< 利未記 1 >

1 上主叫了梅瑟來,由會幕中訓示他說:
Awo Mukama n’ayita Musa, n’ayogera naye ng’asinziira mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. N’amulagira nti,
2 你告訴以色列子民說:你們中若有人願意由家畜中給上主奉獻祭品。應以牛羊作你們的祭品。
“Yogera n’abaana ba Isirayiri obagambe nti, ‘Omuntu yenna mu mmwe bw’aneeteesanga okuleeta ekiweebwayo eri Mukama, anaaleetanga ekiweebwayo kya nte ng’agiggya mu kiraalo kye, oba endiga oba embuzi ng’agiggya mu kisibo kye.’
3 若有人獻牛作全燔祭,該獻一條無瑕的公牛,牽到會幕門口,為在上主面前蒙受納悅;
“Ekiweebwayo bwe kinaabanga ekiweebwayo ekyokebwa nga kiva mu kiraalo ky’ente, anaawangayo seddume etaliiko kamogo. Anaagyereeteranga n’agiweerayo ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, kiryoke kikkirizibwe eri Mukama.
4 先按手在全燔祭的頭上,使祭牲蒙受納悅,代自己贖罪。
Omuntu aleese ekiweebwayo ekyo ekyokebwa anaakwatanga omutwe gwakyo, era kinakkirizibwanga ku lulwe kiryoke kimutangiririre olw’ebibi bye.
5 以後在上主面前宰了那牛,亞郎的兒子司祭們,應奉獻牲血,將血灑在會幕門的祭壇的四週。
Seddume eyo anaagittiranga mu maaso ga Mukama; era batabani ba Alooni, bakabona, banaddiranga omusaayi gwayo ne baguwaayo eri Mukama nga bagumansira ku kyoto okwebungulula enjuuyi zonna ez’ekyoto ekiri awo okumpi n’omulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu.
6 奉獻者剝去祭牲的皮,將犧牲切成塊。
Awo ekiweebwayo ekyo ekyokebwa anaakibaagangako eddiba, n’akitemaatemamu ebifi.
7 亞郎的兒子司祭們先將火放在祭壇上,火上擺上木柴;
Batabani ba Alooni, kabona, banaakumanga omuliro mu kyoto, ne batindikira bulungi enku ku muliro ogwo.
8 然後亞郎的兒子司祭們,將成塊的肉、頭和脂肪,擺在祭壇火上的木柴上。
Awo batabani ba Alooni, bakabona, banaategekanga bulungi ebifi ebyo, nga n’omutwe n’amasavu babitaddeko; banaabissanga ku nku ezikoledde omuliro ku kyoto.
9 奉獻者應用水將內臟和小腿洗淨;司祭將這一切放在祭壇上焚燒,作為全燔祭,作為中悅上主的馨香火祭。
Eyaleese ekiweebwayo ekyo anaanaazanga n’amazzi eby’omu lubuto n’amagulu; ebyo byonna kabona anaabyokyanga ku kyoto ng’ekiweebwayo ekyokebwa, ekyokeddwa mu muliro ne kivaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama.
10 若有人獻羊作全燔祭,不論是綿羊,或是山羊,該獻一頭無瑕的公羊。
“Ekinaaleetebwanga okuba ekiweebwayo ekyokebwa bwe kinaavanga mu kisibo, oba ndiga oba mbuzi, omuntu oyo anaawangayo ennume etaliiko kamogo.
11 應在上主面前,祭台的北邊將牠宰了;亞郎的兒子司祭們,應將血灑在祭壇的四週。
Anaagittiranga ku luuyi olwakkono olw’ekyoto mu maaso ga Mukama, era batabani ba Alooni, bakabona, banaamansiranga omusaayi gwayo ku njuyi zonna ez’ekyoto okukyebungulula.
12 然後奉獻者應將祭牲切成塊,司祭將成塊的肉、頭和脂肪,擺在祭壇火上的木柴上。
Anaagitemaatemangamu ebifi; era kabona anaategekanga bulungi ebifi ebyo, nga n’omutwe n’amasavu abitaddeko, n’abissa ku nku ezikoledde omuliro ku kyoto.
13 那人應用水將內臟和小腿洗淨;司祭將這一切放在祭壇上焚燒,作為全燔祭,作為中悅上主的馨香火祭。
Eyaleese ekiweebwayo ekyo anaanaazanga n’amazzi eby’omu lubuto n’amagulu; ebyo byonna kabona anaabiwangayo, n’abyokya ku kyoto, nga kye kiweebwayo ekyokebwa ekyokeddwa mu muliro, ne kivaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama.
14 若有人給上主獻飛禽作全燔祭,該獻班鳩或雛鴿作祭品。
“Ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama bwe kinaabanga eky’ennyonyi, omuntu anaaleetanga ekiweebwayo eky’amayiba oba eky’enjiibwa ento.
15 司祭應將牠帶到祭壇前,扭斷他的頭,放在祭壇上焚燒;先把牠的血靠在祭壇的旁邊擠盡,
Kabona anaaleetanga ennyonyi eyo ku kyoto n’aginyoola omutwe n’agukutulako, n’agwokya ku kyoto; omusaayi gwayo anaagukenenuliranga mu mbiriizi z’ekyoto.
16 然後那人將嗉囊和羽毛拔去,丟在祭壇東邊倒灰的地方。
Anaagiggyangamu ekisakiro kyayo n’ebikirimu, n’akisuula ku ludda olw’ebuvanjuba olw’ekyoto mu kifo awayiyibwa evvu.
17 然後司祭將犧牲由兩翼的中間撕開,但不可分離;放在祭壇上焚燒,作為全燔祭,作為中悅上主的馨香火祭。
Anaagikwatanga ebiwaawaatiro n’agiyuza; kyokka taagiryebulirengamu ddala. Anaagyokeranga ku nku ezikoledde omuliro mu kyoto; nga kye kiweebwayo ekyokebwa ekyokeddwa mu muliro ne kivaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama.

< 利未記 1 >