京城名叫亚未得。
Ne Kusamu bwe yafa, Kadadi mutabani wa Bedadi, eyawangula Midiyaani, mu nsi ya Mowaabu n’afuga mu kifo kye; ng’afugira mu kibuga ky’e Avisi.
36 哈达死了,玛士利加人桑拉接续他作王。
Ate Kadadi bwe yafa, Samula ow’e Masuleka n’afuga mu kifo kye.
37 桑拉死了,大河边的利河伯人扫罗接续他作王。
Samula bwe yafa Sawuli ow’e Lekobosi, ku mugga Fulaati n’afuga mu kifo kye.
38 扫罗死了,亚革波的儿子巴勒·哈南接续他作王。
Sawuli bwe yafa, Baalukanani mutabani wa Akubooli n’afuga mu kifo kye.
39 亚革波的儿子巴勒·哈南死了,哈达接续他作王,他的京城名叫巴乌;他的妻子名叫米希她别,是米·萨合的孙女,玛特列的女儿。
Ate Balukanani mutabani wa Akubooli bwe yafa, Kadali n’afuga mu kifo kye, ng’ali mu kibuga kye Pawu; mukazi we yayitibwanga Meketaberu muwala wa Mezakabu ne Matirida.
40 从以扫所出的族长,按着他们的宗族、住处、名字记在下面:就是亭纳族长、亚勒瓦族长、耶帖族长、
Bano be bakulu b’enda zaabo abaava mu Esawu, nga bwe baali mu bifo byabwe: Timuna, ne Aluva, ne Yesesi,
41 阿何利巴玛族长、以拉族长、比嫩族长、
ne Okolibama, ne Era, ne Pinoni,
42 基纳斯族长、提幔族长、米比萨族长、
ne Kenazi, ne Temani, ne Mibuza,
43 玛基叠族长、以兰族长。这是以东人在所得为业的地上,按着他们的住处。(所有的族长都是以东人的始祖以扫的后代。)
ne Magidiyeri, ne Iramu. Abo be bakulu b’enda ya Edomu, ye Esawu kitaawe wa Edomu, okusinziira mu bifo mwe baali mu nsi y’obutaka bwabwe.

< 创世记 36 >