< 約翰二書 1 >
1 我長老致書給蒙選的主母和她的子女,就是我在真理內所愛的,不但我一個人,而且也是所有認識真理的人所愛的;
Nze omukadde mpandiikira omukyala omulonde awamu n’abaana be, be njagalira ddala mu mazima, si nze mbaagala nzekka, wabula n’abo bonna abategeera amazima.
2 這愛的因由,就是那存在我們內,並永遠與我們同在的真理。 (aiōn )
Amazima ago gabeera mu ffe, era gajjanga kubeera mu ffe emirembe gyonna. (aiōn )
3 願恩寵、仁愛與平安由天主父及天父之子耶穌基督,在真理與愛情內與我們同在。
Ekisa, n’okusaasira n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Yesu Kristo Omwana wa Kitaffe bijjanga kubeera naffe mu mazima ne mu kwagala.
4 我很喜歡,因為我遇見了你的一些子女,照我們由天父所領受的命令,在真理內生活。
Nnasanyuka nnyo, bwe nnasanga abamu ku baana bo nga batambulira mu mazima nga bwe twalagirwa Kitaffe.
5 主母,我現在請求你,我們應該彼此相愛;這不是我寫給你的一條新命令,而是我們從起初就有的命令。
Naye nnyabo kaakano nkusaba nga siri ng’akuwa ekiragiro ekiggya, naye nkujjukiza ekiragiro ekyo Katonda kye yatuwa okuva ku lubereberye nti, “Twagalanenga.”
6 我們按照他的命令生活,這就是愛;你們應在愛中生活,這就是那命令,正如你們從起初聽過的。
Era kuno kwe kwagalana nti tugonderenga ebiragiro bya Katonda. Kubanga okuva ku lubereberye twategeezebwa nga bwe tuteekwa okutambula.
7 的確,有許多迷惑人的,來到了世界上,他們不承認耶穌基督是在肉身內降世的;這樣的人就是迷惑人的,就是假基督。
Mwekuume, abalimba bangi mu nsi abatakkiriza nti Yesu yayambala omubiri. Buli muntu ayogera bw’atyo mulimba era mulabe wa Kristo.
8 你們要謹慎,不要喪失你們勞苦所得的,反要領受圓滿的賞報。
Mwekuume, muleme okufiirwa kye twakolerera, wabula mukikuume kubanga mulifuna empeera yammwe yonna.
9 凡是越規而不存在基督道理內的,就沒有天主;那存在這道理內的,這人有父也有子。
Buli asukka ku ebyo Kristo by’ayigiriza n’atabinywereramu, talina Katonda; naye oyo anywerera mu kuyigiriza okwo alina Kitaffe n’Omwana.
10 若有人來到你們中,不帶著這個道理,你們不要接他到家中,也不要向他請安,
Omuntu yenna bw’ajja gye muli, n’atayigiriza bw’atyo, temumwanirizanga mu nnyumba yammwe, n’okulamusa temumulamusanga.
Kubanga buli amusembeza aba yeenyigidde mu bikolwa ebyo ebibi.
12 雖然我還有許多事,要寫給你們,但我不願意用紙用墨,只希望到你們那裏去,親口面談,好使我們的喜樂圓滿無缺。
Mbadde na bingi eby’okubawandiikira, kyokka saagala byonna kubibawandiikira buwandiikizi, wabula nsuubira okubakyalira tulyoke twogeraganye nga tulabagana amaaso n’amaaso, essanyu lyaffe liryoke lituukirire.
Abaana ba mwannyoko omulonde bakulamusizza.