< 以賽亞書 55 >

1 啊!凡口渴的,請到水泉來!那沒有錢的,也請來罷!請來買不花錢,不索值的酒和奶吃!
“Kale mujje, mmwe mwenna abalumwa ennyonta, mujje eri amazzi. Mujje mmwe abatalina ssente zigula, mujje muweebwe bye mwagala, envinnyo oba amata ebitali bya kugula ebitaliiko miwendo gya kusasula.
2 你們為什麼為那些不能充食的東西花錢,為那些不足果腹的東西浪費薪金呢﹖你們若細心聽我,你們就能吃豐美的食物,你們的心靈必因脂膏而喜悅。
Lwaki musaasaanya ensimbi zammwe ku ebyo ebitali bya kulya muteganira ebyo ebitakkusa? Mumpulirize, mumpulirize n’obwegendereza mulye ebyo ebirungi, emmeeme yammwe eneesanyuka nnyo.
3 你們如側耳,走近我前來聽,你們必將獲得生命;我要與你們訂立一項永久的盟約,即誓許於達味的慈惠。
Mumpulirize mujje gye ndi. Muwulirize mubeere balamu; nnaabakolera endagaano ey’olubeerera, era egyo gy’emikisa gyange n’okwagala bye nasuubiza Dawudi.
4 看,我立了你為萬民的證人,為列國的領袖與主宰。
Laba namufuula omujulirwa eri abantu, omukulembeze era omugabe w’abantu.
5 看哪!你要召見你不認識的民族,不曾認識你的民族也要奔向你;這都是為了上主你的天主,為了那光榮了你的以色列的聖者的緣故。
Laba oliyita amawanga g’otomanyi, era amawanga g’otomanyi galyanguwa okujja gy’oli. Kiribaawo olw’obuyinza bwa Mukama Katonda wo era Omutukuvu wa Isirayiri kubanga akugulumizza.”
6 趁上主可找到的時候,你們應尋找他;趁他在近處的時候,你們應呼求他。
Munoonye Mukama nga bw’akyayinzika okulabika, mumukaabirire nga bw’akyali okumpi.
7 罪人應離開自己的行徑,惡人該拋棄自己的思念,來歸附上主,好讓上主憐憫他;來歸附我們的天主,因為他是富於仁慈的。
Omubi aleke ekkubo lye, n’atali mutuukirivu aleke ebirowoozo bye. Leka adde eri Mukama naye anaamusaasira, adde eri Katonda waffe kubanga anaamusonyiyira ddala.
8 因為我的思念不是你們的思念,你們的行徑也不是我的行徑:上主的斷語。
“Kubanga ebirowoozo byange si birowoozo byammwe era n’amakubo gammwe si ge makubo gange,” bw’ayogera Mukama.
9 就如天離地有多高,我的行徑離你們的行徑,我的思念離你們的思念也有多高。
“Ng’eggulu bwe liri waggulu okukira n’ensi, bwe gatyo amakubo gange bwe gali ewala ennyo n’amakubo gammwe, n’ebirowoozo byange bwe biri eri ebirowoozo byammwe.
10 譬如雨和雪從天降下,不再返回原處,只有灌溉田地,使之生長萌芽,償還播種者種子,供給吃飯者食糧;
Era ng’enkuba bwetonnya n’omuzira ne gugwa okuva mu ggulu n’ebitaddayo, wabula ne bifukirira ettaka, ebirime ne bikula, ne bimerusa ensigo z’omusizi, era ne biwa omuli emmere,
11 同樣,從我口中發出的言語,不能空空地回到我這裏來;反之,它必實行我的旨意,完成我派遣它的使命。
bwe kityo ekigambo kyange ekiva mu kamwa kange bwe kiri; tekiriddayo bwereere, naye kirikola ekyo kye njagala era kirituukiriza ekyo kye nakituma.
12 的確,你們必要喜歡地出來,平安地為上主所引導,高山丘陵必在你們面前高呼歡騰,田間所有的樹木必要鼓掌。
Kubanga mulifuluma n’essanyu ne mugenda mirembe, ensozi n’obusozi nabyo ne bitandika okuyimba nga bibalabye, n’emiti gyonna ne gitendereza n’essanyu.
13 松柏要長起來代替荊棘,桃金娘要生出來代替苧麻:這將為上主留名,作為一座不能磨滅的永久紀念碑。
Mu kifo ky’omweramannyo mulimeramu olusambya, ne mu kifo ky’omutovu mulimeramu omumwanyi. Era kino kiribaawo erinnya lya Mukama limanyibwe era ako ke kaliba akabonero akataliggwaawo ak’emirembe n’emirembe.”

< 以賽亞書 55 >