< 約書亞記 15 >

1 猶大支派的子孫按照家族,抽籤分得的土地是在極南部,以厄東邊境為界,南至親曠野。
Omugabo gw’abaana ba Yuda ng’enju zaabwe bwe zaali bwe baakuba akalulu, baaweebwa ekitundu okutuuka ku nsalo ya Edomu, ku lukoola lwa Zini, ku nkomerero y’oluuyi olw’obukiikaddyo.
2 南方的邊界起自鹽海頂端,即海灣南端,
N’ensalo yaabwe ey’oluuyi olwo okuva ku Nnyanja ey’Omunnyo w’eva, ku kikono ekitunudde mu bukiikaddyo;
3 沿阿刻辣賓山坡之南,經親曠野,上至卡德士巴爾乃亞之南,再由此經過赫茲龍,上至阿達爾,再繞過卡爾卡,
n’esala wansi w’ekkubo eririnnya ku Akkulabimu n’eyita okutuuka ku Zini n’erinnya okuyita wansi wa Kadesubanea, n’eyita kumpi ne Kezulooni, n’erinnya ku Addali, n’ekyamira ku Kaluka;
4 穿過阿茲孟直到埃及小河,而後廷至大海:以上是他們南方的邊界。
n’eyita ku Azumoni n’ekoma ku mugga ogw’e Misiri, n’eryoka esibira ku nnyanja. Eno ye yali ensalo yaabwe ey’obukiikaddyo.
5 東方的邊界是起自鹽海直到約旦河口;北方的是起自約旦河口的海灣,
N’ensalo yaabwe ey’obuvanjuba yali nnyanja ey’obukiikakkono. Kyali kikono kya Yoludaani we guyiyira ku Nnyanja ey’Omunnyo. N’ensalo ey’obukiikakkono kyali kikono kya nnyanja Yoludaani we guyiyiramu.
6 上至貝特曷革拉,經過貝特阿拉巴北部,上至勒烏本人波罕的盤石;
N’eyambuka n’eyita ku Besukogula n’eyita ku luuyi lw’ebuvanjuba bwa Besualaba n’eyambuka okutuuka ku jjinja lya Bokani omwana wa Lewubeeni.
7 再由此上至德彼爾,沿阿苛爾山谷,往北轉向位於谷南的阿杜明山坡對面的革里羅特,再經默士水泉,直到洛革耳泉。
Era n’erinnya ku Debiri okuva mu kiwonvu Akoli, n’egenda ku luuyi olw’obukiikakkono, n’edda e Girugaali emitala w’ekkubo eryambuka ku Adummimu, ekiri emitala w’omugga mu bukiikaddyo, n’etuuka ku nsalo ku mazzi ag’e Ensemesi, n’esala n’ekoma ku Enerogeri. Awo n’eryoka eyita ku kiwonvu kya Kinomu ku luuyi lw’ebugwanjuba ekyali ku nkomerero ey’ekiwonvu kya Lefayimu ku luuyi olw’obukiikakkono.
8 以後再由此由本希農山谷而上,直達耶步斯,即耶路撒冷的南側,再上至俯視本希農山谷西方的山頂,這山位於勒法因平原的北端。
Awo n’eryoka eva ku kiwonvu ky’omwana wa Kinomu n’etuuka ku njegoyego za Yebusi ku luuyi olw’obukiikaddyo ye Yerusaalemi, ne yeeyongera ku ntikko y’olusozi oluli w’okkira mu kiwonvu kya Kinomu ku luuyi olw’ebugwanjuba, ku nkomerero y’ekiwonvu kya Lefayimu mu bukiikakkono;
9 再由這山頂轉向乃費托亞水泉,直到厄斐龍山,然後轉向巴阿拉,──即克黎雅特耶阿陵。
ne yeeyongera okuva ku ntikko y’olusozi n’etuuka ku luzzi olw’amazzi ga Nefutoa, ne yeeyongerayo n’etuuka ku bibuga eby’oku lusozi Efuloni, n’etuuka ku Baala, ye Kiriyasuyalimu,
10 再從巴阿拉向西折向肥依爾山,繞過耶阿陵即革撒隆山脊北部,下至貝特舍默士,經過提默納,
n’ewetamu okuva e Baala ku luuyi olw’ebugwanjuba n’etuuka ku lusozi Sayiri n’eyita n’etuuka ku mabbali g’olusozi Yealimu ku luuyi olw’omu bukiikakkono, ye Kyesaloni, n’ekka ku Besusemesi, n’eyita ku Timuna,
11 直至厄刻龍山脊北部,再繞過史加龍,經巴阿拉山,直到雅貝乃耳,最後至海為止。
n’egenda ku mabbali ag’e Ekuloni mu bukiikakkono, n’ekka ku Sikkeroni n’etuuka ku lusozi Baala, n’ekoma ku Yabuneeri, ne ku nnyanja.
12 西方的邊界以大海海濱為界:以上是猶大子孫按照家族所分得的地區四周的邊界。
Ensalo ey’ebugwanjuba yali Ennyanja Ennene n’olubalama lwayo. Eyo ye yali ensalo y’abaana ba Yuda ku njuyi zonna ng’enju zaabwe bwe zaali.
13 若蘇厄遵照上主的吩咐,將猶大子孫中的一部分土地,即克黎雅特阿爾巴,分給了耶孚乃的兒子加肋布。阿爾巴是阿納克的祖先,阿爾巴即是赫貝龍。
Yoswa n’awa Kalebu omwana wa Yefune omugabo mu baana ba Yuda Kiriasualuba, ye Kebbulooni, ng’ekiragiro kya Mukama bwe kyali. Aluba ye yali kitaawe wa Anaki.
14 加肋布從那裏趕走了阿納克的三個子孫:舍瑟、阿希曼和塔爾耳買;他們是阿納克的後代。
Kalebu n’agobamu abaana abasatu aba Anaki: Sesayi ne Akimaani, ne Talumaayi, abaana ba Anaki.
15 加肋布又從那裏上去,攻打了德彼爾固民。──德彼爾以叫克黎雅特色費爾。
N’ava eyo n’alumba abaali mu Debiri, edda eyayitibwanga Kiriasuseferi.
16 加肋布說:「誰能征服或拿下克黎雅特色費爾,我便將我的女兒阿革撒給他為妻。」
Kalebu n’agamba nti, “Anaakuba Kiriasuseferi n’akiwamba ndimuwa muwala wange Akusa amuwase.”
17 加肋布的弟兄,刻納次的兒子敖特尼奪下了那城,加肋布便將自己的女兒阿革撒給他為妻。
Osunieri omwana wa Kenazi, muganda wa Kalebu, n’akikuba, Kalebu n’amuwa Akusa muwala we amuwase.
18 阿革撒快門的時候,丈夫勸她向她的們父親要求一塊田地。阿革撒一下驢,加肋布便向她說:「妳要﹖」什麼
Awo bwe yajja gy’ali, n’amugamba asabe kitaawe ennimiro. Bwe yava ku ndogoyi ye, Kalebu n’amubuuza nti, “Kiki kyoyagala nkukolere?”
19 阿革撒答說:「請你給我一件禮物;即要把我安放在南方的旱地,求你也將水泉給我。」她的父親就把上泉和下泉賜給了她。
N’addamu nti, “Nsaba onnyambe nga bwe wampa ettaka mu Negebu, ompe n’ensulo z’amazzi.” Kalebu n’amuwa ensulo ez’engulu n’ez’emmanga.
20 以下是猶大支派子孫.按照家族分得的產業:
Guno gwe mugabo gw’ekika ky’abaana ba Yuda ng’enju zaabwe bwe zaali.
21 猶大支派子孫在乃革布與厄東交界的城市,有卡貝責耳、阿辣得、雅古爾、
Ebibuga ebyali bisemberayo ddala mu bukiikaddyo mu Negebu eri ensalo ya Edomu byali, Kabuzeeri, n’e Ederei n’e Yaguli,
22 克納狄摩納、阿爾阿辣。
n’e Kina n’e Dimona, n’e Adada,
23 刻德士、哈祚爾、依特南、
n’e Kedesi, n’e Kazoli, n’e Isunani,
24 齊弗、特冷、貝阿羅特、
n’e Zifu, n’e Teremu n’e Beyaloosi,
25 哈祚爾哈達大、克黎約特赫茲龍──祚爾加達、即哈祚爾、
n’e Kazolukadatta, n’e Keriosukezulooni, ye Kazoli,
26 阿曼、舍瑪、摩拉達、
n’e Amamu n’e Sema, n’e Molada,
27 哈匝爾加達、赫士孟、貝特培肋特、
n’e Kazalugadda n’e Kesuboni, n’e Besupereti
28 哈匝爾叔阿耳、貝爾舍巴及所屬村鎮、
n’e Kazalusuwali, n’e Beeruseba n’e Biziosia
29 巴阿拉、依因、厄曾、
n’e Baala n’e Yimu, n’e Ezemu,
30 厄耳托拉得、革息耳、曷爾瑪、
n’e Erutoladi n’e Kyesiri n’e Koluma,
31 漆刻拉格、瑪德瑪納、桑森納、
n’e Zikulagi, n’e Madumanna, n’e Samusanna,
32 肋巴敖特、史耳新和恩黎孟:共計二十九座城巴和及所屬村鎮。
n’e Lebaosi, n’e Sirukimu, n’e Ayini, n’e Limmoni. Ebibuga byonna awamu amakumi abiri mu mwenda, n’ebyalo byabyo.
33 在盆地有厄市陶耳、祚辣、阿市納、
Era ne mu nsi ey’ensenyi Esutaoli, n’e Zola, n’e Asuna,
34 匝諾亞、恩加寧、塔普亞、厄南、
n’e Zanowa n’e Engannimu, n’e Tappua, n’e Enamu,
35 雅爾慕特、阿杜藍、索苛、阿則卡、
n’e Yalamusi n’e Adulamu, n’e Soko, n’e Azeka
36 沙阿辣因、阿狄塔殷、革德辣及革德洛塔殷:共計十四座城和所屬村鎮。
n’e Saalayimu, n’e Adisaimu, n’e Gedera, n’e Gederosaimu, ebibuga kkumi na bina n’ebyalo byabyo.
37 責南、哈達沙、米革達耳加得、
Zenani, n’e Kadasa, n’e Migudalugadi,
38 狄耳罕、米茲培、約刻特耳、
n’e Dirani, n’e Mizupe, n’e Yokuseeri,
39 基士、波茲卡特、厄革隆。
n’e Lakisi, n’e Bozukasi, n’e Eguloni,
40 加朋、拉赫瑪斯、基特里士、
n’e Kabboni, n’e Lamamu, n’e Kitulisi,
41 革德洛特、貝特達貢、納阿瑪、瑪刻達:共計十六座座城和所屬村鎮。
n’e Gederosi, Besudagoni, n’e Naama, n’e Makkeda, ebibuga kkumi na mukaaga n’ebyalo byabyo.
42 里貝納、厄特爾、阿商、
Libuna n’e Eseri, n’e Asani,
43 依弗達、阿市納、乃漆布、
n’e Ifuta n’e Asuna, n’e Nezibu,
44 刻依拉、阿革齊布、瑪勒沙:共計九座城和所屬村鎮;
n’e Keira, n’e Akuzibu, n’e Malesa, ebibuga mwenda n’ebyalo byabyo.
45 尚有厄刻龍和所屬城鎮。
Ekuloni n’ebibuga byamu n’ebyalo byakyo,
46 還有從厄刻龍到海,所有靠近阿市多得所屬村鎮。
okuva ku Ekuloni okutuuka ku nnyanja, ebibuga byonna ebiriraanye Asudodi n’ebyalo byabyo;
47 阿市多得所屬城鎮,直到埃及小河;並以大海為界
Asudodi, ebibuga byakyo n’ebyalo byakyo; Gaza, ebibuga byakyo n’ebyalo byakyo okutuuka ku mugga ogw’e Misiri, n’ennyanja ennene, n’ensalo yaayo.
48 在山地有沙米爾,雅提爾、索苛、
Ne mu nsi ey’ensozi, Samiri, n’e Yattiri, n’e Soko,
49 達納、克黎雅特色費爾,即德彼爾、
ne Danna, ne Kiriasusanna, ye Debiri,
50 阿納布、厄市特摩、阿寧、
ne Anabu, n’e Esutemoa, n’e Animu,
51 哥笙、曷隆和基羅:共計十一座城所屬村鎮。
n’e Goseni, n’e Koloni, n’e Giro, ebibuga kkumi na kimu n’ebyalo byabyo.
52 阿辣布、、杜瑪、厄商、
Alabu, n’e Duma, n’e Esani,
53 雅農、貝特塔普亞、阿費克、
n’e Yanimu, n’e Besutappua, n’e Afeka,
54 胡默達、克黎雅特阿爾巴,即赫貝龍和漆敖爾:共計九座城所屬村鎮。
n’e Kumuta n’e Kiriasualuba, ye Kebbulooni, n’e Zioli ebibuga mwenda n’ebyalo byabyo.
55 瑪紅、加爾默爾、齊弗、猶他、
Mawoni, n’e Kalumeeri, n’e Zifu, n’e Yuta,
56 依次勒耳、刻約德罕、匝諾亞、
n’e Yezuleeri, n’e Yokudeamu, n’e Zanoa,
57 卡因、基貝亞、提默納:共計十座城所屬村鎮。
Kaini, n’e Gibea, n’e Timuna, ebibuga kkumi n’ebyalo byabyo.
58 哈耳胡耳、貝特族爾、革多爾、
Kalukuli, Besuzuli, n’e Gedoli;
59 瑪阿辣特、貝特阿諾特、厄耳特孔:共計六座城所屬村鎮。特科亞、厄弗辣大即白冷、培敖爾、厄堂、谷隆、塔堂、索勒、加倫、加林、貝特爾、瑪納:共計十一座城所屬村鎮。
n’e Maalasi, n’e Besuanosi, n’e Erutekoni, ebibuga mukaaga n’ebyalo byabyo.
60 尚有克黎雅特巴爾即克黎雅特耶阿陵和阿辣巴兩座城,所屬村鎮。
Kiriasubaali, ye Kiriyasuyalimu, n’e Laaba ebibuga bibiri n’ebyalo byabyo.
61 在曠野有貝特阿辣巴、
Mu ddungu: Besualaba, n’e Middini, n’e Sekaka,
62 尼貝商、監城和恩革狄:共計六座城所屬村鎮。
n’e Nibusani, n’ekibuga eky’omunnyo, n’e Engedi, ebibuga mukaaga n’ebyalo byabyo.
63 至於住在耶路撒冷的耶步斯人,猶大人不能將他們趕走,因此耶步斯人直到今日,仍同猶大人一起住在耶路撒冷。
Abayebusi, be baali mu Yerusaalemi abaana ba Yuda ne batayinza kubagobamu; Abayebusi ne babeera wamu n’abaana ba Yuda mu Yerusaalemi n’okutuusa kaakano.

< 約書亞記 15 >