< 历代志上 27 >
1 以色列人的族长、千夫长、百夫长,和官长都分定班次,每班是二万四千人,周年按月轮流,替换出入服事王。
Luno lwe lukalala lw’Abayisirayiri emitwe gy’ennyumba, abaduumizi b’olukumi, n’abaduumizi b’ekikumi abaaweerezanga kabaka nga bamutegeeza buli nsonga eyakwatanga ku bibinja eby’eggye, ebyabeeranga ku mpalo buli mwezi mu mwaka. Buli kibinja kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
2 正月第一班的班长是撒巴第业的儿子雅朔班;他班内有二万四千人。
Yasobeyamu mutabani wa Zabudyeri ye yavunaanyizibwanga ekibinja ekisooka, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
Yali muzzukulu wa Perezi, ate nga mukulu w’abaami b’eggye mu mwezi ogwasooka
4 二月的班长是亚哈希人朵代,还有副官密基罗;他班内有二万四千人。
Dodayi Omwakowa ye yavunaanyizibwanga ekibinja eky’omwezi ogwokubiri nga Mikuloosi ye mukulu ow’ekibinja ekyo. Mwalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya mu kibinja ekyo.
5 三月第三班的班长是祭司耶何耶大的儿子比拿雅;他班内有二万四千人。
Benaya mutabani wa Yekoyaada kabona ye yali omuduumizi ow’eggye owookusatu mu mwezi gwokusatu, era yali mwami. Kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
6 这比拿雅是那三十人中的勇士,管理那三十人;他班内又有他儿子暗米萨拔。
Oyo ye Benaya eyali omusajja ow’amaanyi mu bali amakumi asatu, era nga ye mukulu mu bo. Mutabani we Ammizabaadi yavunaanyizibwanga ekibinja ekyo.
7 四月第四班的班长是约押的兄弟亚撒黑。接续他的是他儿子西巴第雅;他班内有二万四千人。
Asakeri muganda wa Yowaabu ye yavunaanyizibwanga ekibinja ekyokuna mu mwezi ogwokuna, era mutabani we Zebadiya ye yamusikira. Ekibinja ekyo kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
8 五月第五班的班长是伊斯拉人珊合;他班内有二万四千人。
Samukusi Omuyizula ye yali omuduumizi ow’ekibinja ekyokutaano mu mwezi ogwokutaano, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
9 六月第六班的班长是提哥亚人益吉的儿子以拉;他班内有二万四千人。
Ira mutabani wa Ikkesi Omutekowa ye yali omukulu ow’ekibinja eky’omukaaga mu mwezi ogw’omukaaga, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
10 七月第七班的班长是以法莲族比伦人希利斯;他班内有二万四千人。
Kerezi Omuperoni, ate nga muzzukulu wa Efulayimu ye yali omukulu ow’ekibinja eky’omusanvu mu mwezi ogw’omusanvu, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
11 八月第八班的班长是谢拉族户沙人西比该;他班内有二万四千人。
Seibbekayi Omukusasi, ate nga wa ku Bazera ye yali omukulu ow’ekibinja eky’omunaana mu mwezi ogw’omunaana, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
12 九月第九班的班长是便雅悯族亚拿突人亚比以谢;他班内有二万四千人。
Abiyezeeri Omwanasosi, ate nga wa ku Babenyamini ye yali omukulu ow’ekibinja eky’omwenda mu mwezi ogw’omwenda, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
13 十月第十班的班长是谢拉族尼陀法人玛哈莱;他班内有二万四千人。
Makalayi Omunetofa, ate nga wa ku Bazera ye yali omukulu ow’ekibinja eky’ekkumi mu mwezi ogw’ekkumi, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
14 十一月第十一班的班长是以法莲族比拉顿人比拿雅;他班内有二万四千人。
Benaya Omupirasoni, ate nga muzzukulu wa Efulayimu ye yali omukulu ow’ekibinja eky’ekkumi n’omu mu mwezi ogw’ekkumi n’ogumu, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
15 十二月第十二班的班长是俄陀聂族尼陀法人黑玳;他班内有二万四千人。
Kerudayi Omwetofa, ow’omu nnyumba ya Osuniyeri, ye yali omukulu ow’ekibinja eky’ekkumi n’ababiri mu mwezi ogw’ekkumi n’ebiri, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
16 管理以色列众支派的记在下面:管吕便人的是细基利的儿子以利以谢;管西缅人的是玛迦的儿子示法提雅;
Abataka ab’ebika bya Isirayiri baali: eyafuganga Abalewubeeni yali Eryeza mutabani wa Zikuli; eyafuganga Abasimyoni yali Sefatiya mutabani wa Maaka;
17 管利未人的是基母利的儿子哈沙比雅;管亚伦子孙的是撒督;
eyafuganga Leevi yali Kasabiya mutabani wa Kemweri; eyafuganga Alooni yali Zadooki;
18 管犹大人的是大卫的一个哥哥以利户;管以萨迦人的是米迦勒的儿子暗利;
eyafuganga Yuda yali Eriku, omu ku baganda ba Dawudi; eyafuganga Isakaali yali Omuli mutabani wa Mikayiri;
19 管西布伦人的是俄巴第雅的儿子伊施玛雅;管拿弗他利人的是亚斯列的儿子耶利摩;
eyafuganga Zebbulooni yali Isumaaya mutabani wa Obadiya; eyafuganga Nafutaali yali Yeremozi mutabani wa Azulyeri;
20 管以法莲人的是阿撒细雅的儿子何细亚;管玛拿西半支派的是毗大雅的儿子约珥;
eyafuganga Abefulayimu yali Koseya mutabani wa Azaziya; eyafuganga ekitundu ky’ekika kya Manase yali Yoweeri mutabani wa Pedaya;
21 管基列地玛拿西那半支派的是撒迦利亚的儿子易多;管便雅悯人的是押尼珥的儿子雅西业;
eyafuganga ekitundu ky’ekika kya Manase ekirala ekyabeeranga mu Gireyaadi yali Iddo mutabani wa Zekkaliya; eyafuganga Benyamini yali Yaasiyeri mutabani wa abuneeri;
22 管但人的是耶罗罕的儿子亚萨列。以上是以色列众支派的首领。
n’eyafuganga Ddaani yali Azaleri mutabani wa Yerokamu. Abo be baali abataka abaakuliranga ebika bya Isirayiri.
23 以色列人二十岁以内的,大卫没有记其数目;因耶和华曾应许说,必加增以色列人如天上的星那样多。
Dawudi teyabala muwendo ogw’abasajja abaali abaakamaze emyaka abiri n’abaali tebanaba kugituusa, kubanga Mukama yali asuubiza okufuula Abayisirayiri abangi ng’emmunyeenye ez’omu ggulu.
24 洗鲁雅的儿子约押动手数点,当时耶和华的烈怒临到以色列人;因此,没有点完,数目也没有写在大卫王记上。
Naye Yowaabu mutabani wa Zeruyiya n’atandika okubala abasajja, n’atamaliriza. Obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira ku Isirayiri olw’okubala okwo, so n’omuwendo ogwo tegwawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya kabaka Dawudi.
25 掌管王府库的是亚叠的儿子押斯马威。掌管田野城邑村庄保障之仓库的是乌西雅的儿子约拿单。
Azumavesi mutabani wa Adyeri yavunaanyizibwanga amawanika ga kabaka, ne Yonasaani mutabani wa Uzziya n’avunaanyizibwanga amawanika ag’amasaza n’ag’ebibuga, ag’ebyalo, n’ag’ebigo.
Ezuli mutabani wa Kerubu ye yavunaanyizibwanga abalimi ab’omu nnimiro.
27 掌管葡萄园的是拉玛人示每。掌管葡萄园酒窖的是实弗米人撒巴底。
Simeeyi Omulaama ye yavunaanyizibwanga ennimiro z’emizabbibu, ne Zabudi Omusifumu ye n’avunaanyizibwanga ebibala eby’ennimiro olw’amasenero ag’omwenge.
28 掌管高原橄榄树和桑树的是基第利人巴勒·哈南。掌管油库的是约阿施。
Baalukanani Omugedera ye yavunaanyizibwanga emizeeyituuni n’emisukomooli egyali mu nsenyi ez’ebugwanjuba; ne Yowaasi ye n’avunaanyizibwanga amawanika g’amafuta.
29 掌管沙 牧放牛群的是沙 人施提赉。掌管山谷牧养牛群的是亚第赉的儿子沙法。
Situlayi Omusaloni ye yavunaanyizibwanga ebisibo mu Saloni, ne Safati mutabani wa Adulayi n’avunaanyizibwanga ebisibo ebyali mu biwonvu.
30 掌管驼群的是以实玛利人阿比勒。掌管驴群的是米 人耶希底亚。掌管羊群的是夏甲人雅悉。
Obiri Omuyisimayiri ye yavunaanyizibwanga eŋŋamira, ne Yedeya Omumeronoosi ye n’avunaanyizibwanga endogoyi.
Yazizi Omukaguli ye yavunaanyizibwanga ebisibo eby’endiga. Abo bonna be baali abakungu ba kabaka Dawudi abaavunaanyizibwanga ebintu bye.
32 大卫的叔叔约拿单作谋士;这人有智慧,又作书记。哈摩尼的儿子耶歇作王众子的师傅。
Yonasaani, kitaawe wa Dawudi omuto yali muteesa wa bigambo, era nga musajja mutegeevu omuwandiisi, ne Yekyeri mutabani wa Kakumoni ye yali mukuza w’abalangira.
33 亚希多弗也作王的谋士。亚基人户筛作王的陪伴。
Akisoferi naye yali muteesa wa kabaka, ate nga Kusaayi Omwaluki ye mukwano gwa kabaka nnyo.
34 亚希多弗之后,有比拿雅的儿子耶何耶大和亚比亚他接续他作谋士。约押作王的元帅。
Yekoyaada mutabani wa Benaya ne Abiyasaali be badda mu bigere bya Akisoferi. Yowaabu ye yali muduumizi w’eggye lya kabaka.