< 历代志下 13 >

1 耶罗波安王十八年,亚比雅登基作犹大王,
Awo mu mwaka ogw’ekkumi n’omunaana ogw’obufuzi bwa Yerobowaamu, Abiya n’afuuka kabaka wa Yuda,
2 在耶路撒冷作王三年。他母亲名叫米该亚,是基比亚人乌列的女儿。 亚比雅常与耶罗波安争战。
era n’afugira mu Yerusaalemi emyaka esatu. Erinnya lya nnyina yali Mikaaya muwala wa Uliyeri ow’e Gibea. Ne waba olutalo wakati wa Abiya ne Yerobowaamu.
3 有一次亚比雅率领挑选的兵四十万摆阵,都是勇敢的战士;耶罗波安也挑选大能的勇士八十万,对亚比雅摆阵。
Abiya n’agenda mu lutalo ng’alina eggye lya basajja emitwalo amakumi ana, ate Yerobowaamu ng’alina abasajja emitwalo kinaana.
4 亚比雅站在以法莲山地中的洗玛脸山上,说:“耶罗波安和以色列众人哪,要听我说!
Awo Abiya n’ayimirira ku Lusozi Zemalayimu mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu, n’ayogera nti, “Yerobowaamu ne Isirayiri yenna, mumpulirize!
5 耶和华—以色列的 神曾立盐约,将以色列国永远赐给大卫和他的子孙,你们不知道吗?
Temumanyi nga Mukama Katonda wa Isirayiri, yagabula obwakabaka bwa Isirayiri eri Dawudi ne zadde lye emirembe gyonna olw’endagaano ey’omunnyo?
6 无奈大卫儿子所罗门的臣仆、尼八儿子耶罗波安起来背叛他的主人。
Naye Yerobowaamu mutabani wa Nebati, omuddu wa Sulemaani mutabani wa Dawudi, n’amugolokokerako n’amujeemera.
7 有些无赖的匪徒聚集跟从他,逞强攻击所罗门的儿子罗波安;那时罗波安还幼弱,不能抵挡他们。
Era waaliwo abasajja abalalulalu abamu abeegatta ku Yerobowaamu ne bajeemera Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani bwe yali omuto, nga talina kyayinza kusalawo, nga n’amaanyi ag’okubaziyiza tagalina.
8 “现在你们有意抗拒大卫子孙手下所治耶和华的国,你们的人也甚多,你们那里又有耶罗波安为你们所造当作神的金牛犊。
“Kaakano mulowooza nti muyinza okwaŋŋanga obwakabaka bwa Mukama obuli mu mikono gy’abazzukulu ba Dawudi, kubanga muli ekibiina kinene, abalina n’ennyana eza zaabu Yerobowaamu ze yabakolera okuba bakatonda bammwe abalala?
9 你们不是驱逐耶和华的祭司亚伦的后裔和利未人吗?不是照着外邦人的恶俗为自己立祭司吗?无论何人牵一只公牛犊、七只公绵羊将自己分别出来,就可作虚无之神的祭司。
Mwagoba bakabona ba Mukama, batabani ba Alooni, n’Abaleevi, ne mussaawo bakabona abammwe ng’amawanga ag’omu nsi endala bwe gakola. Buli aleeta ente ennume ento n’endiga ennume musanvu ayinza okwewaayo okufuuka kabona wa bakatonda abalala.
10 至于我们,耶和华是我们的 神,我们并没有离弃他。我们有事奉耶和华的祭司,都是亚伦的后裔,并有利未人各尽其职,
“Naye ffe, Mukama ye Katonda waffe, era tetumuvangako. Bakabona abaweereza Mukama, batabani ba Alooni, era bayambibwako Abaleevi.
11 每日早晚向耶和华献燔祭,烧美香,又在精金的桌子上摆陈设饼;又有金灯台和灯盏,每晚点起,因为我们遵守耶和华—我们 神的命;惟有你们离弃了他。
Buli nkya na buli kawungeezi bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’obubaane obwa kawoowo eri Mukama, ne bategeka n’emigaati egy’okulaga ku mmeeza eya zaabu omwereere, ne bakoleeza n’ettaala eziri ku bikondo ebya zaabu buli kawungeezi. Tugondera Mukama Katonda waffe nga tukola bye yatukuutira, naye mmwe mwamuvaako.
12 率领我们的是 神,我们这里也有 神的祭司拿号向你们吹出大声。以色列人哪,不要与耶和华—你们列祖的 神争战,因你们必不能亨通。”
Laba, Katonda ali naffe, era ye mukulembeze waffe, era ne bakabona be banaafuuwa amakondeere mu maloboozi ag’olutalo, okuggulawo okulwana nammwe. Abasajja Abayisirayiri temulwanyisa Mukama, Katonda wa bajjajjammwe, temujja kuwangula.”
13 耶罗波安却在犹大人的后头设伏兵。这样,以色列人在犹大人的前头,伏兵在犹大人的后头。
Naye mu kiseera kye kimu Yerobowaamu yali asindise abaserikale be okutaayiza emabega ne mu maaso ga Yuda.
14 犹大人回头观看,见前后都有敌兵,就呼求耶和华,祭司也吹号。
Laba Yuda bwe baakyuka ne balaba nga balumbiddwa okuva mu maaso n’emabega, ne bakaabira Mukama, ne bakabona ne bafuuwa amakondeere.
15 于是犹大人呐喊;犹大人呐喊的时候, 神就使耶罗波安和以色列众人败在亚比雅与犹大人面前。
Awo abasajja ba Yuda olwa wowogganira waggulu n’eddoboozi ery’olutalo, Katonda n’awangula Yerobowaamu ne Isirayiri yenna mu maaso ga Abiya ne Yuda.
16 以色列人在犹大人面前逃跑, 神将他们交在犹大人手里。
Abayisirayiri ne badduka okuva mu maaso ga Yuda, naye Mukama n’abawaayo mu mukono gwa Yuda.
17 亚比雅和他的军兵大大杀戮以色列人,以色列人仆倒死亡的精兵有五十万。
Abiya n’abasajja be ne batta bangi nnyo ku Bayisirayiri, ne waba emitwalo amakumi ataano ku abo abaafa.
18 那时,以色列人被制伏了,犹大人得胜,是因倚靠耶和华—他们列祖的 神。
Mu kiseera ekyo abasajja Abayisirayiri ne bawangulwa; abasajja ba Yuda ne baba bawanguzi kubanga beesiga Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe.
19 亚比雅追赶耶罗波安,攻取了他的几座城,就是伯特利和属伯特利的镇市,耶沙拿和属耶沙拿的镇市,以法拉音和属以法拉音的镇市。
Abiya n’agoba Yerobowaamu, n’amutwalako Beseri, ne Yesana, ne Efulooni wamu n’ebyalo ebiriraanye ebibuga ebyo.
20 亚比雅在世的时候,耶罗波安不能再强盛;耶和华攻击他,他就死了。
Yerobowaamu n’ataddamu nate kuba na buyinza mu mirembe gya Abiya, Mukama n’alwaza Yerobowaamu n’afa.
21 亚比雅却渐渐强盛,娶妻妾十四个,生了二十二个儿子,十六个女儿。
Awo Abiya n’aba w’amaanyi n’awasa abakazi kkumi na bana, n’abeera n’abaana aboobulenzi amakumi abiri mu babiri n’abaana aboobuwala kkumi na mukaaga.
22 亚比雅其余的事和他的言行都写在先知易多的传上。
Ebyafaayo ebirala ebyomumirembe gya Abiya, ne bye yakola ne bye yayogera, byawandiikibwa mu ngero za nnabbi Iddo.

< 历代志下 13 >