< 以賽亞書 37 >

1 希則克雅王一聽這話,就撕破了自己的衣服,穿上苦衣,走進了上主的殿;
Awo kabaka Keezeekiya bwe yabiwulira n’ayuza engoye ze n’ayambala ebibukutu n’ayingira mu nnyumba ya Mukama.
2 然後打發厄里雅金家宰、舍布納書記和幾位老司祭,穿著苦衣,去見阿摩茲的兒子依撒意亞先知,
N’atuma Eriyakimu eyali akulira olubiri ne Sebuna omuwandiisi ne bakabona abakulu, nga bambadde ebibukutu, eri nnabbi Isaaya mutabani wa Amozi.
3 對他說:「希則克雅這樣說:今天是受困難、受責罰,受凌辱的日子!因為嬰兒到了要出生的時候,卻沒有產生的力量。
Ne bamugamba nti, “Keezeekiya atutumye okukugamba nti, Olunaku luno lunaku lwa kulabiramu nnaku era lwa kuvumirwamu era lwa kujoogebwa; kubanga abaana batuuse okuzaalibwa naye nga tewali maanyi ga kubazaala.
4 但願上主你的天主聽見了那大將軍的話--即他的主子亞述王派他來辱罵永生的天主所說的話--願上主你的天主聽了那些話而加以懲罰。請你為剩下的人民祈禱罷!」
Oboolyawo Mukama Katonda wo anaawulira ebigambo bya Labusake eyatumibwa kabaka w’e Bwasuli mukama we okuvuma Katonda omulamu, Mukama Katonda wo n’amunenya olw’ebigambo by’awulidde: Kale waayo okusaba kwo wegayiririre ekitundu ekikyasigaddewo.”
5 希則克雅王的臣僕來到了依撒意亞前,
Abaddu ba kabaka Keezeekiya bwe bajja eri Isaaya,
6 依撒意亞對他們說:「你們要這樣對你們的主上說:上主這樣說:你聽到亞述王的僕人辱罵我的話,不要害怕!
Isaaya n’abagamba nti, “Mutegeeze mukama wammwe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Ebigambo by’owulidde abaddu ba kabaka w’e Bwasuli bye banvumye, tebikutiisa.
7 看,我必叫他感到一種怕情,使他一聽到某種消息,就返回本國;我要使他在本國內喪身刀下。」
Laba ndimusindikira omwoyo omubi, awulire olugambo addeyo mu nsi ye. Era eyo gye ndimuzikiririza afe ekitala.’”
8 大將軍回去時,正遇見亞述王去攻打里貝納,原來他已聽說君王離開了拉基士。
Awo Labusake omuduumizi wa Bwasuli bwe yaddayo, n’asanga kabaka w’e ng’alwana ne Libuna: kubanga yawulira nti avudde e Lakisi.
9 那時散乃黑黎布聽人說:雇士王提爾哈卡出來攻打他,就再派使者去見希則克雅,並吩咐說:「
Ate era kabaka Sennakeribu n’afuna obubaka nti Tiraaka kabaka w’e Kuusi azze okumulwanyisa. Bwe yakiwulira n’asindika ababaka eri Keezeekiya n’obubaka buno nti,
10 你們要這樣對猶大王希則克雅說:不要讓你所依賴的天主哄騙你說:耶路撒冷決不會落在亞述王手中!
“Keezeekiya kabaka wa Yuda mumugambe nti, Katonda wo gwe weesiga takulimbanga ng’ayogera nti, ‘Yerusaalemi tekirigabulwa mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli.’
11 看,你聽說過亞述的列王對各國所行的,將各國完全消滅了,你還能有救嗎﹖
Laba wawulira bakabaka b’e Bwasuli kye baakola amawanga gonna, ne bagazikiririza ddala. Mwe munaawona?
12 我祖先消滅的所有民族如:哥倉、哈郎、勒責夫,以及在特拉撒爾的厄登子民,他們的神何嘗救了他們﹖
Amawanga bakitange ge baasaanyaawo, Gozani, ne Kalani, ne Lezefu n’abantu ba Adeni abaabanga mu Terasali, bakatonda baago, baabayamba?
13 哈瑪特王、阿帕得王、色法瓦因城的王、赫納王和依瓦王,他們現今都在那裏﹖」
Ali ludda wa kabaka w’e Kamasi ne kabaka w’e Alupadi ne kabaka w’ekibuga Sefarayimu oba ow’e Keena, oba ow’e Yiva?”
14 希則克雅從使者手中接過信來,讀了以後,就走進上主的殿;將那信在上主面前展開,
Keezeekiya n’aggya ebbaluwa mu mukono gw’ababaka n’agisoma: Keezeekiya n’ayambuka mu nnyumba ya Mukama n’agyanjuluza mu maaso ga Mukama.
15 然後希則克雅懇求上主說:「
N’asaba ne yeegayirira Mukama nga agamba nti,
16 萬軍的上主,坐在革魯賓上面的以色列的天主,唯獨你是地上萬國的天主,你創造了天地。
“Ayi Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri, atuula wakati mu bakerubbi, ggwe Katonda wekka afuga obwakabaka bwonna obw’omu nsi, ggwe wakola eggulu n’ensi.
17 上主,請你側耳傾聽! 上主,求你睜眼垂視!細聽那打發使者辱罵永生天主的散乃黑黎布的一切話 !
Otege okutu kwo Ayi Mukama owulire, ozibule amaaso go, Ayi Mukama, olabe: owulire ebigambo byonna ebya Sennakeribu by’aweerezza okuvuma Katonda omulamu.
18 上主,的確,亞述的列王曾毀滅了所有的民族和他們的土地,
“Mazima ddala Mukama, bakabaka b’e Bwasuli baazisa amawanga gonna n’ensi zaago,
19 將他們的神像投入火中,因為它們不是神,只是人手造成的木石的作品,所以能被消滅。
ne basuula bakatonda baabwe mu muliro: kubanga tebaali bakatonda, naye mulimu gwa ngalo z’abantu, miti na mayinja; kyebaava babazikiriza.
20 但是現今,上主,我們的天主,求你拯救我們脫離他的手,好使世上萬國都知道:惟獨你是上主天主。」
Kale nno, ayi Mukama Katonda waffe, tulokole mu mukono gwa Sennakeribu, obwakabaka bwonna obw’ensi butegeere nga ggwe wekka ggwe Mukama.”
21 那時,阿摩茲的兒子依撒意亞打發人去見希則克雅說:「上主以色列的天主這樣說:你既然為了亞述王散乃黑黎布而向我懇求,我已經俯聽了你。
Awo Isaaya mutabani wa Amozi n’atumira Keezeekiya ng’ayogera nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri nti, Kubanga onneegayiridde ku bya Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli,
22 這就是上主論他所說的話:熙雍貞女輕視你,嘲笑你;耶路撒冷少女在你背後搖頭!
kino kye kigambo kye mmwogeddeko: “‘Omuwala wa Sayuuni embeerera akunyooma era akusekerera. Omuwala wa Yerusaalemi akunyeenyeza omutwe gwe nga bw’odduka.
23 你辱罵詛咒的是誰﹖你提高聲音,仰起眼睛攻擊的是誰﹖是攻擊以色列的聖者。
Ani gw’ovumye gw’ovodde? Era ani gw’oyimuyisirizzaako eddoboozi lyo n’okanulira n’amaaso? Omutukuvu wa Isirayiri!
24 你藉你的僕人辱罵了吾主,你說:我用我的大批車輛,登上了叢山的極峰,到黎巴嫩的山頂,砍伐了其中 最高的香柏,最好的青松;我衝入了人跡罕到之處,走進了果木的林園。
Okozesezza abaddu bo okuvuma Mukama n’oyogera nti, Nyambuse n’amagaali gange amangi ku ntikko y’olusozi, ntuuse ku njuyi ez’omunda eza Lebanooni; era ntemedde ddala emivule gyakwo emiwanvu, n’enfugo zaakwo ezisinga obulungi, era natuuka ne ku lusozi lwakwo olukomererayo, ekibira kyayo ekisinga obunene.
25 我掘了井,喝了外邦的水,用我的腳掌踏乾了埃及所有的河川。
Waduula nti wasima enzizi era n’onywa n’amazzi mu mawanga era nti ebigere by’abajaasi bo byakaliza amazzi g’omugga Kiyira mu Misiri.’
26 難道你沒有聽見:很久以前我所計劃的,昔日我所決定的,現在我就實現,叫你毀壞堅城,化為廢墟,
“Tewawulira nga nakisalawo dda? Nakiteekateeka dda. Mu biro eby’edda nakiteekateeka; era kaakano nkituukirizza, olyoke ofuule ebibuga ebiriko bbugwe okuba ng’entuumo y’amayinja.
27 使城中的居民軟弱無力,驚惶失措,有如田野的青草,有如青綠的嫩苗,有如屋頂上被東風吹焦的小草。
Abantu baamu kyebaavanga baggwaamu amaanyi, ne baterebuka ne bakeŋŋentererwa ne baba ng’essubi mu nnimiro, ng’omuddo omuto, ng’omuddo ogumera ku nnyumba ogwokebwa ne gufa nga tegunnakula.
28 你或起或坐,或出或入,以及對我的癲狂,我都知道。
“Naye mmanyi obutuuliro bwo era mmanyi okufuluma kwo n’okuyingira kwo n’obuswandi bw’ondaga.
29 因為你對我的暴怒,和你的狂囂,已達到我的耳鼓,所以我要把環子穿在你的鼻子上,把轡頭套在你的嘴上,由你來的路上將你牽回去。
Kubanga oneereegeddeko, okwepanka kw’okoze nkutuuseeko. Era kaakano ntuuse okuteeka eddobo mu nnyindo zo, n’oluuma ndufumite mu mimwa gyo, nkuzzeeyo ng’opaala mu kkubo lye wajjiramu.”
30 這是給你的記號:今年你要吃自然所生的,明年你仍要吃自然所生的,第三年你們要播種收穫,栽種葡萄園,吃園中的果實。
Awo Isaaya n’agamba Keezeekiya nti, “Kano ke kabonero akanaakuweebwa: Omwaka guno mugenda kulya eŋŋaano eyeemeza yokka. Eno gye muliryako n’omwaka ogwokubiri. Mu mwaka ogwokusatu mulirya ku birime byammwe bye musize era ne mukungula mu nnimiro zammwe ez’emizabbibu.
31 猶大家所剩餘的人,仍要向下生根,往上結實。
Abantu ba Yuda abalifikkawo baliba ng’ebisimbe emirandira gyabyo nga gikka wansi ate nga bigimuka ne bibala.
32 因為剩餘的人將由耶路撒冷而出,逃脫的人將從熙雍山而來:萬軍上主的熱誠必要成就這事。
Mu Yerusaalemi walibaawo abalisigalawo ne ku Lusozi Sayuuni walibeerawo abaliwona, kubanga Mukama Ayinzabyonna mu bumalirivu bwe, yeewaddeyo okukikola.
33 為此,上主論亞述王這樣說:他決不會進入這城,決不會向這城放射一箭,決不會持著盾牌,走近城下,造起土堆攻城。
“Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama ku bikwata ku Kabaka w’e Bwasuli nti, “Kabaka oyo taliyingira mu kibuga kino wadde okulasayo akasaale. Talikisemberera n’engabo newaakubadde okutuumako ekifunvu ng’akitaayiza.
34 他必要由來路回去,決不能進入這城:上主的斷語。
Ekkubo lye yajjiramu lye limu ly’anaakwata okuddayo. Tajja kuyingira mu kibuga kino,” bw’ayogera Mukama.
35 為了我自己,為了我的僕人達味,我必要保護拯救這城。」
“Ndirwanirira ekibuga kino nkirokole.”
36 於是上主的使者出來,在亞述的營裏殺了十八萬五千人。清晨人們起來,見遍地是死屍。
Awo malayika wa Mukama n’afuluma n’atta mu lusiisira olw’Abasuli abantu emitwalo kkumi na munaana mu enkumi ttaano. Abaasigalawo bagenda okuzuukuka enkya nga wonna wajjudde mirambo.
37 亞述王散乃黑黎布於是拔營,班師回國,住在尼尼微。
Awo Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli n’avaayo n’addayo n’abeera e Nineeve.
38 當他在自己的神尼色洛客廟裏叩拜的時候,他的兒子阿德辣默肋客和沙勒責爾用劍刺殺了他,然後逃到阿辣辣特地方去了。他的兒子厄撒哈冬繼他為王。
Lumu bwe yali ng’asinziza mu ssabo lya Nisuloki katonda we, Adulammereki, ne Salezeri batabani be ne bamusalira olukwe ne bamutta: ne baddukira mu nsi ya Alalati. Esaludooni mutabani we n’amusikira.

< 以賽亞書 37 >