< 出埃及记 13 >

1 耶和华晓谕摩西说:
Awo Mukama n’agamba Musa nti,
2 “以色列中凡头生的,无论是人是牲畜,都是我的,要分别为圣归我。”
“Ebibereberye byonna binjawulireko. Abaana abaggulanda mu Isirayiri yonna banaabanga bange; n’ebisolo ebiggulanda nabyo binaabanga byange.”
3 摩西对百姓说:“你们要记念从埃及为奴之家出来的这日,因为耶和华用大能的手将你们从这地方领出来。有酵的饼都不可吃。
Awo Musa n’agamba abantu nti, “Mujjukiranga olunaku luno, olunaku lwe mwaviirako mu Misiri, ensi gye mwafugibwanga ng’abaddu, kubanga Mukama yabaggyayo n’omukono gwe ogw’amaanyi. Temuliirangako mugaati gulimu kizimbulukusa.
4 亚笔月间的这日是你们出来的日子。
Ku lunaku lwa leero olw’omwezi guno Abibu, lwe musitudde okuva mu Misiri.
5 将来耶和华领你进迦南人、赫人、亚摩利人、希未人、耶布斯人之地,就是他向你的祖宗起誓应许给你那流奶与蜜之地,那时你要在这月间守这礼。
Mukama bw’alimala okubatuusa mu nsi y’Abakanani, n’Abakiiti, n’Abamoli; n’ey’Abakiivi, n’Abayebusi, ensi gye yalayirira bajjajjammwe okugibawa, ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki, mukwatanga omukolo guno mu mwezi guno.
6 你要吃无酵饼七日,到第七日要向耶和华守节。
Mumalanga ennaku musanvu nga mulya emigaati egitaliimu kizimbulukusa, ne ku lunaku olw’omusanvu kwe munaakoleranga embaga ya Mukama.
7 这七日之久,要吃无酵饼;在你四境之内不可见有酵的饼,也不可见发酵的物。
Munaalyanga emigaati egitali mizimbulukuse okumala ennaku musanvu; tewabangawo alabika n’omugaati omuzimbulukuse, wadde ekizimbulukusa okusangibwa nammwe mu nsi yammwe.
8 当那日,你要告诉你的儿子说:‘这是因耶和华在我出埃及的时候为我所行的事。
Ku lunaku olwo mulitegeeza abaana bammwe nti, ‘Tukola tuti nga tujjukira ebyo Mukama bye yatukolera nga tuva mu Misiri.’
9 这要在你手上作记号,在你额上作纪念,使耶和华的律法常在你口中,因为耶和华曾用大能的手将你从埃及领出来。
Omukolo guno gunaababeereranga ng’akabonero ku mikono gyammwe, oba mu byenyi wakati w’amaaso gammwe, okubajjukizanga etteeka lya Mukama eritaavenga ku mimwa gyammwe. Kubanga Mukama yabaggya mu Misiri n’omukono gwe ogw’amaanyi.
10 所以你每年要按着日期守这例。’”
Noolwekyo onookolanga ekiragiro kino bye kigamba, mu kiseera kyakyo buli mwaka, buli mwaka.
11 “将来,耶和华照他向你和你祖宗所起的誓将你领进迦南人之地,把这地赐给你,
“Mukama ng’amaze okubatuusa mu nsi y’Abakanani, nga bwe yabalayirira mmwe ne bajjajja bammwe, era agenda kugibawa,
12 那时你要将一切头生的,并牲畜中头生的,归给耶和华;公的都要属耶和华。
Mukama mumwawulirangako ebiggulanda byonna. Zisseddume zonna embereberye ez’amagana gammwe zinaabanga za Mukama.
13 凡头生的驴,你要用羊羔代赎;若不代赎,就要打折它的颈项。凡你儿子中头生的都要赎出来。
Buli kalogoyi akabereberye mukawaanyisangamu omwana gw’endiga ne mukanunulayo, naye bwe mutaakanunulenga mukamenyanga ensingo ne kafa. Ne buli mutabani wammwe omubereberye mumununulanga.
14 日后,你的儿子问你说:‘这是什么意思?’你就说:‘耶和华用大能的手将我们从埃及为奴之家领出来。
“Awo olulituuka batabani bammwe, bwe bababuuzanga nti, ‘Kino kye mukola kitegeeza ki?’ Mubaddangamu nti, ‘Kubanga Mukama yatuggya mu Misiri, ensi ey’obuddu, n’omukono gwe ogw’amaanyi.
15 那时法老几乎不容我们去,耶和华就把埃及地所有头生的,无论是人是牲畜,都杀了。因此,我把一切头生的公牲畜献给耶和华为祭,但将头生的儿子都赎出来。
Naye Falaawo bwe yali ng’akakanyadde ng’atugaanye okuvaayo, Mukama n’atta ebibereberye byonna mu nsi y’e Misiri; ababereberye b’abantu n’ebibereberye by’ebisolo. Noolwekyo kyetuva tuwaayo ssaddaaka eri Mukama ey’ebiggulanda byonna ebisajja; naye batabani baffe abaggulanda tubanunulayo.’
16 这要在你手上作记号,在你额上作经文,因为耶和华用大能的手将我们从埃及领出来。’”
Omukolo ogwo gunaababeereranga ng’akabonero akookebbwa ku mikono gyammwe, oba mu byenyi wakati w’amaaso gammwe; kubanga Mukama yabaggya mu Misiri n’omukono gwe ogw’amaanyi.”
17 法老容百姓去的时候,非利士地的道路虽近, 神却不领他们从那里走;因为 神说:“恐怕百姓遇见打仗后悔,就回埃及去。”
Awo abantu, bwe baasitula nga Falaawo amaze okubaleka, Katonda teyabayisa mu kkubo eriyita mu nsi y’Abafirisuuti, newaakubadde lye lyali ery’okumpi. Kubanga Katonda yagamba nti, “Singa bagwa mu lutalo, bayinza okwejjusa ne bawetamu ne baddayo e Misiri.”
18 所以 神领百姓绕道而行,走红海旷野的路。以色列人出埃及地,都带着兵器上去。
Bw’atyo Katonda n’abeekooloobya ng’abayisa mu kkubo ery’omu ddungu eriggukira ku Nnyanja Emyufu. Abaana ba Isirayiri baava mu nsi y’e Misiri nga bakutte ebyokulwanyisa byabwe nga beetegekedde okulwana.
19 摩西把约瑟的骸骨一同带去;因为约瑟曾叫以色列人严严地起誓,对他们说:“神必眷顾你们,你们要把我的骸骨从这里一同带上去。”
Awo Musa n’avaayo n’amagumba ga Yusufu, kubanga Yusufu yali alayizza abaana ba Isirayiri. Yabagamba nti, “Ddala, ddala Mukama agenda kubadduukirira. Kale, amagumba gange mugendanga nago nga muva wano.”
20 他们从疏割起行,在旷野边的以倘安营。
Bwe baava e Sukkosi ne bakuba eweema zaabwe mu Yesamu eddungu we litandikira.
21 日间,耶和华在云柱中领他们的路;夜间,在火柱中光照他们,使他们日夜都可以行走。
Emisana Mukama yabakulemberanga ng’ali mu mpagi ey’ekire okubalaga ekkubo, n’ekiro ng’ali mu mpagi ey’omuliro okubamulisiza, balyoke batambulenga emisana n’ekiro.
22 日间云柱,夜间火柱,总不离开百姓的面前。
Empagi ey’ekire ey’emisana, n’empagi ey’omuliro ey’ekiro tezaggibwawo mu maaso g’abantu obudde bwonna.

< 出埃及记 13 >