< 約伯記 33 >

1 約伯,請你且聽我的話,側耳靜聽我說的一切。
“Kaakano ggwe Yobu, wuliriza ebigambo byange: ssaayo omwoyo ku byonna bye njogera.
2 請看,我已開口,舌頭已在口腔內發言。
Laba nnaatera okwasamya akamwa kange, ebigambo byange bindi ku lulimi.
3 我的話是出於正直的心,我的唇舌要清楚說明真理。
Ebigambo byange biva mu mutima omulongoofu; olulimi lwange, mu bwesimbu, lwogera bye mmanyi.
4 天主的神造了我,全能者的氣息使我生活。
Omwoyo wa Katonda ye yankola, era omukka gw’oyo Ayinzabyonna gumpa obulamu.
5 你如果能夠,就回答我,請準備好,來對抗我。
Onnyanukule nno bw’oba osobola, teekateeka ebigambo byo onjolekere.
6 看,我與你在天主前都是一樣,我也是用泥土造成的。
Laba, nange ndi ggwe mu maaso ga Katonda. Nange nava mu bbumba.
7 所以我的威嚇不會使你恐怖,我的手也不會重壓在你身上。
Tobaako ky’otya, sijja kukunyigiriza.
8 你所說的,我已耳聞,聽到了你所說的話:「
Ddala ddala oyogedde mpulira, ebigambo byennyini mbiwulidde ng’ogamba nti,
9 我本純潔無罪,清白無瑕。
Ndi mulongoofu sirina kibi, siriiko musango so mu nze temuli butali butuukirivu.
10 但天主卻在我身上找錯,視我為他的對頭;
Kyokka Katonda anteekako omusango, anfudde omulabe we.
11 他把我的腳縛在木樁上,窺察我的一切行動。」
Asiba ebigere byange mu nvuba, antwala okuba omulabe we.
12 我答覆你說:你這話說的不對,因為天主遠超世人。
“Naye leka nkubuulire, mu kino toli mutuufu. Katonda asinga omuntu.
13 他既不答覆你說的一切話,你為何還同他爭辯﹖
Lwaki omwemulugunyiza nti, taddamu bigambo bya muntu yenna?
14 原來天主用一種方法向人講話,人若不理會,他再用另一種方法:
Kubanga Katonda ayogerera mu ngeri emu, n’awalala n’ayogerera mu ngeri endala, wadde ng’omuntu tassaayo mwoyo.
15 天主有時藉夢和夜間的異像,當人躺在床上沉睡的時候,
Mu kirooto mu kwolesebwa ekiro ng’otulo tungi tukutte abantu nga beebase ku bitanda byabwe,
16 開啟人的聽覺,用異像驚嚇他,
aggula amatu g’abantu, n’abalabula n’ebyekango,
17 使人脫離惡念,使人剷除驕傲,
alyoke akyuse omuntu okumuggya mu bikolwa ebibi n’amalala,
18 阻攔他陷於陰府,救他的性命脫離溝壑。
aziyize emmeeme ye okukka mu bunnya, n’obulamu bwe buleme okuzikirira n’ekitala.
19 天主也有時懲罰人在床上受痛苦,使他的骨頭不斷的刺痛,
“Omuntu ayinza okubonerezebwa, olumbe ne lumulumira ku kitanda kye, n’alumwa olutatadde mu magumba ge,
20 以致他討厭食物,他的心厭惡美味。
obulamu bwe ne bwetamira ddala emmere, emmeeme ye n’ekyayira ddala ebyassava.
21 他身上的肉已消逝不見,他枯瘦的骨頭,已開始外露。
Omubiri gwe gugwako ku magumba, n’amagumba ge ne gafubutukayo gye gaali geekwese,
22 他的靈魂已臨近墓穴,他的生命已接近死亡之所。
emmeeme ye n’esembera kumpi n’obunnya; obulamu bwe ne bulaga eri abo abaleeta okufa.
23 一千天使中,若有一個在他身傍,作他的代言人,提醒他應行的義務,
Singa wabaawo malayika ku ludda lwe, amuwolereza, omu ku lukumi, okubuulira omuntu ekigwanidde;
24 且憐憫那人,為他轉求說:「求你拯救他,以免陷於陰府,因為我已找到了贖金。」
yandimukwatiddwa ekisa n’amugamba nti, ‘Muwonye aleme kusuulibwa magombe, mmusasulidde omutango,’
25 他的肉身比少年人的肉身必更健美,他的青春歲月又恢復了。
omubiri gwe guzzibwa buggya ng’ogw’omwana omuwere, era guddayo ne gubeera nga bwe gwali mu nnaku ze ez’obuvubuka.
26 他祈求天主,必獲得悅納。他必歡樂得見天主的儀容,天主也必恢復他的正義。
Omuntu asaba Katonda, Katonda n’amukwatirwa ekisa. Alaba amaaso ga Katonda n’ajaguza n’essanyu, Katonda n’amuddiza nate ekifo kye eky’obutuukirivu.
27 那時,他將在人前重述所經歷的事說:「我犯了罪,顛倒了是非,但他沒有照我的罪罰我。
Awo omuntu n’akomawo eri abantu n’abagamba nti, Nayonoona, ne nkola ekyo ekitaali kirungi, naye ne sibonerezebwa nga bwe kyali kiŋŋwanidde.
28 他救了我生命免入陰府,使我重見光明。」
Yanunula emmeeme yange n’amponya okukka mu bunnya; kyenaava mbeera omulamu ne nsigala nga mpoomerwa ekitangaala.
29 這就是天主接二連三為人所做的事,
“Bw’atyo Katonda bw’akola omuntu emirundi ebiri oba esatu,
30 挽救他脫離陰府,重見生命之光。
okuzza emmeeme ye ng’agiggya emagombe, ekitangaala eky’obulamu kimwakire.
31 約伯啊! 請留神傾聽,靜靜地聽我說話!
“Yobu, weetegereze nnyo, ompulirize; siriikirira nkubuulire.
32 你若有話說,請即回覆我,你儘管說,因為我願聽你的理。
Bw’oba ng’olina eky’okwogera kyonna, nziraamu; yogera kubanga njagala wejjeerere.
33 若沒有話,且聽我說,靜聽我要教給你的智慧。
Bwe kitaba kityo, mpuliriza; sirika nange nnaakuyigiriza amagezi.”

< 約伯記 33 >