< 以賽亞書 40 >

1 「你們安慰,安慰我的百姓罷!」你們的天主說。
Mugumye, mugumye abantu bange, bw’ayogera Katonda wammwe.
2 你們應向耶路撒冷說寬心的話,並向她宣告:她的苦役已滿期,她的罪債已清償,因為她為了自己的一切罪過,已由上主手中承受了雙倍的懲罰。
Muzzeemu Yerusaalemi amaanyi mumubuulire nti, entalo ze ziweddewo, n’obutali butuukirivu bwe busasuliddwa. Era Mukama amusasudde emirundi ebiri olw’ebibi bye byonna.
3 有一個呼聲喊說:「你們要在曠野中預備上主的道路,在荒原中為我們的天主修平一條大路!
Eddoboozi ly’oyo ayogera liwulikika ng’agamba nti, “Muteeketeeke ekkubo lya Mukama mu ddungu, mutereeze oluguudo lwe mu ddungu.
4 一切深谷要填滿,一切山陵要產平,隆起的要削為平地,崎嶇的要闢成坦途!
Buli kiwonvu kirigulumizibwa, na buli lusozi n’akasozi ne bikkakkanyizibwa. N’obukyamu buligololwa, ebifo ebitali bisende ne bitereezebwa.
5 上主的光榮要顯示出來,凡有血肉的都會看見:這是上主親口說的。」
Ekitiibwa kya Mukama kiribikkulwa, ne bonna abalina omubiri balikirabira wamu, kubanga akamwa ka Mukama ke kakyogedde.”
6 有個聲音說:「呼喊罷!」我答說:「我呼喊什麼﹖」「凡有血肉的都似草,他的美麗似田野的花;
Ne mpulira eddoboozi nga ligamba nti, “Yogera mu ddoboozi ery’omwanguka.” Ne ŋŋamba nti, “Nnaayogera ki?” Ne linziramu nti, gamba nti, “Abantu bonna bali nga muddo, n’obulungi bwabwe bumala ennaku ntono ng’ebimuli eby’omu nnimiro.
7 上主的風吹來,草必枯萎,花必凋謝。【的確,人民好像草。】
Omuddo guwotoka, ekimuli kiyongobera, omukka gwa Mukama bwe gugufuuwako. Mazima abantu muddo.
8 草能枯萎,花能凋謝,但我們天主的話永遠常存。」
Omuddo guwotoka, ekimuli kiyongobera, naye ekigambo kya Katonda waffe kibeerera emirembe gyonna.”
9 給熙雍傳喜訊的啊!請登上高山!給耶路撒冷報喜訊的啊!請大聲疾呼! 高呼罷!不要畏懼!向猶大各城報告說:你們的天主來了!
Ggwe abuulira Sayuuni ebigambo ebirungi, werinnyire ku lusozi oluwanvu; ggwe abuulira Yerusaalemi ebigambo ebirungi, yimusa eddoboozi lyo n’amaanyi, liyimuse oyogere, totya. Gamba ebibuga bya Yuda nti, “Laba Katonda wammwe ajja!”
10 吾主上主帶著威能來到,他的手臂獲得了勝利;他的勝利品與他同在,他獲得的酬勞在他面前。
Laba, Mukama Katonda ajja n’amaanyi mangi era afuga n’omukono gwe ogw’amaanyi ag’ekitalo. Laba empeera ye eri mu mukono gwe, buli muntu afune nga bw’akoze.
11 他必如牧人,牧放自己的羊群,以自己的手臂集合小羊,把牠們抱在自己的懷中,溫良地領導哺乳的母羊。
Aliisa ekisibo kye ng’omusumba, akuŋŋaanya abaana b’endiga mu mukono gwe n’abasitula mu kifuba kye, n’akulembera mpola mpola ezibayonsa.
12 誰曾用手心量過海水,用手掌測量過天,用升斗量過地上的塵土,用天秤稱過高山,用戥子撐過丘陵呢﹖
Ani eyali ageze amazzi g’ennyanja mu kibatu kye, n’apima eggulu n’oluta, n’apima enfuufu y’oku nsi mu kibbo, oba n’apima ensozi ku minzaani, n’obusozi ku kipima?
13 誰曾指揮過上主的心靈;或做過他的參謀,教導過他呢﹖
Ani eyali aluŋŋamizza Omwoyo wa Mukama? Ani ayinza okumuyigiriza n’amuwa amagezi?
14 他曾向誰請教過,請他教導自己,指導自己正路,教授自己智識,指示明智的行徑呢﹖
Ani gwe yali yeebuuzizzako amuwe ku magezi, era ani eyali amuyigirizza ekkubo ettuufu? Ani eyali amusomesezza eby’amagezi n’amulaga okuyiga, n’okumanya n’okutegeera?
15 看哪!萬民像桶中的一滴水,如天秤上的一粒沙;看,島嶼重如一粒灰塵。
Laba amawanga gali ng’ettondo eriri mu nsuwa, era ng’enfuufu ekutte ku minzaani, apima ebizinga ng’apima olufuufu ku minzaani.
16 黎巴嫩不夠當柴燒,其中的野獸不足作燔祭。
N’ensolo zonna ez’omu kibira kya Lebanooni tezimala kubeera kiweebwayo eri Katonda waffe, n’emiti gyamu gyonna mitono nnyo tegisobola kuvaamu nku zimala.
17 萬民在他面前好像烏有,在他看來只是空虛淨無。
Amawanga gonna ag’omu nsi gabalibwa mu maaso ge, gy’ali gabalibwa nga si kintu n’akamu.
18 你們要把天主同誰相比擬呢﹖你們把他與什麼相對照呢﹖
Kale ani gwe mulifaananya Katonda? Oba kifaananyi ki kye mulimugeraageranyizaako?
19 與偶像嗎﹖偶像是工匠鑄造,金匠再包上金子,然後再鑄銀鍊圍起來。
Ekifaananyi ekyole omukozi akifumba, n’omuweesi wa zaabu n’akibikkako zaabu, n’akibikkako n’emikuufu egya ffeeza.
20 精於選料的人,在選擇一塊不朽的木頭,再尋找一位精明的工匠,將鑄像立定,不致倒下。
Oyo omwavu atasobola kufuna ffeeza oba zaabu afuna omuti omugumu ogutavunda ne yenoonyeza omukozi omugezigezi okusimba n’okunyweza ekifaananyi ekyole.
21 難道你們不知道﹖難道你們沒有聽說﹖難道從起初沒有人告訴過你們﹖難道由大地肇基以來你們沒有細察過嗎﹖
Temunnamanya, temunnawulira, temubuulirwanga okuva ku kutondebwa kw’ensi?
22 他坐在大地的穹窿之上,地上的居民有如蝗蟲一般。他展開天幕有如帷幔,伸開天空有如居住的蓬帳。
Katonda atuula ku nsi enneekulungirivu, era gy’ali abantu bali ng’amayanzi. Atimba eggulu ng’olutimbe era alibamba ng’eweema ey’okubeeramu.
23 他使王侯化為烏有,叫地上的士紳成為虛無。
Afuula abafuzi obutaba kintu, afuula n’abalamuzi mu nsi okuba ekitaliimu.
24 他們剛被栽上,剛被種植,剛在土中扎根,他向他們一噓氣,他們一噓氣,他們便立即枯萎,暴風捲枯湝似的將他們捲走。「
Bali ng’ebisimbe ebyakamera biba bya kasimbibwa, biba byakasigibwa, biba byakaleeta emirandira, nga abifuuwa nga biwotoka, ng’embuyaga ebitwalira ddala ng’ebisasiro.
25 你們把我同誰比擬呢﹖要我與誰相似呢﹖」聖者如此說。
“Kale mulinfaananya ani, ani gwe mulinnenkanya?” bw’ayogera Omutukuvu.
26 你們舉目向上,看看是誰造了這些呢﹖是他按照數目展開了他的萬軍,按照次序一一點名,在這強有力和威能者前,沒有一個敢缺席的。
Muyimuse amaaso gammwe mulabe ebiri ku ggulu. Ani eyatonda ebyo byonna? Oyo afulumya ebyaka eby’omu bbanga afulumya kina kimu, byonna nga bwe biri, n’abiyita amannya gaabyo. Olw’obukulu bw’obuyinza bwe era kubanga wa maanyi ga nsusso, tewali na kimu kibulako.
27 雅各伯!你為什麼說﹖以色列!你為什麼講:「上主看不見我的命運!天主忽略了我的案件!」
Lwaki ogamba ggwe Yakobo era ne wemulugunya ggwe Isirayiri nti, “Mukama tamanyi mitawaana gye mpitamu, era tafaayo nga tuggyibwako eddembe lyaffe ery’obwebange”?
28 難道你不知道,或者沒有聽說:上主是永生的天主,是創造地極之主嗎﹖他縱不疲倦,決不困乏,他的智慧高深莫測。
Tonnamanya? Tonnawulira? Mukama, ye Katonda ataliggwaawo. Omutonzi w’enkomerero y’ensi. Tazirika so takoowa era n’amagezi ge tewali n’omu ayinza kugapima.
29 他賜給疲倦者力量,賜給無力者勇氣。
Awa amaanyi abazirika, n’oyo atalina buyinza amwongerako amaanyi.
30 少年人能疲倦困乏,青年人能失足跌倒;
Abavubuka bazirika, bakoowa, n’abalenzi bagwira ddala.
31 然而仰望上主的,必獲得新力量,必能振翼高飛有如兀鷹,疾馳而不困乏,奔走而不疲倦。
Naye abo abalindirira Mukama baliddamu buggya amaanyi gaabwe, balitumbiira n’ebiwaawaatiro ng’empungu; balidduka mbiro ne batakoowa, balitambula naye ne batazirika.

< 以賽亞書 40 >