< 以斯帖記 2 >
1 這些事以後,薛西斯王的盛怒遂平息了,不再回念瓦市提和她所作的事,也不再追究對她所決定的事。
Oluvannyuma, obusungu bwa Kabaka Akaswero bwe bwakkakkana, yasigala ng’alowooza ku Vasuti, kye yakola, n’ekyali kisaliddwawo.
2 於是侍奉君王的僕役說:「應為大王另選美貌的年輕處女;
Awo abaddu ba Kabaka ne baleeta ekirowoozo nti, “Banoonyeze Kabaka omuwala ku bawala abato abalungi nga mbeerera.
3 大王可指派委員到全國各省,把所有美貌的年輕處女,都召集到穌撒禁城的後宮來,由管理嬪妃的王家太監赫革負責照應,供給她們美容潤身的香料。
Kabaka alonde ababaka mu buli kitundu mu bwakabaka bwe, bamuleetere abawala abato ababalagavu abalungi mu lubiri lwe e Susani bakuumibwe mu nnyumba y’abakyala. Era Kegayi omulaawe wa Kabaka avunaanyizibwe abawala abo, ng’abawa ne by’okulungiya byonna bye beetaaga.
4 那中悅君王的處女就得代瓦市提為后。」這建議正合了王的心,王就照樣進行。
Awo omuwala anasiimibwa kabaka, ye anafuuka Nnabagereka mu kifo kya Vasuti.” Ekirowoozo ekyo kyasanyusa kabaka, era n’akissa mu nkola.
5 在穌撒禁城內,有一個猶太人,名叫摩爾德開,是雅依爾的兒子,史米的孫子,本雅明族人克士的曾孫,
Mu biro ebyo mu lubiri e Susani, waaliyo Omuyudaaya ow’omu kika kya Benyamini, erinnya lye Moluddekaayi, mutabani wa Yayiri, muzzukulu wa Simeeyi, muzzukulu wa Kiisi,
6 克士是巴比倫王拿步高由耶路撒冷將猶大王耶苛尼雅擄去時,被擄的俘虜之一。
eyawaambibwa Nebukadduneeza, Kabaka we Babulooni n’aleetebwa mu buwaŋŋanguse nga y’omu ku basibe abaasibibwa ne Yekoniya, eyali Kabaka wa Yuda, okuva e Yerusaalemi.
7 摩爾德開撫養了他的堂妹哈達撒,又名叫艾斯德爾,她自幼就喪失父母。這女孩身材標致,容貌美麗,自她父母去世後,摩爾德開就收她作自己的女兒。
Moluddekaayi yalina omuwala omuto erinnya lye Kadasa, gwe yalinako oluganda, eyakulira mu mikono gye, kubanga yali mulekwa nga yafiirwa kitaawe ne nnyina. Erinnya ly’omuwala ono eddala nga ye Eseza, era yali ng’alabika bulungi nnyo.
8 不久,皇帝的諭旨和詔令,傳遍了全國,許多少女都被召到穌撒禁城,受赫革的監護,艾斯德爾也被帶到王宮,交與管理嬪妃的赫革看管。
Awo olwatuuka ekiragiro kya Kabaka bwe kyalangirirwa, abawala bangi, nga ne Eseza mwali ne baleetebwa mu lubiri e Susani ne bakwasibwa Kegayi eyali alabirira abakyala ba Kabaka.
9 她很討赫革喜悅,大得他的寵愛,遂立即供給她美容潤身的物品和所需食品,並選派了七個美麗的宮女服侍她,又將她和她的侍女遷移到後宮最好的宮院裏。
Eseza n’asiimibwa Kegayi, era n’amuwa ebintu eby’okulungiya, n’emmere ey’enjawulo. Era yamuwa n’abazaana musanvu abaalondebwa okuva mu lubiri lwa Kabaka, era n’amuteeka mu kifo ekisinga obulungi awakuumibwa abakyala.
10 但艾斯德爾卻沒有說出她自己的民族和身世,因為摩爾德開早已吩咐她不要提及此事。
Eseza yali tamanyiddwa ggwanga lye, wadde ekika kye, kubanga Moluddekaayi yali amugaanye okulyogera.
11 此後,摩爾德開天天在後宮的庭院前徘徊,好打聽艾斯德爾的消自,想知道她的情形如何。
Buli lunaku Moluddekaayi yalagangako mu luggya lw’ennyumba ya bakyala okumanya ebyafanga ku Eseza.
12 在每個處女輪流去見薛西斯王以前,都該先按嬪妃的規則,度過十二個月的「潤身期」:六個月應用沒藥汁,六個月應用香液,以及女人潤身的修飾品。
Awo oluwalo lwa buli muwala bwe lwatuukanga okugenda eri Kabaka Akaswero, omuwala oyo yalinanga okuba ng’amaze emyezi kkumi n’ebiri egy’okufumbirirwa, ng’era mu bbanga eryo, emyezi omukaaga aba ng’akozesa amafuta ag’omugavu n’emyezi omukaaga omulala nga yeyambisa obuwoowo n’ebintu ebirala ebifumbirira.
13 有了這樣的準備,少女纔可去見君王;凡她所要求的,都應讓她由後宮帶進王宮去。
Bw’atyo omuwala n’alyokanga agenda eri Kabaka. Omuwala bwe yatuukanga okugenda ewa Kabaka yabanga wa ddembe okuweebwa kyonna ky’ayagala okuva mu nnyumba y’abakyala.
14 她晚上進去,次日早晨回到另一座後宮,受君王管理嬪妃的太監沙市加次的監護;除非君王寵愛她,提名召她,她不得再親近君王。
Yagendangayo kawungeezi, ate bwe bwakeeranga, n’addayo mu kifo ekirala era eky’abakyala ekyalabirirwanga Saasugazi, omulaawe wa Kabaka eyakuumanga abakyala ba Kabaka abalala. Era omuwala oyo teyaddanga wa Kabaka wabula ng’amusiimye, era ng’amutumizza.
15 一輪到摩爾德開的叔父阿彼海耳的女兒──即摩爾德開的養女──艾斯德爾去見君王的時候,除了管理嬪妃的王家太監赫革給她預備的東西以外,她什麼也不要;凡看見艾斯德爾的人,沒有不喜愛她的。
Awo oluwalo lwa Eseza omuwala eyakuzibwa Moluddekaayi, ate nga muwala wa Abikayiri, eyalina oluganda ku Moluddekaayi, bwe lwatuuka okugenda eri Kabaka, Eseza talina birala bye yasaba okuggyako ebyo Kegayi, omulaawe wa Kabaka bye yamuwa. Era Eseza n’aganja mu maaso g’abo bonna abaamutunuulira.
16 艾斯德爾在薛西斯為王第七年十月,即「太貝特」月,被召進王宮。
Yatwalibwa eri Kabaka Akaswero mu lubiri lwe mu mwezi ogw’ekkumi, gwe mwezi Tebesi, mu mwaka ogw’omusanvu ogw’okufuga kwe.
17 王愛艾斯德爾超過所有的嬪妃。在所有的處女中,她最得君王的歡心和喜愛。王便將后冠戴在她頭上,立她為王后,以代瓦市提。
Kabaka n’ayagala nnyo Eseza okukira abakyala abalala bonna, era n’aganja mu maaso ge okusinga abawala embeerera bonna. N’amutikkira engule okuba Nnabagereka mu kifo kya Vasuti.
18 於是王給眾文武官員擺設盛宴,一連七天,號為艾斯德爾宴,又給全國各省頒賜大赦,並按照君王的法度敕贈御品。
Awo Kabaka n’akolera Eseza embaga ennene, n’ayita abakungu be wamu n’abaami be, era n’alangirira abantu okusonyiyibwa emisolo mu bitundu byonna, ate n’agaba n’ebirabo nga bwe yayagala.
Olunaku olumu Moluddekaayi bwe yali ng’atudde ku wankaaki w’olubiri lwa Kabaka, abawala ne bakuŋŋaanira eri Kabaka omulundi ogwokubiri.
20 那時艾斯德爾,按著摩爾德開事先給她吩咐了的,還沒有透露自己的身世和種族:凡摩爾德開吩咐的,艾斯德爾必盡力遵守,如同昔日受他撫養時一樣。
Eseza yakuuma ekyama Moluddekaayi kye yali amukuutidde, eky’obutayogera ekika kye newaakubadde eggwanga lye.
21 摩爾德開在御門供職的時候,王的兩個守門太監,彼革堂和特勒士,因一時忿怒,就設計對薛西斯王下毒手。
Awo mu biro ebyo Moluddekaayi ng’atudde ku wankaaki wa Kabaka, abalaawe ba Kabaka babiri, Bigusani ne Teresi, ku abo abaakuumanga omulyango, ne banyiigira Kabaka Akaswero, era ne bateesa okumutemula.
22 但摩爾德開一發覺了那陰謀,就告知艾斯德爾王后,艾斯德爾便以摩爾德開的名義轉告君王。
Naye Moluddekaayi n’agwa mu lukwe olwo, n’ategeezaako Eseza Nnabagereka, eyagenda n’abuulira Kabaka nga Moluddekaayi bwe yamutegeeza.
23 那陰謀經過調查證實以後,就將他們二人懸在木架上,處以極刑。此事的原委,當著君王的面記錄在年鑑內。
Awo ekigambo ekyo bwe baakyekenneenya, ne kirabika nga kituufu, abasajja abo bombi ne bawanikibwa ku kalabba. Awo ebigambo bino byonna ne biwandiikibwa mu kitabo eky’ebyafaayo ebya buli lunaku mu maaso ga Kabaka.