< 約書亞記 20 >
Mukama Katonda n’alyoka agamba Yoswa nti,
2 你應告訴以色列子民說:他們應向照我藉梅瑟向你們所提及的,指定一些避難城,
“Gamba abaana ba Isirayiri bateekewo ebibuga ebyokwekwekamu nga bwe nabalagira okuyita mu Musa,
3 好使無心誤殺人的能逃到那裏去。這些城市作為你們逃避血仇者的地方
era nti omuntu yenna atta omulala nga tagenderedde era nga takitegese addukirenga omwo, eyo gy’anaawoneranga omuwoolezi w’eggwanga ayagala okwesasuza.
4 那誤殺人的,只要逃往這些城中的一座,立於城門口,將自己的事,報告給這城的長老聽;長老就該將他接入城中,給他地方,讓他往在他們中間。
“Annadukiranga mu kimu ku bibuga ebyo n’ayimirira ku mulyango gw’ekibuga annyonnyole ensonga ye eri abakadde b’ekibuga ekyo. Awo ne balyoka bamukkiriza okuyingira mu kibuga ne bamuwa ekifo eky’okubeeramu.
5 如果報血仇者追來了,長老不可將他交於報血仇者手中,因為他殺人原是出於無心,素無仇恨。
N’oyo ayagala okwesasuza singa anaamugobereranga, tebateekwa kuwaayo oyo asse tagenderedde kubanga muliraanwa we yamutta tagenderedde, lwa kuba nti yamulinako ekiruyi n’obukyayi.
6 殺人者應往在這城內,直到他在會眾前出庭受審,直到現任的大司祭去世之後,方可回到本城本家,即由之逃出城市。」
“Mu kibuga omwo mwanaabeeranga, abantu baamu banaawuliranga ensonga ye, era anaabeeranga omwo okutuusa kabona omukulu aliko mu kiseera ekyo, lw’alifa. Olwo nno aliddayo ewaabwe mu kibuga gye yadduka.”
7 以色列人於是在納斐塔里山區,指定了加里肋亞的刻德士;在厄弗辣因山區指定了舍根;在猶大山區指定了克黎雅特阿爾耳巴,即赫貝龍;
Awo ne baawulako ebibuga bino: Kedesi mu Ggaliraaya mu nsi ey’ensozi eya Nafutaali, ne Sekemu mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu, ne Kiriasualuba, ye Kebbulooni mu nsi ey’ensozi eya Yuda.
8 在約旦河東岸,耶利哥東面,在曠野高原裏,勒烏本支派內指定了貝責爾;在加得支派內,指定了基肋阿得的辣摩特;在默納協支派內,指定了巴商的哥藍。
N’emitala wa Yoludaani ku Yeriko ku luuyi olw’ebuvanjuba ne bateekayo Bezeri mu lukoola mu lusenyi mu kika kya Lewubeeni, ne Lamosi mu Gireyaadi mu kika kya Gaadi, ne Golani mu Basani mu kika kya Manase.
9 以上是為所有的以色列人和寄他們中間的外方人指定的城市,使凡誤殺人的,能逃往那裏去,在他未出庭受會眾審判以前,不致死在報血仇者的手裏。
Ebyo bye bibuga ebyateekebwawo abaana ba Isirayiri bonna era ne bannaggwanga abaali mu bo nti omuntu yenna eyattanga omuntu nga tagenderedde addukire eyo aleme kuttibwa omuwoolezi w’eggwanga okutuusa lw’aliyimirira mu maaso g’ekibiina.