< 耶利米書 27 >

1 猶大王約史雅的兒子漆德克雅第四年,上主有這話傳給耶肋米亞說:「
Ku ntandikwa y’obufuuzi bwa Zeddekiya mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, ekigambo kino kyajjira Yeremiya okuva eri Mukama:
2 上主對我這樣說:你要備製繩索和木軛,放在你頸上;
Bw’ati Mukama bwe yaŋŋamba nti: “Weekolere ekikoligo okiteeke ku nsingo yo,
3 然後託那些來耶路撒冷覲見猶大王漆德克雅的使者,送給厄東王和摩阿布王,阿孟子民的王和提洛王以及漆冬王,
oweereze ekigambo eri bakabaka ba Edomu, ne Mowaabu, ne Ammoni, ne Tuulo ne Sidoni, ng’otuma ababaka abazze mu Yerusaalemi eri Zeddekiya kabaka wa Yuda.
4 吩咐他們對自己的主上說:萬軍的上主,以色列的天主這樣說:你們應如此對你們的主上說:
Tumira bakama baabwe obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, “Kino mukitegeeze bakama bammwe.
5 是我以我的大能和我伸展的手臂,創造了大地、人類及地面上的走獸,我能把大地賜給我喜歡給的人。
N’amaanyi gange amangi n’omukono ogugoloddwa natonda ensi n’abantu baamu n’ensolo ezigiriko, era ngiwa omuntu yenna gwe njagala.
6 現在我把這些土地交在我的僕人巴比倫王拿步高的手中,連田野的走獸我也賜給他,作他的奴隸;
Kaakano ŋŋenda kuwaayo amawanga gammwe eri omuddu wange Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni, n’ensolo ez’omu nsiko nzija kuziteeka wansi we.
7 列國要作他、他的兒子和孫子的奴隸,直到他國家的時運終於來到──他也不例外──那時必有強盛的民族和強大的君王來使他作奴隸。
Amawanga gonna galimuweereza ne mutabani we ne muzzukulu we okutuusa ekiseera eky’ensi ye okusalirwa omusango lwe kirituuka; olwo amawanga mangi ne bakabaka bangi ab’amaanyi balimuwangula.
8 若一個民族或國家,不願作巴比倫王拿步高的奴隸,或不願屈服在巴比倫王軛下,我必以戰爭、饑饉和瘟疫懲罰這民族──上主的斷語──直至將他們悉數交在他手中。
“‘“Naye singa eggwanga lyonna oba obwakabaka bwonna tebuliweereza Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni oba okuteeka ensingo wansi w’ekikoligo ky’abwo, nzija kubonereza ensi eyo n’ekitala, n’ekyeya, ne kawumpuli, bw’ayogera Mukama, okutuusa lwe ndigizikiriza n’omukono gwange.
9 所以你們不要聽從常對你們說:「你們決不會作巴比倫王的奴隸」的先知、占卦師、卜夢者、巫士和術士的話,
Noolwekyo bannabbi bammwe, n’abalaguzi, n’abavvuunuzi b’ebirooto, temubawuliriza wadde abalogo wadde abafumu ababagamba nti, ‘Temulibeera baddu ba kabaka w’e Babulooni.’
10 因為他們給你們預言的只是謊話,致使你們遠故土,叫我驅逐你們,令你們趨於滅亡。
Baabawa bunnabbi bwa bulimba obunaabaleetera okutwalibwa ewala okuva mu mawanga gammwe. Ndibagobera wala era mulizikirira.
11 至於引領接受巴比倫王的軛,甘願作他奴隸的民族,我必使他們仍留在本土──上主的斷語──在那裏安居樂業。
Naye singa eggwanga lirikutamya ensingo yaalyo wansi w’ekikoligo kya kabaka w’e Babulooni limuweereze, nzija kuleka eggwanga eryo lisigale mu nsi yaalyo, okugirima, n’okugibeeramu, bw’ayogera Mukama.”’”
12 我於是全依照這些話轉告猶大王漆德克雅說:「你應引頸接受巴比倫王的軛,服事他和他的人民,你們纔可生存。
Nategeeza obubaka bwe bumu eri Zeddekiya kabaka wa Yuda nga ŋŋamba nti, “Kutamya ensingo yo wansi w’ekikoligo kya kabaka w’e Babulooni, beera omuddu we n’abantu be, onoobeera mulamu.
13 為什麼你和你的人民寧願死於刀劍、饑饉和瘟疫,如同上主對不願服事巴比倫王的民族所警告的呢﹖
Lwaki ggwe n’abantu bo mufa ekitala, n’ekyeya ne kawumpuli Mukama by’agambye okutuuka ku nsi yonna eteefuuke muddu wa kabaka w’e Babulooni?
14 你們不要聽從對你們說:「不要服事巴比倫王」的先知的話,因為他們給你們預言的只是謊話;
Towuliriza bigambo bya bannabbi abakugamba nti, ‘Tolibeera muddu wa kabaka w’e Babulooni,’ kubanga bakutegeeza bya bulimba.
15 我並沒有派遣他們──上主的斷語──他們竟奉我的名向你們預言,叫我驅逐你們,使你們和對你們說預言的先知同趨滅亡。」
‘Sibatumanga,’ bw’ayogera Mukama. ‘Bawa obunnabbi bwa bulimba mu linnya lyange. Noolwekyo, nzija kubagobera wala muzikirire, mmwe ne bannabbi ababategeeza obunnabbi.’”
16 對司祭和這全體人民我也曾警告說:「上主這樣說:你們的先知們對你們說:看,上主殿宇的器皿,現在快要由巴比送回來了! 你們不要聽信,因為他們對你們預言的只是謊話。
Olwo ne ŋŋamba bakabona n’abantu bano bonna nti, “Kino Mukama ky’agamba nti, Temuwuliriza bannabbi abagamba nti, ‘Amangu ddala ebintu by’omu nnyumba ya Mukama bijja kukomezebwawo okuva mu Babulooni.’ Bababuulira bunnabbi bwa bulimba.
17 你們不要聽信他們,只管服事巴比倫王,就必生存。為什麼要使這城變為荒野﹖
Temubawuliriza. Muweereze kabaka w’e Babulooni, mubeere balamu. Lwaki ekibuga kino kifuuka amatongo?
18 假使他們是先知,真有上主的話,請他們祈求萬軍的上主,使尚留在上主殿宇,猶大王宮和耶路撒冷的器皿,不致運到巴比倫去。
Bwe baba bannabbi nga balina ekigambo kya Mukama, leka bakaabirire Mukama Katonda ow’Eggye nti ebintu eby’omuwendo ebikyasigadde mu nnyumba ya Mukama ne mu lubiri lwa kabaka wa Yuda ne mu Yerusaalemi bireme kutwalibwa Babulooni.
19 因為萬軍的上主這樣論到銅柱、銅海和銅座,以及在這城剩下的殘餘器皿,
Kubanga bw’ati Mukama Katonda ow’Eggye bw’ayogera ku mpagi, n’Ennyanja, okuteekebwa ebintu, n’ebintu ebirala ebisigadde mu kibuga kino,
20 即巴比倫王拿步高把猶大王約雅金的兒子耶苛尼雅,及猶大和耶路撒冷所有的貴族,從耶路撒冷擄到巴比倫時,沒有帶走的器皿,
kabaka Nebukadduneeza ow’e Babulooni by’ataatwala lwe yatwala Yekoyakini mutabani wa Yekoyakimu kabaka wa Yuda n’abakungu bonna aba Yuda ne Yerusaalemi.
21 萬軍的上主,以色列的天主論到這些尚存在上主殿宇、猶大王宮和耶路撒冷的器皿,這樣說:
Bw’atyo bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri ku bikwata ku bibya ebyasigala mu nnyumba ya Mukama ne mu lubiri olwa kabaka wa Yuda ne mu Yerusaalemi nti,
22 都要運到巴比倫去,留在那裏,直到我再來眷顧的一天──上主的斷語──那時,我必再取回來,放在原處。」
‘Biritwalibwa mu Babulooni eyo gye birisigala okutuusa ku lunaku lwe ndibikima, olwo ndibikomyawo mbizze mu kifo kino,’” bw’ayogera Mukama.

< 耶利米書 27 >