< 哥林多后书 1 >

1 奉 神旨意作基督耶稣使徒的保罗和兄弟提摩太,写信给在哥林多 神的教会,并亚该亚遍处的众圣徒。
Pawulo omutume wa Kristo Yesu, olw’okusiima kwa Katonda, n’owooluganda Timoseewo, tuwandiikira ekkanisa ya Katonda eri mu Kkolinso awamu n’abatukuvu bonna abali mu Akaya yonna,
2 愿恩惠、平安从 神我们的父和主耶稣基督归与你们!
ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo bibeerenga nammwe.
3 愿颂赞归与我们的主耶稣基督的父 神,就是发慈悲的父,赐各样安慰的 神。
Katonda oyo Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, Kitaffe ow’okusaasira era Katonda azaamu bonna amaanyi yeebazibwe,
4 我们在一切患难中,他就安慰我们,叫我们能用 神所赐的安慰去安慰那遭各样患难的人。
atuzaamu amaanyi mu kubonaabona kwonna kwe tuyitamu, tulyoke tugumye abalala abayita mu kubonaabona okwa buli ngeri, olw’okugumya kwe tufuna nga Katonda atuzaamu amaanyi.
5 我们既多受基督的苦楚,就靠基督多得安慰。
Kubanga nga bwe tugabana ku kubonaabona kwa Kristo, ne Kristo bw’atyo bw’atuzzaamu amaanyi.
6 我们受患难呢,是为叫你们得安慰,得拯救;我们得安慰呢,也是为叫你们得安慰;这安慰能叫你们忍受我们所受的那样苦楚。
Bwe tubonaabona, tubonaabona mulyoke muzibwemu amaanyi era mulokolebwe; oba ne bwe tuba nga tuzzibwamu endasi nammwe muzibwamu endasi, mulyoke mugumire okubonaabona kwe kumu kwe tuyitamu.
7 我们为你们所存的盼望是确定的,因为知道你们既是同受苦楚,也必同得安慰。
Essuubi lyaffe gye muli linywevu, nga tumanyi nti nga bwe mugabanira awamu naffe mu kubonaabona, bwe mutyo bwe mugabanira awamu naffe mu kuzibwamu amaanyi.
8 弟兄们,我们不要你们不晓得,我们从前在亚细亚遭遇苦难,被压太重,力不能胜,甚至连活命的指望都绝了;
Kubanga tetwagala mmwe abooluganda obutategeera, okubonaabona kwe twayitamu mu Asiya kwali kungi ekiyitiridde n’essuubi ery’okuba abalamu ne lituggwaamu.
9 自己心里也断定是必死的,叫我们不靠自己,只靠叫死人复活的 神。
Naye ffe ffennyini nga tusaliddwa gwa kufa, nga tetusaanidde kwetekamu bwesige bwaffe ffe, wabula mu Katonda azuukiza abafu,
10 他曾救我们脱离那极大的死亡,现在仍要救我们,并且我们指望他将来还要救我们。
eyatuwonya mu kufa okwo okw’entiisa, era anaatulokolanga, era gwe tulinamu essuubi ery’okutuwonyanga.
11 你们以祈祷帮助我们,好叫许多人为我们谢恩,就是为我们因许多人所得的恩。
Tukolere wamu nga mutusabira, bangi balyoke batwebalizeeko olw’ekirabo kye twaweebwa.
12 我们所夸的是自己的良心,见证我们凭着 神的圣洁和诚实;在世为人不靠人的聪明,乃靠 神的恩惠,向你们更是这样。
Tulina okwenyumiriza ng’omwoyo gwaffe gutujulira kubanga twatambulira mu buwombeefu ne mu mazima ga Katonda, so si mu magezi ag’omubiri, naye mu kisa kya Katonda nga tuli mu nsi n’okusingira ddala gye muli.
13 我们现在写给你们的话,并不外乎你们所念的、所认识的,我也盼望你们到底还是要认识;
Kubanga tetubawandiikira lwa bintu birala wabula ku ebyo bye musomako era ku ebyo bye mumanyiiko; era nsuubira nga mulibimanyira ddala okutuusa ku nkomerero,
14 正如你们已经有几分认识我们,以我们夸口,好像我们在我们主耶稣的日子以你们夸口一样。
era nga bwe mwamanyako ekitundu nti muli kya kwenyumiriza gye tuli nga naffe bwe tuli eky’okwenyumiriza gye muli ku lunaku lwa Mukama waffe Yesu.
15 我既然这样深信,就早有意到你们那里去,叫你们再得益处;
Olw’okwekakasa mu ekyo, nateekateeka okujja gye muli edda, mulyoke musanyuke omulundi ogwokubiri,
16 也要从你们那里经过,往马其顿去,再从马其顿回到你们那里,叫你们给我送行往犹太去。
nga mpita gye muli okugenda e Makedoniya, ate n’amadda nga nkomawo, mulyoke munsibirire okulaga e Buyudaaya.
17 我有此意,岂是反复不定吗?我所起的意,岂是从情欲起的,叫我忽是忽非吗?
Mulowooza nga nateekateeka bwe ntyo olwokubanga nnekyusiza? Oba nti ntekateeka ebintu nga ngoberera omubiri, nga ŋŋamba nti weewaawo ye weewaawo, ate nti si weewaawo, si weewaawo?
18 我指着信实的 神说,我们向你们所传的道,并没有是而又非的。
Naye nga Katonda bw’ali omwesigwa ekigambo kyaffe gye muli tekiri weewaawo ate nti si weewaawo.
19 因为我和西拉并提摩太,在你们中间所传 神的儿子耶稣基督,总没有是而又非的,在他只有一是。
Omwana wa Katonda Yesu Kristo gwe twababuulira, nze ne Sirwano ne Timoseewo teyali nti weewaawo ne si weewaawo, wabula mu ye mwe muli weewaawo bulijjo.
20 神的应许,不论有多少,在基督都是是的。所以借着他也都是实在的,叫 神因我们得荣耀。
Kubanga nga bwe biri ebisuubizo ebingi ebya Katonda, era mu ye kyetuva tugamba Amiina nga tuyita mu ye, Katonda atenderezebwe mu ffe.
21 那在基督里坚固我们和你们,并且膏我们的就是 神。
Naye atunyweza ffe awamu nammwe mu Kristo, era eyatufukako amafuta, ye Katonda,
22 他又用印印了我们,并赐圣灵在我们心里作凭据。
era ye oyo eyatussaako akabonero, n’atuwa amazima g’omwoyo mu mitima gyaffe.
23 我呼吁 神给我的心作见证,我没有往哥林多去是为要宽容你们。
Katonda oyo ye mujulirwa w’emmeeme yange, nga nabasabira ne sijja Kkolinso.
24 我们并不是辖管你们的信心,乃是帮助你们的快乐,因为你们凭信才站立得住。
Temusaanye kulowooza nti ffe tufuga okukkiriza kwammwe, naye tuli bakozi bannammwe, mulyoke musanyuke, kubanga okukkiriza kwammwe kwe kubanywezezza.

< 哥林多后书 1 >