< 约翰一书 3 >

1 你看父赐给我们是何等的慈爱,使我们得称为 神的儿女;我们也真是他的儿女。世人所以不认识我们,是因未曾认识他。
Mulabe okwagala Katonda kw’atwagala bwe kuli okunene ennyo, n’atuyita abaana be, era ddala bwe tutyo bwe tuli. Ensi kyeva eremwa okututegeera, kubanga naye yennyini teyamutegeera.
2 亲爱的弟兄啊,我们现在是 神的儿女,将来如何,还未显明;但我们知道,主若显现,我们必要像他,因为必得见他的真体。
Abaagalwa, kaakano tuli baana ba Katonda, naye tetumanyi bwe tuliba. Kyokka tumanyi nti bw’alirabika tulifaanana nga ye, kubanga tulimulabira ddala nga bw’ali.
3 凡向他有这指望的,就洁净自己,像他洁净一样。
Buli muntu alina essuubi eryo yeetukuza nga Katonda bw’ali omutukuvu.
4 凡犯罪的,就是违背律法;违背律法就是罪。
Buli muntu akola ebibi aba mujeemu, era ekibi bwe bujeemu.
5 你们知道主曾显现,是要除掉人的罪,在他并没有罪。
Naye mmwe mumanyi nti ye, yalabisibwa alyoke aggyewo ebibi. Era mu ye, temuliimu kibi.
6 凡住在他里面的,就不犯罪;凡犯罪的,是未曾看见他,也未曾认识他。
Era tewali n’omu abeera mu ye ate ne yeeyongera okukola ekibi. Wabula oyo eyeeyongera okukola ekibi tamutegeeranga, era tamumanyi n’akatono.
7 小子们哪,不要被人诱惑。行义的才是义人,正如主是义的一样。
Abaana abaagalwa, temulimbibwalimbibwanga muntu n’omu; Buli akola eby’obutuukirivu aba mutuukirivu, nga Katonda bw’ali omutuukirivu,
8 犯罪的是属魔鬼,因为魔鬼从起初就犯罪。 神的儿子显现出来,为要除灭魔鬼的作为。
naye buli akola ekibi wa Setaani, kubanga okuva olubereberye Setaani akola bibi. Omwana wa Katonda kyeyava ajja mu nsi azikirize ebikolwa bya Setaani.
9 凡从 神生的,就不犯罪,因 神的道存在他心里;他也不能犯罪,因为他是由 神生的。
Noolwekyo tewali afuuka mwana wa Katonda ate ne yeeyongera okukola ekibi, kubanga ensigo ya Katonda ebeera mu ye, so tayinza kukola kibi, kubanga yazaalibwa Katonda.
10 从此就显出谁是 神的儿女,谁是魔鬼的儿女。凡不行义的就不属 神,不爱弟兄的也是如此。
Ku kino abaana ba Katonda n’aba Setaani kwe bategeererwa. Buli akola ebitali bya butuukirivu si wa Katonda, era na buli atayagala muganda we si wa Katonda.
11 我们应当彼此相爱。这就是你们从起初所听见的命令。
Kubanga buno bwe bubaka bwe twawulira okuva ku lubereberye nti twagalanenga,
12 不可像该隐;他是属那恶者,杀了他的兄弟。为什么杀了他呢?因自己的行为是恶的,兄弟的行为是善的。
si nga Kayini eyali owa Setaani, n’atta muganda we. Kale yamuttira ki? Kayini yatta muganda we kubanga Kayini yakola ebibi, so nga ye muganda we yakola eby’obutuukirivu.
13 弟兄们,世人若恨你们,不要以为希奇。
Abooluganda, ensi bwe bakyawanga, temwewuunyanga.
14 我们因为爱弟兄,就晓得是已经出死入生了。没有爱心的,仍住在死中。
Kubanga ffe tumanyi nga twava mu kufa, ne tuyingira mu bulamu, kubanga twagala abooluganda, naye buli muntu atalina kwagala akyali mu kufa.
15 凡恨他弟兄的,就是杀人的;你们晓得凡杀人的,没有永生存在他里面。 (aiōnios g166)
Buli akyawa muntu munne, oyo aba mussi, era mukimanyi nti tewali mussi alina obulamu obutaggwaawo mu ye. (aiōnios g166)
16 主为我们舍命,我们从此就知道何为爱;我们也当为弟兄舍命。
Mu kino mwe tutegeerera okwagala, kubanga yawaayo obulamu bwe ku lwaffe, era naffe kyetuva tuteekwa okuwaayo obulamu bwaffe olw’abooluganda.
17 凡有世上财物的,看见弟兄穷乏,却塞住怜恤的心,爱 神的心怎能存在他里面呢?
Buli alina ebintu eby’omu nsi n’alaba muganda we nga yeetaaga, naye n’abulwako ky’amuwa, okwagala kwa Katonda, kuyinza kutya okuba mu ye?
18 小子们哪,我们相爱,不要只在言语和舌头上,总要在行为和诚实上。
Abaana abaagalwa, tetusaana kwagala mu bigambo kyokka, wabula twagalanenga ne mu bikolwa ne mu bulamu obulabika eri abantu.
19 从此就知道我们是属真理的,并且我们的心在 神面前可以安稳。
Mu ekyo mwe tutegeerera nga tuli ba mazima, era ne tukkakkanya omutima gwaffe mu maaso ge.
20 我们的心若责备我们, 神比我们的心大,一切事没有不知道的。
Singa omutima gwaffe tegutusalira musango, Katonda ye asinga omutima gwaffe era ye ategeera ebintu byonna.
21 亲爱的弟兄啊,我们的心若不责备我们,就可以向 神坦然无惧了。
Abaagalwa, omutima gwaffe bwe gutatusalira musango, tuba bagumu mu maaso ga Katonda.
22 并且我们一切所求的,就从他得着;因为我们遵守他的命令,行他所喜悦的事。
Era buli kye tumusaba akituwa, kubanga tugondera ebiragiro bye, era ne tukola ebimusanyusa.
23 神的命令就是叫我们信他儿子耶稣基督的名,且照他所赐给我们的命令彼此相爱。
Era kino ky’atulagira nti, tukkiririze mu linnya ly’Omwana we Yesu Kristo, era twagalanenga nga ye bwe yatulagira.
24 遵守 神命令的,就住在 神里面, 神也住在他里面。我们所以知道 神住在我们里面是因他所赐给我们的圣灵。
Kale oyo agondera ebiragiro bye abeera mu Ye, era naye abeera mu ye. Kino tukimanyi ng’ali mu ffe, kubanga Mwoyo Mutukuvu gwe yatuwa abeera mu ffe.

< 约翰一书 3 >