< 詩篇 145 >

1 我的天主,君王,我要頌揚您,歌頌您的名,世世代代不停止。
Oluyimba lwa Dawudi olw’okutendereza. Nnaakugulumizanga ggwe Katonda wange, era Kabaka wange; era nnaatenderezanga erinnya lyo buli lunaku emirembe n’emirembe.
2 我要每日不斷讚美您,頌揚您的名,永遠不停止。
Nnaakutenderezanga buli lunaku; era nnaasuutanga erinnya lyo emirembe n’emirembe.
3 偉大的上主,實在應受讚美,上主的偉大,高深不可推測;
Mukama mukulu, wa kitiibwa, era asaanira okutenderezebwanga ennyo, n’obukulu bwe tebwogerekeka.
4 世世代代應宣揚上主的工程,世世代代應傳述上主的大能:
Buli mulembe gunaatenderanga gunnaagwo ebikolwa byo, era gunaatendanga emirimu gyo egy’amaanyi.
5 講述您的威嚴尊榮,彰明您的奇異化工,
Nnaatendanga obukulu n’obulungi bw’ekitiibwa kyo, era nnaafumiitirizanga ku bikolwa byo ebyewuunyisa.
6 述說您驚天動地的威能,不斷宣揚您的偉大無朋;
Abantu banaatendanga amaanyi g’ebikolwa byo eby’ekitalo, nange nnaatendanga obukulu bwo obw’ekitiibwa.
7 廣傳您無窮慈愛的事跡,歡呼歌唱您的公義無限。
Banaayogeranga ku bulungi bwo obw’ekitalo nga bajaguza; era banaayimbanga olw’obutuukirivu bwo.
8 主慈悲為懷,寬宏大方;他常緩於發怒,仁愛無量。
Mukama wa kisa, ajudde okusaasira, alwawo okusunguwala era ajudde okwagala okutaggwaawo.
9 上主對待萬有,溫和善良,對他的受造物,仁愛慈祥。
Mukama mulungi eri buli muntu, era okusaasira kwe kubuna byonna bye yatonda.
10 上主,願您的一切受造物稱謝您,上主,願您的一切聖徒們讚美您,
Byonna bye watonda binaakutenderezanga, Ayi Mukama; n’abatukuvu bo banaakugulumizanga.
11 宣傳您王國的光榮,講處述您的威力大能,
Banaayogeranga ku kitiibwa ky’obwakabaka bwo, era banaatendanga amaanyi go.
12 讓世人盡知您的威能,您王國的偉大光榮。
Balyoke bategeeze abantu bonna ebikolwa byo eby’amaanyi, n’ekitiibwa ky’obukulu obw’obwakabaka bwo.
13 您的王國,是萬代的王國,您的王權,存留於無窮世;上主對自己的一切諾言,忠信不欺,上主對自己的一切受造,勝善無比。
Obwakabaka bwo, bwakabaka bwa lubeerera, n’obufuzi bwo bwa mirembe na mirembe. Mukama by’ayogera byonna bya bwesigwa, n’ebikolwa bye bijjudde okusaasira.
14 凡跌倒的,上主必要扶持,凡被壓抑的,使他們起立。
Mukama awanirira abo bonna abazitoowereddwa, era ayimusa bonna abagwa.
15 眾生的眼睛都仰望您,您準時賞給他們糧食。
Amaaso g’abantu bonna gatunuulira ggwe, Ayi Mukama, era bonna gw’obawa ebyokulya mu biseera byabyo.
16 您伸出了您的雙手,滿足了眾生的需求。
Oyanjuluza engalo zo, ebiramu byonna n’obigabira bye byetaaga ne bikkuta.
17 上主在他的一切路徑上,至公至義;上主在他的一切化工上,聖善無比。
Mukama mutuukirivu mu bikolwa bye byonna era ayagala byonna bye yatonda.
18 上主接近一切呼求祂的人,就是一切誠心呼求祂的人。
Mukama abeera kumpi n’abo bonna abamukoowoola; abo bonna abamukoowoola mu mazima.
19 他必成全敬愛自己者的心願,聽到他們的呼號,必施以救援。
Abo bonna abamussaamu ekitiibwa abawa bye baagala, era awulira okukaaba kwabwe n’abawonya.
20 凡愛慕上主的,上主必保護他們;凡作惡犯罪的,上主必消除他們。
Mukama akuuma bonna abamwagala, naye abakola ebibi alibazikiriza.
21 願我的口舌稱述上主的光榮,願眾生讚美他的聖名於無窮!
Akamwa kange kanaatenderezanga Mukama, era na buli kitonde kinaatenderezanga erinnya lye ettukuvu emirembe n’emirembe.

< 詩篇 145 >