< 詩篇 35 >

1 上主,求你鬥爭那鬥爭我的人,求你攻擊攻擊我的人;
Zabbuli ya Dawudi. Ayi Mukama, wakanya abo abampakanya, lwanyisa abo abannwanyisa.
2 求你手持籐牌盾櫓,振奮起來予我救助;
Golokoka okwate engabo, n’akagabo onziruukirire.
3 揮舞長矛,阻止追逐我的人,願你向我說:「我是你的救星!
Galula effumu, abangigganya obazibire ekkubo; otegeeze omwoyo gwange nti, “Nze bulokozi bwo.”
4 願謀害我生命的人蒙受恥辱,願企圖磨我的人含羞退走!
Abo bonna abannoonya okunzita bajolongebwe era baswazibwe; abo abateesa okunsanyaawo bazzibweyo ennyuma babune emiwabo.
5 願上主的天使迫他們逃跑,有如隨風飄零的糠秕禾草!
Babe ng’ebisusunku ebifuumuulibwa empewo, malayika wa Mukama ng’abagoba.
6 當上主的使追逐他們時,他們的路,又漆黑又滑漓!
Ekkubo lyabwe libe lya kizikiza era lijjule obuseerezi, ne malayika wa Mukama ng’abagoba.
7 因為他們無故為我暗設網羅,他們無故為我挖掘坑窖。
Nga bwe bantega omutego nga siriiko kye mbakoze, ne bansimira n’ekinnya mu kkubo lyange awatali nsonga,
8 願不可預料的滅亡突然降臨,使他們暗布的網羅纏住他們,使他們挖掘的坑窖陷害他們。
bazikirizibwe nga tebategedde, n’omutego gwe banteze be baba bagugwamu, era bagwe ne mu kinnya kiri bazikirire.
9 如此我的心靈要欣悅於上主,要因獲得上主的救助而歡舞。
Omwoyo gwange ne gulyoka gujaguliza mu Mukama, ne gusanyukira mu bulokozi bwe.
10 我每根骨骸要說:上主!誰能和你相比?是你拯救弱小於強權,挽救貧困於盜匪。
Amagumba gange galyogera nti, “Ani afaanana nga ggwe, Ayi Mukama? Kubanga abaavu obadduukirira n’obawonya ababasinza amaanyi, n’abali mu kwetaaga n’obawonya abanyazi.”
11 蠻棋的證人紛紛立起,質問與我無關的事宜。
Abajulizi abakambwe bagolokoka ne bambuuza ebintu bye sirinaako kye mmanyi.
12 他們對我是以怨報德,這正是我心靈的創痍。
Bwe mbayisa obulungi bo bampisa bubi, ne banakuwaza omwoyo gwange.
13 他們患病時,我身著苦衣,不斷虔心祈禱,守齋克己;
So nga bwe baalwala nanakuwala ne nnyambala ebibukutu, ne neerumya nga nsiiba, ne nsaba Mukama nga nkotese omutwe, naye okusaba kwange bwe kutaddibwamu,
14 我待他們,有如自己的親友骨肉,苦悶憂慮,有如哀悼自己的慈母。
ne mbeera mu nnaku ng’ankungubagira ow’omukwano oba owooluganda nkoteka omutwe gwange mu buyinike ng’akaabira nnyina.
15 但我一遇難,他們即群集相慶,突然來攻擊欺凌我,肆虐不停。
Naye bwe nagwa mu kabi ne beekuŋŋaanya nga basanyuse; ne bannumba nga simanyi, ne bampayiriza obutata.
16 他們戲弄我,並向我狂喜,他們朝著我咬牙又切齒。
Banduulidde n’ettima ng’abatamanyi Katonda bwe bakola, ne bannumira obujiji.
17 上主,你坐視這一切要到何時?求你救我身免受他們的凌欺,求你救我命脫離少壯的猛獅;
Ayi Mukama, olituusa ddi ng’otunula butunuzi? Nziruukirira nga bannumba, obulamu bwange obuwonye okutaagulwataagulwa, obulamu bwange obw’omuwendo eri empologoma zino.
18 使我在盛大的集會中歌頌你,使我在眾多的民族中稱揚你。
Nnaakwebalizanga mu lukuŋŋaana olukulu, ne nkutenderezanga mu kibiina ky’abantu abangi ennyo.
19 不要讓那無理敵對我的人沾沾自喜,不要讓那無故仇恨我的人揚眉吐氣。
Tokkiriza balabe bange kunneeyagalirako, abankyawa awatali nsonga; abankyayira obwereere tobakkiriza kunziimuula.
20 因為他們從不談論和平,捏造謊言欺壓地上良民。
Teboogera bya mirembe, wabula okuwaayiriza abantu abeetuulidde emirembe mu nsi.
21 他們對我張開大口說:哈哈!我們親眼看見了!
Banjasamiza akamwa kaabwe ne boogera nti, “Leero luno, ky’okoze tukirabye n’amaaso gaffe.”
22 上主你看見了,不要緘口不言;上主,求你千萬不要我太遠。
Bino byonna obirabye, Ayi Mukama. Noolwekyo tosirika. Tonsuulirira, Ayi Mukama.
23 我上主,求你醒來為我辯護;我天主,求你起身為我伸屈。
Golokoka ojje onnyambe; nnwanirira Ayi Katonda wange era Mukama wange.
24 上主,求你審斷我要照你的公義,我主,不要讓他們對我洋洋得意。
Mu butuukirivu bwo nnejjeereza, Ayi Mukama Katonda wange, tobaganya kunneeyagalirako.
25 不要讓他們心中想:哈哈!這正是我們的意願!也決不要讓他們說:我們已將他活活吞嚥。
Tobaleka kulowooza nti, “Leero luno! Kino kye twali twagala!” Oba nti, “Tumusaanyizzaawo!”
26 願慶幸我遭難的人,都面紅慚愧,願高傲攻擊我的人,都蒙受羞恥!
Abo bonna abanneeyagalirako olw’ennaku yange ne beesanyusa, batabulwetabulwe era baswazibwe; abo bonna abanneegulumirizaako baswazibwe era banyoomebwe.
27 願愛護我正義的人,時常高興歡呼說:願愛護自己僕人安寧的上主受讚美!
Abo abasanyuka ng’annejjeereza, baleekaanire waggulu olw’essanyu n’okujaganya; era boogerenga nti, “Mukama agulumizibwe, asanyuka omuweereza we ng’atebenkedde.”
28 我的口舌將歌頌你的正義,我的唇舌必將終日讚美你。
Olulimi lwange lunaayogeranga ku butuukirivu bwo, era nnaakutenderezanga olunaku lwonna.

< 詩篇 35 >