< 約伯記 2 >
1 又有一天,天主的眾子都前來侍立在上主面前,撒殫也夾在他們當中,侍立在上主面前。
Ku lunaku olulala bamalayika ne bajja okukiika mu maaso ga Mukama Katonda, ne Setaani naye n’ajjiramu.
2 上主向撒殫說:「你從那裏來﹖」撒殫回答上主說:「我走遍了世界,周遊了各地回來。」
Mukama Katonda n’abuuza Setaani nti, “Ova wa?” Setaani n’amuddamu nti, “Nva kutalaaga ensi yonna.”
3 上主對撒殫說:「你曾留心注意到我的僕人約伯嗎﹖世上沒有一個像他那樣十全十美,生性正直,敬畏天主,遠避邪惡的人。你雖然激動我加害他,無端叫他傾家蕩產,但他依然保持自己的完善。」
Mukama Katonda n’agamba Setaani nti, “Olowoozezza ku muddu wange Yobu? Talina kyakunenyezebwa, mwesimbu, atya Katonda era eyeewala ekibi bw’atyo talina amufaanana. Anywezezza obutuukirivu bwe newaakubadde nga wansokasoka mmuzikirize awatali nsonga.”
4 撒殫回答上主說:「那只不過是以皮換皮罷了! 人都肯捨棄所有,去保全自己的性命。
Setaani n’amuddamu nti, “Eddiba olw’eddiba, omuntu kyaliva awaayo byonna by’alina olw’okuwonya obulamu bwe;
5 但是,你若伸手打擊他的骨和肉,他必定當面詛咒你。」
naye golola omukono gwo okwate ku magumba ge n’omubiri gwe olabe oba taakwegaane.”
6 上主向撒殫說:「看,任你處置他,但要保留他的性命。」
Mukama Katonda n’amugamba nti, “Weewaawo, ali mu mukono gwo, kyokka mulekere obulamu bwe.”
7 撒殫從上主那裏出來,就使約伯從足踵到頭頂都長了毒瘡。
Awo Setaani n’ava awali Mukama Katonda, n’alwaza Yobu amayute amazibu okuva ku mutwe, okutuukira ddala ku bigere.
Yobu n’atandika okweyaguzanga oluggyo ng’eno bw’atudde mu vvu.
9 他的妻子向他說:「你還保持你的完善嗎﹖你倒不如詛咒天主,死了算了! 」
Kyokka mukyala we n’amugamba nti, “Okyagugubidde ku butuukirivu bwo? Weegaane Katonda ofe!”
10 約伯向她說:「你說話,真像一個糊塗女人! 難道我們只由天主那裏接受恩惠,而不接受災禍嗎﹖」就這一切事而論,約伯沒有犯失言的過錯。
Naye ye n’amuddamu nti, “Oyogera ng’omu ku bakazi abatategeera bwe bandyogedde! Tunaafunanga birungi byereere mu mukono gwa Katonda?” Mu bino byonna Yobu teyayonoona na kamwa ke.
11 約伯的三位朋友,特曼人厄里法次、叔亞人彼耳達得、納阿瑪人左法爾,聽說他遭遇了災禍,就各從本地起程,來到一起,去慰問他、勸勉他,
Awo mikwano gya Yobu abasatu; Erifaazi Omutemani, Birudaadi Omusuki, ne Zofali Omunaamasi bwe baawulira emitawaana egyali gituuse ku mukwano gwabwe, ne bajja buli omu okuva ewuwe ne basisinkana nga bwe baali bateesezza, bagende bamusaasire bamuzzeemu amaanyi.
12 他們從遠處舉目一望,已認不得他,就放聲大哭,撕破了自己的外衣,把灰揚起,落在自己頭上。
Tebaamutegeererawo nga bakyali wala, olw’embeera gye yalimu; ne bayimusa amaloboozi gaabwe ne bakuba ebiwoobe ne bayuza ebyambalo byabwe ne bayiwa enfuufu ku mitwe gyabwe.
13 他們於是同他在灰土中,坐了七天七夜,因見他受苦太大,沒有人敢向他說一句話。
Awo ne batuula naye we yali atudde okumala ennaku musanvu emisana n’ekiro nga tewali anyega, olw’obulumi obungi Yobu bwe yalimu.