< 以賽亞書 22 >

1 有關「神視谷」的神諭:你究竟為了什麼上了屋頂﹖
Obunnabbi obukwata ku Kiwonvu ky’Okwolesebwa: Kiki ekikutawanya kaakano, n’okulinnya n’olinnya waggulu ku busolya,
2 你這座充滿喧嘩嘈雜的城市,享樂的都會!你的被殺者並不是被殺於刀劍,也不是死於戰場。
ggwe ekibuga ekijjudde oluyoogaano, ggwe ekibuga eky’amasanyu era eky’ebinyumu? Abantu bo abattibwa, tebaafa kitala newaakubadde okufiira mu lutalo.
3 你所有的官長都結伴逃遁,竄逃遠方;你所有的將士也都集體被俘,棄弓就縛。
Abakulembeze bo bonna baddukidde wamu; bawambiddwa awatali kulwana. Bonna baakwatibwa ne batwalibwa wamu nga basibe, kubanga badduka.
4 為此我說:「你們不要管我,讓我痛哭一場罷!也不要為了我民族的女兒的零落,有勞你們來安慰我!」
Kyenava njogera nti, “Munveeko, mundeke nkaabire ddala nnyo. Temugezaako kunsaasira olw’okuzikirizibwa kw’omuwala w’abantu bange.”
5 因為這是一個混亂、蹂躪、惶惑的日子,是屬於吾主萬軍的上主的日子;在「神視谷」內,城牆倒塌,喊聲震撼山岳。
Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye alina olunaku olw’akatabanguko, olw’okulinyirirwa n’entiisa mu Kiwonvu ky’Okwolesebwa; olunaku olw’okumenya bbugwe, n’okukaabirira ensozi.
6 厄藍取了箭囊,阿蘭騎上了戰馬,克爾亮出了盾牌。
Eramu ayambalidde omufuko gw’obusaale, n’atwala n’abavuzi b’amagaali ge n’embalaasi, Kiri asabuukulula engabo.
7 你最富麗的山谷充滿了戰車,騎兵已在門前佈好陣勢。
Ebiwonvu byo ebisinga obulungi bijjudde amagaali, n’abeebagala embalaasi bassibbwa ku wankaaki.
8 猶大的屏障已被揭開。那天你們只仰望林宮內的武器,
Okwerinda kwa Yuda kuggyiddwawo. Ku lunaku olwo watunuulira ebyokulwanyisa eby’omu Lubiri olw’Ekibira.
9 只看見了達味城上的許多裂縫,聚集了下池塘的蓄水,
Walaba amabanga agaali mu kwerinda kw’Ekibuga kya Dawudi, wakuŋŋaanya amazzi mu Kidiba eky’Emmanga.
10 計算了耶路撒冷的房屋,拆毀了民房來鞏固城牆,
Wabala ebizimbe mu Yerusaalemi n’omenya amayumba okusobola okunyweza bbugwe.
11 在兩城牆之間,又鑿了個蓄水池,來貯藏池塘的水;卻沒有仰望這事的主事者,也沒有回顧那老早計劃了這事。
Wasima ekidiba omuterekebwa amazzi wakati w’ebisenge ebibiri, n’okuŋŋaanya ag’ekidiba ekikadde, naye tewatunuulira Oyo eyakisima, wadde okussaamu ekitiibwa Oyo eyakiteekateeka mu biro eby’edda.
12 那天,吾主萬軍的上主本來叫人哭泣、哀號、削髮、腰束苦衣;
Ku lunaku olwo Mukama Katonda ow’Eggye yalangirira okukaaba n’okukuba ebiwoobe, n’okwemwako enviiri n’okwambala ebibukutu.
13 但是,看,仍是歡躍喜樂,宰牛殺羊,飲酒食肉:「吃喝罷!明天我們就要死啦!」
Naye laba, ssanyu na kujaguza, okubaaga ente n’okutta endiga, okulya ennyama n’okunywa envinnyo. Mwogere nti, “Leka tulye, era tunywe kubanga enkya tunaafa.”
14 萬軍的上主親自附耳傳示給我說:「決不赦免你們這罪惡,除非你們死去。」吾主萬軍的上主這樣說。
Mukama ow’Eggye akimbikulidde n’aŋŋamba nti, “Ekibi kino tekirisonyiyibwa wadde okuggyibwawo okutuusa lw’olifa,” bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.
15 有關宮殿總管舍布納的神諭:吾主萬軍的上主這樣說:去!到那個在高處給自己鑿墳墓,
Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti, “Genda eri omuwanika oyo, eri Sabuna avunaanyizibwa olubiri omugambe nti,
16 在巖石間給自己闢寢室的家宰那裏去,對他說:「你在這裏有什麼東西﹖你在這裏有什麼人,竟在這裏為你鑿墳墓﹖
Okola ki wano era ani yakuwadde olukusa okwetemera entaana wano, n’otema n’amaanyi entaana yo waggulu mu lwazi, ne weerongoosereza eyo ekifo eky’okuwummuliramu?
17 看哪!上主要大力一擲,把你擲得遠遠的;他要抓緊你,
“Weegendereze Mukama Katonda anaatera okukuvumbagira, akuggyewo ggwe omusajja ow’amaanyi.
18 將你捲了又捲,捲成一團,如一圓球,拋擲到廣闊之地。你要死在那裏,連你的彩車也要毀滅,你這個王宮的恥辱!
Alikuzingazingako, n’akukanyuga mu nsi engazi, nga bwe yandikanyuze omupiira ogusambwa. Eyo gy’olifiira, era eyo amagaali go ag’ekitiibwa gye galisigala, ggwe ensonyi ez’ennyumba ya Mukama wo.
19 我要革你的職,撤你的位。
Ndikuggya ku ntebe yo, era oliggyibwa mu kifo kyo.
20 到那天,我要召希耳克雅的兒子厄里雅金作我的僕人。
“Mu biro ebyo nditumya omuweereza wange Eriyakimu mutabani wa Kirukiya.
21 我要把你的朝衣給他穿上,把你的玉帶給他束上,將你的治權交在他手中;他將作耶路撒冷居民和猶大家室的慈父。
Ndimwambaza ekyambalo kyo, ne munyweza n’olukoba lwo, ne mukwasa obuyinza bwo. Aliba kitaawe w’abo ababeera mu Yerusaalemi, n’eri ennyumba ya Yuda.
22 我要將達味家室的鑰匙放在他肩上;他開了,沒有人能關;他關了,沒有人能開。
Ndimukwasa ekisumuluzo ky’ennyumba ya Dawudi; bw’aliggulawo tewaliba aggalawo, bw’aliggalawo tewaliba aggulawo.
23 我要堅定他,有如釘在穩固地方的木橛;他將成為他父家榮譽的寶座。
Ndimunyweza mu kifo ng’enkondo ennene, era aliba ntebe ya kitiibwa eri ennyumba ya kitaawe.
24 他父家全部的榮耀、細枝、嫩芽、各種細小的物品,自碗具以至各種壺瓶都懸掛在它上面。
Ekitiibwa ky’ennyumba ye kiribeera ku nnyumba ye, ne ku zadde lye ne ku nda ye yonna, ne ku bintu bye ebinywerwamu, okuva ku bibya okutuuka ku nsumbi.”
25 到那一天--萬軍上主的斷語--釘在穩固地方的木橛必將脫落,破裂,掉下來,上面所掛的重載也要摔得粉碎。因為上主說了。
Bw’ati bw’ayogera Katonda ow’Eggye nti, “Ku lunaku olwo, enkondo ennene eyakomererwa mu kifo n’enywera erisalibwa, n’eneguka, n’egwa, n’omugugu gw’ekutte gulisarwako.” Mukama ayogedde.

< 以賽亞書 22 >