< 詩篇 88 >

1 詠【哀怨歌】 科辣黑子孫的詩歌,交於樂官,悲調歌唱。 上主,我的天主,我白天禱告,我黑夜在您的面前哀號。
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola. Ayi Mukama Katonda, Omulokozi wange, nkaaba emisana n’ekiro mu maaso go.
2 願我的祈禱上前達您前,求您側耳聽我的呼喊。
Kkiriza okusaba kwange kutuuke gy’oli; otege okutu kwo nga nkukoowoola.
3 因我的心靈飽受災難,我的性命已臨近陰間; (Sheol h7585)
Kubanga emmeeme yange ejjudde ebizibu, era nsemberedde okufa. (Sheol h7585)
4 我已被列在進入墳墓的人中,我已變成與無氣力的人相同。
Mbalirwa mu abo abaserengeta emagombe; nfaanana ng’omuntu atalina maanyi.
5 我的床榻舖在死人的中間,與葬於墳墓者的屍身作伴,您已不再記念他們,您已不再照顧他們。
Bandese wano ng’afudde, nga ndi ng’abo be basse abalinda obulinzi entaana, nga tokyaddayo kubajjukira, era nga tewakyali kya kubakolera.
6 您把我放在極深的坑間,您把我置於黑暗和深淵。
Ontadde mu kinnya ekisinga obuwanvu, era eky’ekizikiza ekikutte ennyo.
7 您的忿怒氣燄重壓著我,您的大浪巨濤苦害著我。
Obusungu bwo bumbuubuukiddeko nnyo, ng’ennyanja esiikuuse n’amayengo gaayo ne gankuba okusukkirira.
8 您叫我的知己離我遠去,您使我被他們痛恨厭惡;我受他們拘留不得外出。
Ab’emikwano abasingira ddala okunjagala obammazeeko, n’onfuula ekyenyinyalwa gye bali. Nsibiddwa, so sisobola kwesumattula.
9 我的眼睛痛苦而憔悴,上主,我天天在呼號著您,也把我的雙手向您舉起。
Amaaso gange gayimbadde olw’ennaku. Nkukoowoola buli lunaku, Ayi Mukama, ne ngolola emikono gyange gy’oli nga nkwegayirira.
10 難道您還要給死人發顯奇跡,或是去世的人會起來稱謝您?
Ebyamagero byo onoobikoleranga bafu? Abafudde banaagolokokanga ne bakutendereza?
11 難道在墳墓裏還有人稱述您的仁慈,或者在陰府內還有人宣揚您的信義?
Okwagala kwo onookulaganga abali emagombe n’obwesigwa bwo abo abali mu kifo eky’okuzikirira?
12 難道在幽暗處能有人明瞭您的奇蹟?或者在遺忘區還有人曉得您的正義?
Ebyamagero byo binaamanyibwanga mu kifo ekyo eky’ekizikiza? Oba ebikolwa byo eby’obutuukirivu bwo bye binaamanyibwanga mu nsi eyamala edda okwerabirwa?
13 但是上主,我現今呼號您,我的祈禱早晨上達於您;
Naye nze, Ayi Mukama, naakabiriranga ggwe okunnyamba; buli nkya okusaba kwange kunaatuukanga gy’oli.
14 上主,您為什麼捨棄了我的靈魂?又為什麼向我掩起了您的慈容?
Ayi Mukama, onsuulidde ki? Onkwekedde ki amaaso go?
15 我自幼受苦,幾乎死去,受您的威嚇,萬分恐懼;
Ombonyaabonyezza okuviira ddala mu buvubuka bwange, era nga mbeera kumpi n’okufa; ngumiikirizza nnyo entiisa yo, era kaakano mpweddemu essuubi.
16 您的盛怒將我淹沒,您的威嚇使我死掉,
Obusungu bwo obubuubuuka bunzigwereddeko era bunzikkiriza. Entiisa yo tendeseemu ka buntu.
17 像水一樣常環繞著我,由四周齊來緊圍著我。
Binzingiza nga mukoka olunaku lwonna; binsaanikiridde ddala.
18 您使親友同伴將我離棄,黑暗成了我的家人知己。
Ommazeeko ab’emikwano n’abo abanjagala ennyo; nsigazza nzikiza yokka.

< 詩篇 88 >