< 何西阿書 5 >

1 司祭,你們你們應信這話! 以色列家,留心細聽! 王室,側耳傾聽! 審判是為你們行的,因為你們的是米茲帕的圈套,是大博爾山上張開的羅網。
Muwulire kino mmwe bakabona! Musseeyo omwoyo, mmwe Isirayiri! Muwulirize, mmwe ennyumba ya Kabaka! Omusango guli ku mmwe: Mubadde kyambika e Mizupa, era ekitimba ekitegeddwa ku Taboli.
2 他們在史廷掘深了陷阱,但是我卻要完全懲治他們。
Abajeemu bamaliridde okutta, naye ndibabonereza bonna.
3 我認識厄弗辣因,因你行了淫,以色列玷污了自己。
Mmanyi byonna ebikwata ku Efulayimu, so ne Isirayiri tankisibwa. Efulayimu weewaddeyo okukuba obwamalaaya, ne Isirayiri yeeyonoonye.
4 他們的行為不能使他們歸向天主,因為邪淫的心神潛伏在他們內,致使他們不認識天主。
Ebikolwa byabwe tebibaganya kudda eri Katonda waabwe, kubanga omwoyo ogw’obwamalaaya guli mu mitima gyabwe, so tebamanyi Mukama.
5 以色列的傲氣呈現他們臉上,厄弗辣因因自己的罪孽而,連猶大也與他們一同跌倒。
Amalala ga Isirayiri gabalumiriza; Abayisirayiri ne Efulayimu balyesittala olw’omusango gwabwe; ne Yuda alyesittalira wamu nabo.
6 縱使他們牽牛帶羊去尋求上主,但仍然尋不著,因為衪早已遠離了他們。
Bwe baligenda n’ebisibo byabwe n’amagana gaabwe okunoonya Mukama, tebalimulaba; abaviiridde, abeeyawuddeko.
7 他們背叛了上主,由此他們生了私生子。看,毀滅者必要併舌他們和他們的基業。
Tebabadde beesigwa eri Mukama; bazadde abaana aboobwenzi. Embaga ez’omwezi ogwakaboneka kyeziriva zibamalawo, n’ennimiro zaabwe ne ziragajjalirwa.
8 你們要在基貝亞吹角,在辣瑪吹號,在貝特阿文 發出驚報,本雅明便要驚惶失措。
Mufuuwe eŋŋombe mu Gibea, n’ekkondeere mu Laama. Muyimuse amaloboozi e Besaveni; mutukulembere mmwe Benyamini.
9 在懲罰之日,厄弗辣因將變成一片荒涼;對以色列各支派,我要宣告一件實有的事
Efulayimu alifuuka matongo ku lunaku olw’okubonerezebwa. Nnangirira ebiribaawo mu bika bya Isirayiri.
10 猶大的首領行事好像是挪移地界的人,所以我要在他們身上發洩卜憤怒,有如倒水一樣。
Abakulembeze ba Yuda bali ng’abo abajjulula ensalo, era ndibafukako obusungu bwange ng’omujjuzo gw’amazzi.
11 厄弗辣因強硬蠻橫,破壞了正義,因為他樂意隨跟送」虛無」。
Efulayimu anyigirizibwa, era omusango gumumezze, kubanga yamalirira okugoberera bakatonda abalala.
12 由此我對厄弗辣因將像是一個蠹魚,對猶大家將像是一個蛀蟲。 1的創傷
Kyenvudde nfuuka ng’ennyenje eri Efulayimu, n’eri ennyumba ya Yuda n’emba ng’ekintu ekivundu.
13 厄弗辣因發現了自己的疾病,猶大看見了自己的創傷,厄弗辣因便去了亞述,猶大遣使往謁大王;可是他不能醫治你們,也不能治愈你們身上的創傷。
“Efulayimu bwe yalaba obulwadde bwe, ne Yuda n’alaba ekivundu kye, Efulayimu n’addukira mu Bwasuli, n’atumya obuyambi okuva eri kabaka waayo omukulu. Naye tasobola kubawonya newaakubadde okubajjanjaba ebiwundu byabwe.
14 因為我對厄弗辣因要像是一隻獅子,對猶大家要像是一隻壯獅;的確,我必撕碎,然後退去;我要 把掠物帶走,誰也不能挽救。
Kyendiva mbeera ng’empologoma eri Efulayimu, era ng’empologoma ey’amaanyi eri ennyumba ya Yuda. Ndibataagulataagula ne ŋŋenda; ndibeetikka ne mbatwala, ne babulwako ayinza okubawonya.
15 我要去,要回到我的原處,直到他們受了罰,而我的的聖容為止。在他們遇到困難時,他們必要我:
Ndiddayo mu kifo kyange, okutuusa lwe balikkiriza omusango gwabwe. Balinnoonya, mu buyinike bwabwe, balinnoonya n’omutima gwabwe gwonna.”

< 何西阿書 5 >