< 申命記 2 >

1 以後,我們照上主對我吩咐,的轉向紅海出發,往曠野進行,我們圍著色依爾山地繞行了很久。
Awo ne tukyuka ne tuddayo mu ddungu nga twolekera Ennyanja Emyufu, nga Mukama bwe yandagira. Ne tumala ennaku nnyingi nnyo nga tutambulira mu nsi ey’ensozi ey’e Seyiri.
2 那時上主對我說:「
Mukama n’aŋŋamba nti,
3 你們繞行這山地已夠久了,如今該轉向北方。
“Mu nsi eno ey’ensozi mutambuliddemu ekiseera kiwanvu, era kimala; kale kaakano mukyuke mulage mu bukiikakkono.
4 你吩咐人民說:你們要經過你們的兄弟厄撒烏子孫所住的色依爾地區;他們必畏懼你們,但你們卻應小心,
Abantu bawe ebiragiro bino nti, ‘Muli kumpi okutuuka mu nsi ya baganda bammwe, abazzukulu ba Esawu ababeera mu Seyiri, bajja kubatya, kyokka mubeegendereza nnyo.
5 不要與他們挑戰,因為他們的地,連腳掌那麼大的一塊地,我也沒有給你們,因為我已將色依爾山地給了厄撒烏作產業。
Temubasosonkerezaako lutalo, kubanga mmwe sijja kubawa ku ttaka lyabwe, wadde akatundu akatono awagya ekigere ky’omuntu. Kubanga ensi ey’ensozi eya Seyiri nagiwa dda Esawu okuba obutaka bwe obwenkalakkalira.
6 你們應用錢向他們買糧吃,用錢向他們買水喝。
Mubagulangako emmere gye munaalyanga nga mugisasulira n’ensimbi, n’amazzi ag’okunywa nago nga mugasasulira ensimbi.’”
7 的確,上主你的天主祝福了你所作的一切,護衛你經過了這遼闊的曠野,這四十年來,上主你的天主常與你同在,使你什麼也不曾缺少。」
Mukama Katonda wo akuwadde omukisa mu mirimu gyonna gy’okola n’emikono gyo. Amanyi nti otambulira mu ddungu lino eddene ennyo bwe lityo. Era Mukama Katonda wammwe abadde akulabirira emyaka gino gyonna amakumi ana, ng’abeera naawe, era nga buli kye weetaaga akikuwa.
8 於是我們繞過了我們的兄弟厄撒烏的子孫所住的色依爾,沿阿辣巴路到了厄拉特,和厄茲雍革貝爾,然後轉向摩阿布曠野進發。
Bwe tutyo ne tweyongerayo mu lugendo lwaffe nga tuyita ku baganda baffe abazzukulu ba Esawu ababeera mu Seyiri. Ne tuleka ekkubo ly’Alaba eririnnyalinnya okuva Erasi ne Eziyonigeba, ne tukwata ekkubo eriyita mu ddungu lya Mowaabu.
9 那時上主對我說:「不要擾亂摩阿布人,不要與他們挑戰,他們的土地我一點也不會給你作產業,因為我已將阿爾給了羅特子孫作產業。 [
Awo Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Abamowaabu temubasunguwaza wadde okubasosonkerezaako olutalo, kubanga sigenda mmwe kubawa ku ttaka lyabwe mu Ali, ettaka eryo namala dda okuliwa bazzukulu ba Lutti okubeera obutaka bwabwe.”
10 原先住在那裏的,是強大眾多,身材魁偉像阿納克人的厄明民族。
Abemi be baabeeranga mu kitundu ekyo, nga basajja banene, nga ba maanyi, nga bangi nnyo, era nga bawanvu okwenkana nga Abanaki.
11 他們像阿納克人一樣,也算是勒法因人,但摩阿布人卻稱他們為厄明人。
Baayitibwanga Baleefa okufaanana nga Abanaki bwe baayitibwanga, naye Abamowaabu nga bo babayita Bemi.
12 同樣,在色依爾原先住有曷黎人;但厄撒烏的子孫侵佔了他們的產業,消滅了他們,住在他們境內,就如以色列人對上主賜給他們作產業的土地所做的一樣。]
Mu biseera eby’edda Abakooli nabo baabeeranga mu Seyiri, okutuusa bazzukulu ba Esawu bwe baabasiguukulula ne babagobamu ne babazikiriza, ensi eyo ne bagyetwalira, bo ne bagibeeramu; okufaananako ng’Abayisirayiri bwe balikola mu nsi Mukama Katonda gye yabawa ey’obusika bw’obutaka bwabwe obw’enkalakkalira.
13 你們現在起身,過則勒得溪。」我們就過了則勒得溪。
Mukama n’agamba nti, “Musituke musomoke akagga Zeredi.” Ne tusomoka.
14 從離開卡德士巴爾乃亞到我們過則勒得溪所用的時間,共計三十八年,直到能作戰的那一代,照上主對他們所起的誓,由營中完全消滅。
Olwo nga kasookedde tuva mu Kadesubanea okutuusa lwe twasomoka akagga Zeredi gyali giweze emyaka amakumi asatu mu munaana. Ekiseera ekyo we kyaggweerako ng’abasajja abalwanyi bonna mu lusiisira lw’abaana ba Isirayiri, ab’omu mulembe ogwo, nga bafudde baweddewo, nga Mukama Katonda bwe yabalayirira.
15 實在是上主的手攻擊了他們,使他們由營中完全消滅。
Kubanga Mukama Katonda yamalirira okubazikiriza n’omukono gwe okutuusa ng’abamaliddemu ddala mu lusiisira lwabwe.
16 所有的戰士由民中死盡以後,
Awo olwatuuka abasajja abalwanyi bonna bwe baamala okufa, nga bazikiridde baweddewo mu bantu,
17 上主吩咐我說:「
Mukama Katonda n’aŋŋamba nti,
18 你今天路過摩阿布的領土,即阿爾,
“Olwa leero munaasala ensalo ya Mowaabu mu Ali.
19 就要面臨阿孟子民;但不要擾亂他們,不要與他們挑戰,阿孟子民的土地我一點也不會給你作產業,因為我已將這地給了羅特子孫作產業。 [
Naye bwe musemberera Abamoni temubasunguwaza so temubasosonkerezaako lutalo, kubanga mmwe sigenda kubawa ku ttaka ly’Abamoni n’akatono okuba obutaka bwammwe, kubanga ettaka eryo namala dda okuliwa bazzukulu ba Lutti okubeera obutaka bwabwe obw’enkalakkalira.”
20 這地也算是勒法因人地,勒法因人先前住在那裏,阿孟人稱他們為「匝默組明。」
Ekitundu ekyo era kyali kiyitibwa nsi ya Baleefa, kubanga Abaleefa be baabeerangamu naye Abamoni nga babayita Bazamuzumu.
21 他們像阿納克人一樣,是強大眾多,身材魁偉的民族;但上主卻由阿孟人面前消滅了他們,使阿孟人佔有他們的產業,住在他們境內,
Baali basajja ba maanyi era nga bangi nnyo, nga bawanvu ng’Abanaki. Naye Mukama Katonda n’abawaayo eri Abamoni ne babazikiriza, ne batwala ensi yaabwe ne bagituulamu.
22 正如上主為住在色依爾的厄撒烏子孫所做的一樣:即由他們面前消滅了曷黎人,使厄撒烏的子孫佔有他們的產業,住在他們的境內,直到今日。
Ne kifaananako nga Mukama bwe yazikiriza Abakooli abaalinga mu Seyiri, ensi yaabwe n’agiwa bazzukulu ba Esawu okuba obutaka bwabwe obw’enkalakkalira n’okutuusa leero.
23 同樣,阿威人原先住在迦薩附近各村莊內,有加非托爾人由加非托爾來,將他們消滅,住在他們境內。]
Abavi abaabeeranga mu byalo ebyesuddeko okutuuka e Gaza, Abakafutoli abaava e Kafutoli bajja ne babazikiriza ne batwala ensi yaabwe bo ne bagibeeramu.
24 你們起身出發,過阿爾農河。看,我已將阿摩黎人赫市朋王息紅和他的土地交在你手中;進軍佔領,與他交戰。
“Musituke mutambule muyite mu kiwonvu ekya Alunoni. Otegeere kino nga Sikoni Omwamoli Kabaka w’e Kesuboni mmugabudde mu mukono gwo n’ensi ye yonna. Kale tandika okumutabaala, n’ensi ye ogyetwalire efuukire ddala yiyo ya butaka bwo.
25 從今日起,我要使天下萬民在你面前驚慌害怕,使他們一聽見你的消息就戰慄;一看見你的面目就發抖。」
Okutandika n’olunaku lwa leero amawanga gonna ag’oku nsi nzija kugateekamu entiisa bakankane nga bawulidde ettutumu lyo babeere mu kutiitiira n’okunyolwa ku lulwo.”
26 我於是由刻德摩特曠野,派遣使者到赫市朋王息紅那裏,和平談判說:
Nga tuli mu ddungu ly’e Kedemosi natumira Sikoni Kabaka w’e Kesuboni n’obubaka obw’okuteesa emirembe nga mmugamba nti,
27 讓我從你國內經過,我只走大道,不偏右也不偏左。
“Tukkirize tuyite mu nsi yo. Tujja kutambulira mu luguudo mwokka nga tetuwunjuseeko kulaga ku ludda olwa ddyo oba olwa kkono.
28 你按價錢賣給我糧吃,按價錢供給我水喝;只讓我步行過去,──
Onootuguzanga emmere gye tunaalyanga nga tugisasulira ensimbi, n’amazzi ge tunaanywangako, nago nga tugasasulira ensimbi. Naye tuleke tuyite mu nsi yo nga tutambula n’ebigere,
29 如住在色依爾的厄撒烏子孫和住在阿爾的摩阿布人,對我所做的一樣,──好使我過約但河,進入上主我們的天主賜給我們的地方。
nga bazzukulu ba Esawu abaabeeranga mu Seyiri, n’Abamowaabu abaabeeranga mu Ali bwe baatuleka, okutuusa lwe tulimala okusomoka Yoludaani ne tutuuka mu nsi Mukama Katonda waffe gy’ategese okutuwa.”
30 但是赫市朋王息紅,不肯讓我們從他那裏經過,因為上主你的天主使他頑固,使他心硬,好將他交在你手中,就如今日一樣。
Naye Sikoni Kabaka wa Kesuboni n’atatukkiriza kuyitawo. Kubanga Mukama Katonda wammwe yali akakanyazizza omwoyo gwe era ng’awaganyazizza omutima gwe, alyoke amugabule mu mukono gwammwe nga bwe kiri leero.
31 上主對我說:看我已將息紅和他的土地交給了你,你應進軍佔領他的土地。」
Awo Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Laba, ntandise okugabula Sikoni n’ensi ye mu mukono gwo. Kale tandika okuwangula ensi ye yonna, olyoke ogyefunire okubeera obusika bwo era obutaka bwo obw’enkalakkalira.”
32 那時息紅和他所有的民眾出來攻擊我們,在雅哈茲與我們交戰;
Kabaka Sikoni n’eggye lye lyonna ne batulumba mu lutabaalo olw’e Yakazi.
33 但上主我們的天主將他交給了我們,我們擊殺了他,他的兒子和他所有的人民。
Mukama Katonda waffe n’agabula Sikoni n’eggye lye lyonna, ne batabani be, mu mukono gwaffe ne tubawangula.
34 同時我們也佔領了他所有的城邑,照毀滅律將全城破壞,不論男女或幼童,全都殺死,沒有留下一個,
Mu kaseera ako twawamba ebibuga bye byonna ne tubizikiriza n’abantu bonna, abasajja, n’abakazi, n’abaana abato, tetwalekerawo ddala.
35 只留下了牲畜和由佔領的城邑中所奪的財物,作我們的戰利品。
Naye ente ne tuzeetwalira awamu n’omunyago gwe twaggya mu bibuga bye twawamba.
36 由阿爾農谷邊的阿洛厄爾和谷中的城直到基肋阿得,沒有一座城不被我們攻下的,上主我們的天主將這一切全交給了我們,
Okuva ku Aloweri ekiri ku lukugiro lw’Ekiwonvu Alumoni, n’okuva ku kibuga ekiri mu kiwonvu ekyo, n’okutuukira ddala mu Gireyaadi, tewaaliwo kibuga na kimu ekyatusukkirira amaanyi. Mukama Katonda waffe byonna yabitugabula mu mukono gwaffe.
37 只有阿孟子孫的土地,即雅波克河一帶和山地的城邑,你沒有進攻,全照上主我們的天主所吩咐的。
Naye ebifo, Mukama Katonda waffe bye yatulagira obutabisemberera, y’ensi y’abazzukulu ba Amoni, ne ku mbalama zonna ez’omugga Yaboki, n’ebibuga eby’omu nsi ey’ensozi; ebyo byo yatugaana okubikwatirako ddala.

< 申命記 2 >