< 撒母耳记上 6 >
Awo essanduuko ya Mukama bwe yali yakamala emyezi musanvu mu nsi y’Abafirisuuti,
2 非利士人将祭司和占卜的聚了来,问他们说:“我们向耶和华的约柜应当怎样行?请指示我们用何法将约柜送回原处。”
Abafirisuuti ne batumya bakabona n’abafumu, ne bababuuza nti, “Tukolere ki essanduuko ya Mukama? Mututegeeze bwe tuba tugizzaayo mu kifo kyayo.”
3 他们说:“若要将以色列 神的约柜送回去,不可空空地送去,必要给他献赔罪的礼物,然后你们可得痊愈,并知道他的手为何不离开你们。”
Ne baddamu nti, “Bwe muba muzzaayo essanduuko ya katonda wa Isirayiri, temugiweereza awatali kirabo, naye mufuba okumuweereza ekiweebwayo olw’omusango. Olwo nno lwe munaawona, era munaabikulirwa kyeyavudde ababonereza.”
4 非利士人说:“应当用什么献为赔罪的礼物呢?”他们回答说:“当照非利士首领的数目,用五个金痔疮,五个金老鼠,因为在你们众人和你们首领的身上都是一样的灾。
Abafirisuuti ne babuuza nti, “Kiki kye tunamuweereza okuba ekiweebwayo olw’omusango?” Ne babaddamu nti, “Ebibumbe eby’ebizimba ebya zaabu bitaano n’ebibumbe eby’emmese eza zaabu bitaano, ng’omuwendo gwa bakulembeze b’Abafirisuuti bwe guli. “Mwabonerezebwa mu ngeri y’emu ng’abakulembeze bammwe n’ensi yammwe.
5 所以当制造你们痔疮的像和毁坏你们田地老鼠的像,并要归荣耀给以色列的 神,或者他向你们和你们的神,并你们的田地,把手放轻些。
Noolwekyo mukole ebibumbe eby’ebizimba n’eby’emmese ebireetedde ensi okusaanawo, muwe Katonda wa Isirayiri ekitiibwa; oboolyawo anaabasonyiwa, ne balubaale bammwe n’ensi yammwe.
6 你们为何硬着心像埃及人和法老一样呢? 神在埃及人中间行奇事,埃及人岂不释放以色列人,他们就去了吗?
Lwaki mukakanyaza emitima gyammwe ng’Abamisiri ne Falaawo bwe baakola? Bwe yabamala amaanyi, tebakkiriza Bayisirayiri kugenda era ne bagenda?
7 现在你们应当造一辆新车,将两只未曾负轭有乳的母牛套在车上,使牛犊回家去,离开母牛。
“Kale nno, muteeketeeke ekigaali ekipya, n’ente bbiri ezaakazaala, ezitateekebwangako kikoligo, muzisibe ku kigaali, naye ennyana zaazo muziziggyeeko.
8 把耶和华的约柜放在车上,将所献赔罪的金物装在匣子里,放在柜旁,将柜送去。
Muddire essanduuko ya Mukama mugiteeke ku kigaali, ate muddire n’ekisanduuko mwe munaateeka ebintu ebya zaabu olw’ekiweebwayo olw’ekibi, mukiteeke ku mabbali g’essanduuko ya Mukama. Mugisindike, egende yokka.
9 你们要看看:车若直行以色列的境界到伯·示麦去,这大灾就是耶和华降在我们身上的;若不然,便可以知道不是他的手击打我们,是我们偶然遇见的。”
Naye mugitunuulire; bw’eneekwata ekkubo erigenda ewaabayo mu nsi yaayo, e Besusemesi, olwo nga Mukama ye yatuleeseeko ekibonoobono kino ekinene. Naye bwe kitaabe bwe kityo, olwo tunaategeera ng’omukono gwe si gwe gutubaddeko, kyatutuukako butuusi.”
10 非利士人就这样行:将两只有乳的母牛套在车上,将牛犊关在家里,
Ne bakola bwe batyo. Ne baddira ente bbiri ezaakazaala, ne baziggyako ennyana zaazo ne bazisiba ku kigaali.
11 把耶和华的约柜和装金老鼠并金痔疮像的匣子都放在车上。
Ne bateeka essanduuko ya Mukama ku kigaali n’ekisanduuko ekyalimu emmese eza zaabu n’ebibumbe eby’ebizimba okugiriraana.
12 牛直行大道,往伯·示麦去,一面走一面叫,不偏左右。非利士的首领跟在后面,直到伯·示麦的境界。
Ente ne zigenda butereevu mu kkubo erigenda e Besusemesi, nga zigenda zikaaba, ne zitakyama ku mukono ogwa ddyo newaakubadde ogwa kkono. Abakulembeze b’Abafirisuuti ne bazigoberera okutuukira ddala ku nsalo ey’e Besusemesi.
13 伯·示麦人正在平原收割麦子,举目看见约柜,就欢喜了。
Ebiro ebyo byali bya makungula era Ababesusemesi baali bakungula eŋŋaano yaabwe mu kiwonvu. Bwe balengera essanduuko ne basanyuka okugiraba.
14 车到了伯·示麦人约书亚的田间,就站住了。在那里有一块大磐石,他们把车劈了,将两只母牛献给耶和华为燔祭。
Ekigaali ne kituukira mu nnimiro ya Yoswa ow’e Besusemesi ne kiyimirira omwo okumpi n’awali ejjinja eddene. Abantu ne bayasa embaawo ez’ekigaali, ente ne baziwaayo ng’ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama.
15 利未人将耶和华的约柜和装金物的匣子拿下来,放在大磐石上。当日伯·示麦人将燔祭和平安祭献给耶和华。
Abaleevi ne batwala essanduuko ya Mukama, n’ekisanduuko ekyalimu ebibumbe ebya zaabu, ne babiteeka ku jjinja eddene. Awo ku lunaku olwo abantu b’e Besusemesi ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka eri Mukama.
16 非利士人的五个首领看见,当日就回以革伦去了。
Abakulembeze abataano ab’Abafirisuuti olwalaba ebyo, ne baddayo mu Ekuloni ku lunaku olwo.
17 非利士人献给耶和华作赔罪的金痔疮像,就是这些:一个是为亚实突,一个是为迦萨,一个是为亚实基伦,一个是为迦特,一个是为以革伦。
Ebibumbe eby’ebizimba ebya zaabu Abafirisuuti bye baaweereza ng’ekiweebwayo olw’omusango eri Mukama byali: ekimu kya Asudodi, n’ekirala kya Gaza, n’ekirala kya Asukulooni, n’ekirala kya Gaasi, n’ekirala kya Ekuloni;
18 金老鼠的数目是照非利士五个首领的城邑,就是坚固的城邑和乡村,以及大磐石。这磐石是放耶和华约柜的,到今日还在伯·示麦人约书亚的田间。
era n’ebibumbe eby’emmese eza zaabu bwe byali, ng’ebibuga byonna eby’Abafirisuuti ebyali eby’Abakungu abataano, ate nga bibuga ebiriko enkomera n’ebyalo byabyo. Ejjinja eddene kwe baateeka essanduuko ya Mukama mu nnimiro ya Yoswa ow’e Besusemesi, ne libeera kijjukizo n’okutuusa leero.
19 耶和华因伯·示麦人擅观他的约柜,就击杀了他们七十人;那时有五万人在那里。百姓因耶和华大大击杀他们,就哀哭了。
Naye nsanvu ku basajja ab’e Besusemesi ne bafa kubanga balingiza mu ssanduuko ya Mukama. Abantu ne banakuwala nnyo olw’ekibonerezo ekinene Mukama kye yabawa,
20 伯·示麦人说:“谁能在耶和华这圣洁的 神面前侍立呢?这约柜可以从我们这里送到谁那里去呢?”
era abantu b’e Besusemesi ne beebuuza nti, “Ani ayinza okuyimirira mu maaso ga Mukama, Katonda ono omutukuvu? Essanduuko ya Mukama tugiweereze ani?”
21 于是打发人去见基列·耶琳的居民,说:“非利士人将耶和华的约柜送回来了,你们下来将约柜接到你们那里去吧!”
Ne batuma ababaka eri abatuuze b’e Kiriyasuyalimu n’obubaka nti, “Abafirisuuti bakomezzaawo essanduuko ya Mukama. Muserengete, mujje mugiddukire mugitwale ewammwe.”