< 申命記 9 >

1 以色列,請聽! 你今天就要過約但河,去征服比你強大的民族,廣大的城邑和高可摩天的要塞。
Wulira, Ayi Isirayiri. Osemberedde olunaku lw’ojja okusomokerako omugga Yoludaani, oyingire mu nsi omuli amawanga agakusinga obunene, ogyetwalire ogyefunire. Olisangamu ebibuga ebinene ebyebulunguddwa ebigo ebyawanvuwa okutuuka ku ggulu.
2 那高大的民族,即阿納克的子孫,是你所知道的,論到他們,你曾聽說過:「誰能抵抗阿納克的子孫﹖」
Abantu baayo be batabani ba Anaki, ba maanyi era bawanvu. Obamanyi bulungi, era wawulirako dda nga boogerwako nti, “Ani ayinza okwolekera Abanaki?”
3 但你今天應該知道,上主你的天主要如吞滅的火,親自走在你前面,是他要消滅他們,是他要他們在你面前屈服;這樣你纔能將他們驅逐,使他們迅速毀滅,一如上主對你所說的。
Naye kitegeere leero nga Mukama Katonda wo y’akukulembera buli gy’oba olaga yonna, era ng’ali ng’omuliro ogusaanyaawo buli kintu. Ab’amaanyi abo agenda kubasiguukulula abazikirize nga naawe olaba. Noolwekyo ogenda kubagobamu obamalirewo ddala mu kaseera katono, nga Mukama bw’akusuubizza.
4 當上主你的天主將他們由你面前驅逐以後,你心中不要想:上主領我來佔領這地方,是因了我的義德。其實是因這些民族的罪惡,上主才將他們由你面前趕走。
Mukama Katonda wo bw’alimala okugobamu amawanga ago gonna nga naawe olaba, teweewaananga nga weeyogerako nti, “Mukama ansobozesezza okuyingira mu nsi muno n’okugifuna olw’obutuukirivu bwange;” songa lwa butali butuukirivu bwa mawanga ago, Mukama kyanaava agagobamu mu maaso go.
5 你能去佔領他們的土地,並不是因了你的義德,也不是因了你心地正直,而實是因這些民族的罪惡,上主你的天主纔將他們由你面前趕走;同時也是為實踐上主向你祖先亞巴郎、依撒格和雅各伯起誓所許的諾言。
Ojja kuyingira mu nsi yaabwe ogitwale, si lwa kubanga oli mutuukirivu, oba omwesigwa; wabula lwa kibi ky’amawanga ago Mukama Katonda wo kyanaava agagoba mu maaso go, atuukirize n’ekisuubizo kye yalayirira bajjajjaabo: Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo.
6 由此可知,上主你的天主,把這肥美的土地賜給你作產業,並不是因了你的義德,因為你原是一個執拗的民族。
Osaana okitegeere ng’ensi eno ennungi Mukama Katonda gy’akuwa okugyefunira tagikuwa lwa kubanga oli mutuukirivu; kubanga oli muntu alina ensingo enkakanyavu.
7 你當記念不忘:你在曠野裏怎樣激怒了上主你的天主。自從你由埃及地出來的那天起,直到你們來到這地方,你們常是反抗上主。
Ojjukiranga, era tosaana kwerabiranga, nga bwe wasunguwaza Mukama Katonda wo ng’oli mu ddungu. Okuviira ddala ku lunaku lwe wava mu nsi ey’e Misiri mubadde mujeemera Mukama n’okutuusa lwe mutuuse mu kifo kino.
8 你們在曷勒布激怒了上主,致使上主對你們發怒,幾乎將你們消滅。
Ku lusozi Kolebu mwanyiiza Mukama Katonda, obusungu bwe ne bubuubuuka nnyo n’okwagala n’ayagala okubazikiriza.
9 那時我上了山,要接受石版,就是上主與你們結約的石版,我在山上住了四十天四十夜,不吃不喝;
Bwe nalinnya ku lusozi okuweebwa ebipande eby’amayinja, nga bye byaliko endagaano Mukama Katonda gye yali alagaanye nammwe, ne mmala ku lusozi ennaku amakumi ana emisana n’ekiro, saalya ku mmere wadde okunywa ku mazzi.
10 上主交給了我兩塊天主用手指寫上字的石版。上面所寫的,是上主於集會之日,在山上由火中對你們所說的一切話。
Mukama Katonda n’ampa ebipande bibiri eby’amayinja nga biwandiikiddwako n’engalo ya Katonda. Ku byo kwali kuwandiikiddwako amateeka Mukama ge yali abalangiridde ng’ali ku lusozi wakati mu muliro ku lunaku olwo nga mwenna mukuŋŋaanye.
11 過了四十天四十夜,天主交給了我那兩塊石版、即約版,
Ku nkomerero y’ennaku amakumi ana n’ebiro amakumi ana Mukama Katonda n’ampa ebipande ebibiri eby’amayinja nga bye bipande eby’endagaano.
12 然後對我說:「起來,趕快下去,因為你由埃及領出來的人民已敗壞了,他們很快就離棄了我給他們指定的道路,為自己鑄造了偶像。」
Awo Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Situka ove mangu wano oserengete, kubanga abantu bo be waggya mu Misiri boonoonye. Beekyusizza mangu ne bava mu kkubo lye nabalagira okutambulirangamu, ne beekolera ekibumbe ekisaanuuse ekitali Katonda.”
13 上主又對我說:「我看這民族,確是一個執拗的民族。
Era Mukama Katonda ne yeeyongera n’aŋŋamba nti, “Neetegerezza abantu bano, ne ndaba nga bantu abalina ensingo enkakanyavu, nga ggwanga lya mputtu.
14 你且由著我罷! 我要消滅他們,由天下抹去他們的名字;我要使你成為一個比他們更大更多的民族。」
Leka mbazikirize, erinnya ly’eggwanga lyabwe ndisangulewo wansi w’eggulu. Ndikuggyamu eggwanga eddene era ery’amaanyi okusinga eggwanga lyabwe.”
15 我於是轉身從冒火的山上下來,手中拿著兩塊約版。
Bwe ntyo ne nkyuka ne nva ku lusozi ne nserengeta, ne ndeka ng’olusozi lwaka omuliro. Ebipande byombi eby’amateeka eby’endagaano nabirina mu mikono gyange gyombi.
16 我一看見你們鑄造了牛犢,犯罪背叛了上主你們的天主,迅速離棄了上主給你們指定的道路,
Bwe natunula ne ndaba nga mwonoonye mu maaso ga Mukama Katonda wammwe; mwali mwekoledde ekitali Katonda nga mukibumbye okufaanana ng’ennyana; mwali mukyuse mangu okuva mu kkubo Mukama lye yali abalagidde.
17 我就把那兩塊石版,由我手中扔下去,在你們眼前摔得粉碎。
Bwe ntyo ne nzirira ebipande byombi bye nnali nkutte mu ngalo zange ne mbikasuka wansi ne byatikirayatikira mu maaso gammwe nga nammwe mulaba.
18 為了你們所犯的一切罪過,作了上主眼中視為惡的事,使他惱怒,我就像上次一樣俯伏在上主面前,四十天四十夜不吃不喝。
Ate ne nziramu okweyala wansi awali Mukama Katonda okumala ennaku amakumi ana, emisana n’ekiro, Mukama bwe yali amaliridde okubazikiririza ddala yeefunire eggwanga eddala; ne sirya ku mmere wadde okunywa ku tuzzi okumala ennaku amakumi ana emisana n’ekiro, olw’ekibi kye mwali mukoze, bwe mwakola ebitasaana mu maaso ga Mukama Katonda ne mumusunguwaza.
19 因為上主對你們大發忿怒,要消滅你們,我實在恐懼不安;但上主這次又俯聽了我。
Ne ntya nnyo olw’obusungu bwa Mukama Katonda n’ekiruyi kye, kubanga yali abasunguwalidde nnyo ng’ayinza n’okubazikiriza. Naye era Mukama n’ampuliriza ne ku mulundi ogwo.
20 同樣,上主對亞郎也大發忿怒,要消滅他;那時我也為亞郎祈求過。
Era Mukama yali asunguwalidde nnyo Alooni nga n’okumuzikiriza ayinza okumuzikiriza. Naye mu kiseera ekyo ne Alooni ne mmusabira nnyo.
21 我把你們犯罪所鑄造的牛犢,放在火裏燒了;然後搗碎,磨成細末,將細末拋在由山上流下來的溪水內。
Ne nzirira ennyana eyabaleetera okusobya, ne ngyokya mu muliro. Ne ngisekulasekula ne ngisa, n’efuuka olufufugge. Olufufugge olwo ne nduyiwa mu kagga akaali kakulukutira ku lusozi olunene.
22 以後,你們在塔貝辣、瑪撒、克貝洛特阿塔瓦又激怒了上主。
Mukama, mwayongera okumusunguwaza bwe mwali e Tabera, n’e Masa, n’e Kiberosu Kataava.
23 當上主命你們由卡德士巴爾乃亞起程,說:「你們上去佔領我賜給你們的地方。」你們又違背了上主你們天主的命令,沒有信賴他,也沒有聽他的命。
Era Mukama bwe yabasindika okuva e Kadesubanea, yabagamba nti, “Mwambuke mwetwalire ensi gye mbawadde.” Naye ne mujeemera ekiragiro kya Mukama Katonda wammwe. Temwamwesiga wadde okumugondera.
24 自從我認識你們那天起,你們常是背叛上主。
Kasookedde mbamanya, ebbanga eryo lyonna mubadde mujeemera Mukama Katonda.
25 因為上主決意要消滅你們,我就四十天四十夜俯伏在上主面前,
Bwe ntyo ne nambaala ku ttaka nga neevuunise mu maaso ga Mukama, okumala ennaku amakumi ana emisana n’ekiro; kubanga Mukama Katonda yali agambye nti ajja kubazikiriza.
26 哀求上主說:吾主上主! 不要消滅你的百姓,你的產業,因為是你以大能救出來的,是你以強力的手由埃及領出來的,
Ne nsaba Mukama nti, Ayi Mukama Katonda, bano be bantu bo, era obusika bwo bwennyini, be wanunula n’obaggya mu nsi ey’e Misiri n’omukono gwo ogw’amaanyi.
27 求你記念你的僕人亞巴郎、依撒格和雅各伯,別看這民族的頑固、邪惡和罪過,
Nkusaba ojjukire abaddu bo, era abaweereza bo, Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo osonyiwe obukakanyavu bw’eggwanga lino, n’obunafu bwalyo n’ebibi byalyo.
28 免得你領我們出來的那地方的人說:這是由於上主不能領他們進入所許給他們的地方,又由於恨他們纔領他們出來,叫他們死在曠野。
Ab’omu nsi mwe watuggya baleme okugamba nti, “Olwokubanga Mukama yali tasobola kubatuusa mu nsi gye yabasuubiza, era olwokubanga yali abakyaye nnyo, kyeyava abaggyayo mu Misiri alyoke abattire mu ddungu.”
29 他們畢竟是你的百姓,是你的產業,是你以大能和伸開的手臂領出來的。
Kubanga lino lye ggwanga lyo, be bantu bo ab’obusika bwo, be waggya mu Misiri n’obuyinza bwo obungi, n’omukono gwo ogw’amaanyi.

< 申命記 9 >