< 詩篇 103 >

1 達味作。我的靈魂,請向上主讚頌,我的五內,請向主名讚頌。
Zabbuli Ya Dawudi. Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange; ne byonna ebiri mu nze byebaze erinnya lye ettukuvu.
2 我的靈魂,請向上主讚頌,請你不要忘記他的恩寵。
Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange, era teweerabiranga birungi bye byonna.
3 是他赦免了你的各種愆尤,是他治愈了你的一切病苦,
Asonyiwa ebibi byo byonna, n’awonya n’endwadde zo zonna.
4 是他叫你的性命在死亡中得到保全,是他用仁慈以及愛情給你作了冠冕,
Anunula obulamu bwo emagombe, n’akusaasira era n’akwagala n’okwagala okutaggwaawo.
5 是他賞賜你一生幸福滿盈,是他使你的青春更新如鷹。
Awa emmeeme yo ebintu ebirungi byeyagala; obuvubuka bwo ne budda buggya ng’empungu.
6 上主常行正義的工作,為受壓迫者主持公道。
Mukama asala mu butuukirivu ne mu bwenkanya, ensonga z’abo bonna abajoogebwa.
7 上主曾將自己的道路告知梅瑟,給以色列子民彰顯自己的功績。
Yamanyisa Musa ebyo by’ayagala, n’alaga abaana ba Isirayiri ebikolwa bye.
8 上主富於仁慈寬恕,極其慈悲,遲於發怒。
Mukama wa kisa era ajjudde okusaasira, tasunguwala mangu, era alina okwagala okutaggwaawo.
9 他決不會常常責問,也決不會世世憤恨。
Taasibenga busungu ku mwoyo, era tasunguwala kumala bbanga lyonna.
10 他沒有按我們的罪惡對待我們,也沒有照我們的過犯報復我們。
Tatukola ng’okwonoona kwaffe bwe kuli, wadde okutusasula ng’ebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu bwe biri.
11 就如上天距離下地有多麼高,他待敬畏他者的慈愛也多高;
Ng’eggulu bwe litumbidde ennyo waggulu w’ensi, n’okwagala kwe bwe kuli okunene bwe kutyo eri abo abamutya.
12 就如東方距離西方有多麼遠,他使我們的罪離我們也多遠;
Ebibi byaffe abituggyako n’abitwala wala ng’ebuvanjuba bw’eri ewala okuva ebugwanjuba.
13 就如父親怎樣憐愛自己兒女們,上主也怎樣憐愛敬畏自己的人們。
Kitaawe w’abaana nga bw’asaasira abaana be, ne Mukama bw’atyo bw’asaasira abo abamutya.
14 他原知道我們怎樣形成,也記得我們不過是灰塵。
Kubanga amanyi nga bwe twakolebwa era ng’ajjukira nti tuli nfuufu.
15 世人的歲月與青草無異,又像田野的花,茂盛一時,
Wabula omuntu, ennaku z’obulamu bwe ziri ng’omuddo; akula n’agimuka ng’ekimuli eky’omu nnimiro;
16 只要輕風吹過,他就不復存在,沒有人認得出他原有的所在。
empewo ekifuuwa, ne kifa; nga ne we kyali tewakyajjukirwa.
17 但上主的慈愛永遠臨於敬畏他的人,他的正義永遠臨於他們的子子孫孫:
Naye okwagala kwa Katonda eri abo abamutya tekuggwaawo emirembe gyonna, n’obulokozi bwe eri abaana b’abaana baabwe.
18 就是臨於那些遵守他盟約的人,和那些懷念並履行他誡命的人。
Be bo abakuuma endagaano ye ne bajjukira okugondera amateeka ge.
19 上主在天上立定了自己的寶位,天下的萬物都屬他的王權統治。
Mukama anywezezza entebe ye ey’obwakabaka mu ggulu, n’obwakabaka bwe bufuga ensi yonna.
20 上主的眾天使,請你們讚美上主,你們是執行他命令的大能臣僕,又是服從上主聖言的聽命公侯;
Mwebaze Mukama mmwe bamalayika be, mmwe ab’amaanyi abakola ky’agamba, era abagondera ekigambo kye.
21 上主的眾天使,請讚美上主,您們是奉行祂旨意的忠僕,
Mwebaze Mukama mmwe amaggye ge ag’omu ggulu, mmwe abaweereza be abakola by’ayagala.
22 上主所有的一切受造物,在祂權限所達的各處,請您們大家都讚美上主。我的靈魂請您讚美上主!
Mwebaze Mukama, mmwe ebitonde bye byonna ebiri mu matwale ge gonna. Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange.

< 詩篇 103 >