< 列王纪上 22 >

1 亚兰国和以色列国三年没有争战。
Ne wataba ntalo wakati wa Busuuli ne Isirayiri okumala emyaka esatu.
2 到第三年,犹大王约沙法下去见以色列王。
Naye mu mwaka ogwokusatu Yekosafaati kabaka wa Yuda n’aserengeta okugenda okukyalira kabaka wa Isirayiri.
3 以色列王对臣仆说:“你们不知道基列的拉末是属我们的吗?我们岂可静坐不动,不从亚兰王手里夺回来吗?”
Kabaka wa Isirayiri yali agambye abaami be nti, “Mumanyi nti Lamosugireyaadi kyaffe, naye ate nga tetulina kye tukola wo okukiggya ku kabaka wa Busuuli?”
4 亚哈问约沙法说:“你肯同我去攻取基列的拉末吗?”约沙法对以色列王说:“你我不分彼此,我的民与你的民一样,我的马与你的马一样。”
Mu kiseera ekyo n’abuuza Yekosafaati nti, “Onoogenda nange mu lutalo e Lamosugireyaadi?” Yekosafaati n’addamu kabaka wa Isirayiri nti, “Nze ndi nga bw’oli abantu bange ng’abantu bo, n’embalaasi zange ng’ezizo.”
5 约沙法对以色列王说:“请你先求问耶和华。”
Naye Yekosafaati n’ayongerako nti, “Sooka weebuuze ku Mukama.”
6 于是以色列王招聚先知,约有四百人,问他们说:“我上去攻取基列的拉末可以不可以?”他们说:“可以上去,因为主必将那城交在王的手里。”
Awo kabaka wa Isirayiri n’akuŋŋaanya bannabbi awamu nga bawera ng’ebikumi bina, n’ababuuza nti, “Ŋŋende ntabaale e Lamosugireyaadi oba ndekeyo?” Ne baddamu nti, “Genda kubanga Mukama alikigabula mu mukono gwa kabaka.”
7 约沙法说:“这里不是还有耶和华的先知,我们可以求问他吗?”
Naye Yekosafaati n’abuuza nti, “Wano tewaliwo nnabbi wa Mukama gwe tuyinza kwebuuzaako?”
8 以色列王对约沙法说:“还有一个人,是音拉的儿子米该雅,我们可以托他求问耶和华。只是我恨他;因为他指着我所说的预言,不说吉语,单说凶言。”约沙法说:“王不必这样说。”
Kabaka wa Isirayiri n’addamu Yekosafaati nti, “Wakyaliyo omusajja omu gwe tuyinza okwebuuzaako eri Mukama erinnya lye ye Mikaaya mutabani wa Imula naye namukyawa kubanga tewali kirungi ky’alagula ku nze, wabula ebibi.”
9 以色列王就召了一个太监来,说:“你快去,将音拉的儿子米该雅召来。”
Awo kabaka wa Isirayiri n’alagira omu ku baami be nti, “Yanguwa mangu okuleeta Mikaaya mutabani wa Imula.”
10 以色列王和犹大王约沙法在撒马利亚城门前的空场上,各穿朝服,坐在位上,所有的先知都在他们面前说预言。
Awo Kabaka wa Isirayiri ne Yekosafaati kabaka wa Yuda nga bambadde ebyambalo byabwe eby’obwakabaka era nga batudde ku ntebe zaabwe ez’obwakabaka mu mulyango ogwa wankaaki w’ekibuga Samaliya, nga ne bannabbi bonna balagulira awo we baali;
11 基拿拿的儿子西底家造了两个铁角,说:“耶和华如此说:‘你要用这角抵触亚兰人,直到将他们灭尽。’”
Zeddekiya mutabani wa Kenaana yali yeekoledde amayembe ag’ebyuma, n’ayogera nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Olisindikiriza Abasuuli ne gano okutuusa lwe balisaanyizibwawo.’”
12 所有的先知也都这样预言说:“可以上基列的拉末去,必然得胜,因为耶和华必将那城交在王的手中。”
Bannabbi abalala bonna nabo baalagula kye kimu, nga boogera nti, “Yambuka olumbe Lamosugireyaadi obe muwanguzi kubanga Mukama ajja kukigabula mu mukono gwa kabaka.”
13 那去召米该雅的使者对米该雅 说:“众先知一口同音地都向王说吉言,你不如与他们说一样的话,也说吉言。”
Omubaka eyatumibwa okuleeta Mikaaya n’amugamba nti, “Laba ebigambo bya bannabbi abalala biragula buwanguzi eri kabaka, kale ekigambo kyo nakyo kikkiriziganye nabyo, oyogere bulungi.”
14 米该雅说:“我指着永生的耶和华起誓,耶和华对我说什么,我就说什么。”
Naye Mikaaya n’ayogera nti, “Nga Mukama bw’ali omulamu, nzija kwogera ekyo kyokka Mukama ky’anaŋŋamba.”
15 米该雅到王面前,王问他说:“米该雅啊,我们上去攻取基列的拉末可以不可以?”他回答说:“可以上去,必然得胜,耶和华必将那城交在王的手中。”
Bwe yatuuka awali kabaka, kabaka n’amubuuza nti, “Mikaaya tulumbe Lamosugireyaadi, nantiki tulekeyo?” N’amuddamu nti, “Kirumbe obe muwanguzi kubanga Mukama anakigabula mu mukono gwa kabaka.”
16 王对他说:“我当嘱咐你几次,你才奉耶和华的名向我说实话呢?”
Kabaka n’amubuuza nti, “Nnaakulayiza emirundi emeka okutegeeza amazima mu linnya lya Mukama?”
17 米该雅说:“我看见以色列众民散在山上,如同没有牧人的羊群一般。耶和华说:‘这民没有主人,他们可以平平安安地各归各家去。’”
Nnabbi n’addamu nti, “Nalaba Isirayiri yenna ng’esaasaanye ku nsozi, ng’endiga ezitalina musumba.” Mukama n’ayogera nti, “Bano tebalina mukama waabwe, era buli omu ku bbo addeyo ewuwe mirembe.”
18 以色列王对约沙法说:“我岂没有告诉你,这人指着我所说的预言,不说吉语单说凶言吗?”
Awo kabaka wa Isirayiri n’agamba Yekosafaati nti, “Saakugambye nti, talina kirungi ky’andagulako wabula ekibi?”
19 米该雅说:“你要听耶和华的话!我看见耶和华坐在宝座上,天上的万军侍立在他左右。
Mikaaya n’ayogera nti, “Noolwekyo wulira ekigambo kya Mukama nti: Nalaba Mukama ng’atudde ku ntebe ye ey’obwakabaka nga n’eggye lyonna ery’omu ggulu liyimiridde ku mukono gwe ogwa ddyo ne mukono gwe ogwa kkono.
20 耶和华说:‘谁去引诱亚哈上基列的拉末去阵亡呢?’这个就这样说,那个就那样说。
Mukama n’ayogera nti, ‘Ani anaasendasenda Akabu ayambuke okulumba Lamosugireyaadi afiire eyo?’ Omu ku bo n’addamu bulala, n’omulala n’addamu bulala.
21 随后有一个神灵出来,站在耶和华面前,说:‘我去引诱他。’
Ku nkomerero ne wavaayo omwoyo ne guyimirira mu maaso ga Mukama ne gwogera nti, ‘Nze nnaamusendasenda.’
22 耶和华问他说:‘你用何法呢?’他说:‘我去,要在他众先知口中作谎言的灵。’耶和华说:‘这样,你必能引诱他,你去如此行吧!’
“Mukama n’abuuza nti, ‘Mu ngeri ki?’ Omwoyo ne guddamu nti, ‘Nzija kugenda nfuuke omwoyo ogw’obulimba mu mimwa gya bannabbi be bonna.’ Mukama n’addamu nti, ‘Ojja kusobola okumusendasenda, genda okole bw’otyo.’
23 现在耶和华使谎言的灵入了你这些先知的口,并且耶和华已经命定降祸与你。”
“Kale nno, Mukama atadde omwoyo omulimba mu mimwa gya buli nnabbi wo era Mukama amaliridde okukusaanyaawo.”
24 基拿拿的儿子西底家前来,打米该雅的脸,说:“耶和华的灵从哪里离开我与你说话呢?”
Awo Zeddekiya mutabani wa Kenaana n’asembera n’akuba Mikaaya oluyi ku ttama, n’ayogera nti, “Omwoyo wa Mukama yampiseeko atya okwogera nawe?”
25 米该雅说:“你进严密的屋子藏躲的那日,就必看见了。”
Awo Mikaaya n’addamu nti, “Laba, ekyo onokimanya ku lunaku lw’oligenda okwekweka mu kisenge eky’omunda.”
26 以色列王说:“将米该雅带回,交给邑宰亚们和王的儿子约阿施,说
Awo kabaka wa Isirayiri n’alagira nti, “Mukwate Mikaaya, mumuzzeeyo ewa Amoni omukulu w’ekibuga, n’eri Yowaasi mutabani wa kabaka,
27 王如此说,把这个人下在监里,使他受苦,吃不饱喝不足,等候我平平安安地回来。”
era mwogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera kabaka nti: muteeke omuntu ono mu kkomera, ate temumuwa ekintu kyonna okuggyako omugaati n’amazzi okutuusa lwe ndikomawo emirembe.’”
28 米该雅说:“你若能平平安安地回来,那就是耶和华没有借我说这话了”;又说:“众民哪,你们都要听!”
Mikaaya n’alangirira nti, “Bw’olikomawo emirembe, Mukama nga tayogeredde mu nze.” Era n’ayongerako nti, “Mugenderere ebigambo byange, mmwe abantu mwenna.”
29 以色列王和犹大王约沙法上基列的拉末去了。
Awo kabaka wa Isirayiri ne Yekosafaati kabaka wa Yuda ne bambuka e Lamosugireyaadi.
30 以色列王对约沙法说:“我要改装上阵,你可以仍穿王服。”以色列王就改装上阵。
Kabaka wa Isirayiri n’agamba Yekosafaati nti, “Nzija kugenda mu lutalo nga nneefudde omuntu omulala, naye ggwe oyambale ebyambalo eby’obwakabaka.” Awo kabaka wa Isirayiri ne yeefuula omuntu omulala n’agenda mu lutalo.
31 先是亚兰王吩咐他的三十二个车兵长说:“他们的兵将,无论大小,你们都不可与他们争战,只要与以色列王争战。”
Kabaka w’e Busuuli yali alagidde abaduumizi b’amagaali nti, “Temulwanagana na muntu yenna, kabe mutono oba mukulu, wabula kabaka wa Isirayiri yekka.”
32 车兵长看见约沙法,便说:“这必是以色列王!”就转过去与他争战,约沙法便呼喊。
Awo abaduumizi b’amagaali bwe baalaba Yekosafaati, ne balowooza nti, “Ddala ono ye kabaka wa Isirayiri.” Ne batanula okumulumba, naye Yekosafaati n’aleekaanira waggulu,
33 车兵长见不是以色列王,就转去不追他了。
abaduumizi b’amagaali ne bategeera nti si ye kabaka wa Isirayiri ne balekeraawo okumugoba.
34 有一人随便开弓,恰巧射入以色列王的甲缝里。王对赶车的说:“我受了重伤,你转过车来,拉我出阵吧!”
Awo omuntu omu n’amala galasa akasaale ke, ne kakwata kabaka wa Isirayiri ebyambalo bye eby’ebyuma we bigattira, n’agamba omugoba w’eggaali lye nti, “Kyusa eggaali onzigye mu lutalo, kubanga nfumitiddwa.”
35 那日,阵势越战越猛,有人扶王站在车上,抵挡亚兰人。到晚上,王就死了,血从伤处流在车中。
Olutalo ne lweyongerera ddala nnyo ku lunaku olwo, era kabaka ne bamukwatirira mu gaali lye nga litunuulaganye n’Abasuuli. Omusaayi okuva mu kiwundu kye ne gukulukuta nnyo mu gaali, n’oluvannyuma n’afa.
36 约在日落的时候,有号令传遍军中,说:“各归本城,各归本地吧!”
Enjuba bwe yali ng’eneetera okugwa, ne waba ekirango ekyabuna mu ggye nti, “Buli muntu adde mu kibuga ky’ewaabwe, era buli muntu adde mu nsi y’ewaabwe!”
37 王既死了,众人将他送到撒马利亚,就葬在那里;
Awo kabaka n’afa n’aleetebwa e Samaliya, era n’aziikibwa eyo.
38 又有人把他的车洗在撒马利亚的池旁(妓女在那里洗澡),狗来舔他的血,正如耶和华所说的话。
Ne booleza eggaali lye awaali ekidiba kya Samaliya, bamalaaya we baanaabiranga, embwa ne zikomba omusaayi gwe, ng’ekigambo kya Mukama bwe kyayogerwa.
39 亚哈其余的事,凡他所行的和他所修造的象牙宫,并所建筑的一切城邑,都写在以色列诸王记上。
Ebyafaayo ebirala eby’omulembe gwa Akabu, n’ebyo bye yakola, n’olubiri lwe yazimba n’alulongoosa n’amasanga, n’ebibuga bye yazimbako bbugwe, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri?
40 亚哈与他列祖同睡。他儿子亚哈谢接续他作王。
Awo Akabu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, Akaziya mutabani we n’amusikira.
41 以色列王亚哈第四年,亚撒的儿子约沙法登基作了犹大王。
Awo Yekosafaati mutabani wa Asa n’atandika okufuga mu Yuda mu mwaka ogw’amakumi ana ogwa Akabu kabaka wa Isirayiri.
42 约沙法登基的时候年三十五岁,在耶路撒冷作王二十五年。他母亲名叫阿苏巴,乃示利希的女儿。
Yekosafaati yalina emyaka egy’obukulu amakumi asatu mu etaano we yatandikira okufuga, era n’afugira mu Yerusaalemi okumala emyaka amakumi abiri mu etaano. Nnyina erinnya lye ye yali Azuba muwala wa Siruki.
43 约沙法行他父亲亚撒所行的道,不偏离左右,行耶和华眼中看为正的事;只是邱坛还没有废去,百姓仍在那里献祭烧香。
N’atambulira mu ngeri za kitaawe Asa era n’atazivaamu, ng’akola ebirungi mu maaso ga Mukama, newaakubadde nga teyaggyawo bifo bigulumivu, abantu ne beeyongeranga okuweerayo ssaddaaka n’okwokya obubaane.
44 约沙法与以色列王和好。
Yekosafaati n’atabagana ne kabaka wa Isirayiri.
45 约沙法其余的事和他所显出的勇力,并他怎样争战,都写在犹大列王记上。
Ebyafaayo ebirala eby’omulembe gwa Yekosafaati, ebintu bye yakola, n’amaanyi ge mu ntalo, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda?
46 约沙法将他父亲亚撒在世所剩下的娈童都从国中除去了。
N’aggyirawo ddala abaalyanga ebisiyaga abaali basigaddewo mu nsi, oluvannyuma lw’omulembe gwa kitaawe Asa.
47 那时以东没有王,有总督治理。
Awo mu biro ebyo ne wataba kabaka mu Edomu, omusigire wa kabaka n’afuga.
48 约沙法制造他施船只,要往俄斐去,将金子运来;只是没有去,因为船在以旬·迦别破坏了。
Yekosafaati yali azimbye ekibinja eky’ebyombo okugenda e Ofiri okukimangayo zaabu, naye ne bitasobola, kubanga byonna byabbira e Eziyonigeba.
49 亚哈的儿子亚哈谢对约沙法说:“容我的仆人和你的仆人坐船同去吧!”约沙法却不肯。
Mu kiseera ekyo Akaziya mutabani wa Akabu yali agambye Yekosafaati nti, “Abasajja bange ka baseeyeeye n’ababo,” naye Yekosafaati n’atakyagala.
50 约沙法与列祖同睡。葬在大卫城他列祖的坟地里。他儿子约兰接续他作王。
Awo Yekosafaati ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe era n’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi jjajjaawe, Yekolaamu mutabani we n’amusikira.
51 犹大王约沙法十七年,亚哈的儿子亚哈谢在撒马利亚登基,作以色列王共二年。
Awo Akaziya mutabani wa Akabu n’alya obwakabaka kabaka bwa Isirayiri mu Samaliya mu mwaka ogw’ekkumi n’omusanvu ogwa Yekosafaati kabaka wa Yuda, era n’afuga Isirayiri okumala emyaka ebiri.
52 他行耶和华眼中看为恶的事,效法他的父母,又行尼八的儿子耶罗波安使以色列人陷在罪里的 事。
N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, ne yeeyisa nga kitaawe bwe yeeyisanga, era nga ne nnyina bwe yakolanga, ate era nga Yerobowaamu mutabani wa Nebati, eyaleetera Isirayiri okwonoona bwe yakolanga.
53 他照他父亲一切所行的,事奉敬拜巴力,惹耶和华—以色列 神的怒气。
Yaweereza era n’asinza Baali, n’asunguwaza Mukama Katonda wa Isirayiri, mu ngeri zonna nga kitaawe bwe yakola.

< 列王纪上 22 >