< 历代志上 12 >

1 大卫因怕基士的儿子扫罗,躲在洗革拉的时候,有勇士到他那里帮助他打仗。
Bano be basajja abajja eri Dawudi e Zikulagi, gye yali yeekwese Sawulo mutabani wa Kiisi, era be bamu ku bamuyamba mu lutalo.
2 他们善于拉弓,能用左右两手甩石射箭,都是便雅悯人扫罗的族弟兄。
Baalina obusaale, era nga balasa bulungi, n’okuvuumuula nga bavuumuula amayinja n’emikono gyabwe egya ddyo n’egya kkono, ate nga balina oluganda ne Sawulo ow’ekika kya Benyamini.
3 为首的是亚希以谢,其次是约阿施,都是基比亚人示玛的儿子。还有亚斯玛威的儿子耶薛和毗力,又有比拉迦,并亚拿突人耶户,
Akiyezeeri ye yali omukulu, muganda we Yowaasi n’amuddirira, bombi nga batabani ba Semaa Omugibeya; Yeziyeri ne Pereti batabani ba Azumavesi; Beraka, ne Yeeku Omwanasoni,
4 基遍人以实买雅(他在三十人中是勇士,管理他们),且有耶利米、雅哈悉、约哈难,和基得拉人约撒拔、
ne Isumaya Omugibyoni, omusajja omuzira ku bali amakumi asatu, era omukulu waabwe; ne Yeremiya, ne Yakaziyeri, ne Yokanaani, ne Yozabadi Omugederi;
5 伊利乌赛、耶利摩、比亚利雅、示玛利雅,哈律弗人示法提雅,
ne Eruzayi, ne Yerimosi, ne Beyaliya, ne Semaliya, ne Sefatiya Omukalufu;
6 可拉人以利加拿、耶西亚、亚萨列、约以谢、雅朔班,
ne Erukaana, ne Issiya, ne Azaleri, ne Yowezeeri, ne Yasobeyamu, Abakoola;
7 基多人耶罗罕的儿子犹拉和西巴第雅。
ne Yowera ne Zebadiya, batabani ba yerokamu ow’e Gedoli.
8 迦得支派中有人到旷野的山寨投奔大卫,都是大能的勇士,能拿盾牌和枪的战士。他们的面貌好像狮子,快跑如同山上的鹿。
Abamu ku Bagaadi be yawula ku bannaabwe, ne bagenda eri Dawudi ku kigo kye mu ddungu. Baali basajja b’amaanyi abazira nga balina amafumu n’engabo era nga beetegefu okulwana. Amaaso gaabwe gaali nga ag’empologoma, era nga bawenyuka emisinde ng’empeewo mu nsozi.
9 第一以薛,第二俄巴底雅,第三以利押,
Ezeri ye yali omukulu waabwe, ne Obadiya n’amuddirira, ne Eriyaabu nga ye wookusatu,
10 第四弥施玛拿,第五耶利米,
ne Misumanna nga ye wookuna, ne Yeremiya nga ye wookutaano,
11 第六亚太,第七以利业,
ne Attayi nga ye w’omukaaga, ne Eryeri nga ye w’omusanvu,
12 第八约哈难,第九以利萨巴,
ne Yokanaani nga ye wa munaana, ne Eruzabadi nga ye wa mwenda,
13 第十耶利米,第十一末巴奈。
ne Yeremiya nga ye wa kkumi, ne Makubannayi nga ye wa kkumi n’omu.
14 这都是迦得人中的军长,至小的能抵一百人,至大的能抵一千人。
Abagaadi abo baali baduumizi ba ggye, era asembayo mu bukulu ng’aduumira ekibinja eky’abantu lukumi.
15 正月,约旦河水涨过两岸的时候,他们过河,使一切住平原的人东奔西逃。
Era abo be basajja abaasomoka omugga Yoludaani, mu mwezi ogw’olubereberye, amazzi gaagwo bwe gaabimba ne ganjaala ku ttale ne bagoba abo bonna abaabeeranga mu biwonvu, ebuvanjuba era n’ebugwanjuba.
16 又有便雅悯和犹大人到山寨大卫那里。
Abamu ku basajja ba Benyamini ne Yuda nabo beegatta ku Dawudi mu kigo kye.
17 大卫出去迎接他们,对他们说:“你们若是和和平平地来帮助我,我心就与你们相契;你们若是将我这无罪的人卖在敌人手里,愿我们列祖的 神察看责罚。”
Dawudi n’afuluma okubasisinkana, n’abagamba nti, “Bwe muba muzze gye ndi mu mirembe, okunyamba, ndimwetegefu okubasembeza. Naye obanga muzze okundyamu olukwe eri abalabe bange, ate nga sirina musango, Katonda wa bajjajjaffe akirabe era abanenye.”
18 那时 神的灵感动那三十个勇士的首领亚玛撒,他就说: 大卫啊,我们是归于你的! 耶西的儿子啊,我们是帮助你的! 愿你平平安安, 愿帮助你的也都平安! 因为你的 神帮助你。 大卫就收留他们,立他们作军长。
Awo Omwoyo n’aka ku Amasayi, omukulu w’abo amakumi asatu, n’ayogera nti, “Ffe tuli babo, Dawudi! Tuli naawe, Omwana wa Yese! Obuwanguzi, Obuwanguzi gy’oli; era Obuwanguzi bubeere eri abo abakuyamba, kubanga Katonda wo ajja kukubeera.” Awo Dawudi n’abaaniriza era n’abafuula bakungu mu ggye lye.
19 大卫从前与非利士人同去,要与扫罗争战,有些玛拿西人来投奔大卫,他们却没有帮助非利士人;因为非利士人的首领商议,打发他们回去,说:“恐怕大卫拿我们的首级,归降他的主人扫罗。”
Abasajja abamu ab’ekika kya Manase ne badda ku ludda lwa Dawudi, bwe yagenda n’Abafirisuuti okutabaala Sawulo newaakubadde nga ye n’abasajja be tebayamba Abafirisuuti kubanga oluvannyuma lw’okwetesaganyaamu, abakungu b’Abafirisuuti baamugoba. Baagamba nti, “Bw’anadda ku ludda lwa mukama we Sawulo, tunaagwa mu katyabaga.”
20 大卫往洗革拉去的时候,有玛拿西人的千夫长押拿、约撒拔、耶叠、米迦勒、约撒拔、以利户、洗勒太都来投奔他。
Dawudi bwe yali ng’agenda e Zikulagi, abasajja ab’ekika kya Manase abaasalawo okumwegattako baali: Aduna, ne Yozabadi, ne Yediyayaeri, ne Mikayiri, ne Yozabadi, ne Eriku, ne Zirresayi, n’abakungu abaakuliranga ebibinja eby’olukumi mu Manase.
21 这些人帮助大卫攻击群贼;他们都是大能的勇士,且作军长。
Baayamba nnyo Dawudi okulwana n’ebibinja bya bayeekera, kubanga bonna baali baserikale bazira, ate nga baduumizi mu ggye lye.
22 那时天天有人来帮助大卫,以致成了大军,如 神的军一样。
Buli lwakyanga nga wabeerawo abasajja abajja okuyamba ate era n’okwegatta ku Dawudi, okutuusa eggye lye bwe lyafuuka eddene, ery’amaanyi.
23 预备打仗的兵来到希伯 见大卫,要照着耶和华的话将扫罗的国位归与大卫。他们的数目如下:
Guno gwe muwendo gw’abasajja abaali beetegekedde olutalo abajja eri Dawudi e Kebbulooni, okuggya obwakabaka ku Sawulo okubumuwa, ng’ekigambo kya Mukama bwe kyali:
24 犹大支派,拿盾牌和枪预备打仗的有六千八百人。
abasajja ba Yuda abaakwatanga engabo n’effumu baali kakaaga mu lunaana abeetegese okulwana;
25 西缅支派,能上阵大能的勇士有七千一百人。
abasajja ba Simyoni, baali kasanvu mu kikumi;
26 利未支派有四千六百人。
abasajja ba Leevi, enkumi nnya mu lukaaga;
27 耶何耶大是亚伦家的首领,跟从他的有三千七百人。
ng’omwo mwe muli Yekoyaada omukulu w’ennyumba ya Alooni n’abasajja enkumi ssatu mu lusanvu;
28 还有少年大能的勇士撒督,同着他的有族长二十二人。
ne Zadooki omuvubuka omulwanyi era omuzira, n’abakungu okuva mu nnyumba ye amakumi abiri mu babiri.
29 便雅悯支派,扫罗的族弟兄也有三千人,他们向来大半归顺扫罗家。
Abalala baali abasajja aba Benyamini, baganda ba Sawulo, nga bali enkumi ssatu, era okutuusa ku lunaku olwo abo baali banyweredde ku ludda lwa Sawulo;
30 以法莲支派大能的勇士,在本族著名的有二万零八百人。
abasajja aba Efulayimu, abalwanyi abazira, ng’era batutumufu mu nda zaabwe, baali emitwalo ebiri mu lunaana;
31 玛拿西半支派,册上有名的共一万八千人,都来立大卫作王。
abasajja ku kitundu eky’ekika kya Manase, abaayatulwa erinnya okujja okufuula Dawudi kabaka baali omutwalo gumu mu kanaana;
32 以萨迦支派,有二百族长都通达时务,知道以色列人所当行的;他们族弟兄都听从他们的命令。
abasajja aba Isakaali abategeera ebiseera, ne bamanya ebigwanidde Isirayiri baali abakulembeze ebikumi bibiri, n’ab’eŋŋanda zaabwe bonna abaabagobereranga;
33 西布伦支派,能上阵用各样兵器打仗、行伍整齐、不生二心的有五万人。
abasajja aba Zebbulooni, nga baserikale bamanyirivu mu by’entalo, nga balina buli kya kulwanyisa kyonna, abayamba Dawudi n’omutima gumu baali emitwalo etaano;
34 拿弗他利支派,有一千军长;跟从他们、拿盾牌和枪的有三万七千人。
abasajja aba Nafutaali baali abakulu lukumi, n’abasajja abaakwatanga engabo n’amafumu nga bali emitwalo esatu mu kasanvu;
35 但支派,能摆阵的有二万八千六百人。
abasajja aba Ddaani baali emitwalo ebiri mu kanaana mu lukaaga;
36 亚设支派,能上阵打仗的有四万人。
abasajja aba Aseri, nga baserikale bamanyirivu mu ntalo baali emitwalo ena;
37 约旦河东的吕便支派、迦得支派、玛拿西半支派,拿着各样兵器打仗的有十二万人。
emitala wa Yoludaani, wavaayo abasajja aba Lewubeeni, aba Gaadi, n’ekitundu ky’ekika kya Manase, abaalina ebyokulwanyisa ebya buli ngeri, nga bali emitwalo kkumi n’ebiri.
38 以上都是能守行伍的战士,他们都诚心来到希伯 ,要立大卫作以色列的王。以色列其余的人也都一心要立大卫作王。
Abo bonna baali basajja balwanyi abeewaayo mu bitiibwa byabwe. Ne bajja e Kebbulooni okuweereza n’okufuula Dawudi kabaka wa Isirayiri yenna.
39 他们在那里三日,与大卫一同吃喝,因为他们的族弟兄给他们预备了。
Eyo ne bamalayo ennaku ssatu ne Dawudi nga balya, nga banywa, ebyo ab’eŋŋanda zaabwe bye baali babasibiridde.
40 靠近他们的人以及以萨迦、西布伦、拿弗他利人将许多面饼、无花果饼、干葡萄、酒、油,用驴、骆驼、骡子、牛驮来,又带了许多的牛和羊来,因为以色列人甚是欢乐。
Ate era waaliyo ne baliraanwa baabwe ab’e Isakaali, ne Zebbulooni, ne Nafutaali abaabaleeteranga emmere ku ndogoyi, ne ku ŋŋamira, ne ku nnyumbu ne ku nte, era baalina eŋŋaano nnyingi, ne keeke ez’ettiini, n’ebirimba eby’ezabbibu, n’omwenge, n’amafuta, n’ente n’endiga. Baasanyuka essanyu lingi nnyo nnyini mu Isirayiri.

< 历代志上 12 >