< 歷代志上 1 >

1 [從亞當到亞巴郎的族譜]亞當、舍特、厄諾士、
Adamu yazaala Seezi, Seezi n’azaala Enosi;
2 刻南、瑪拉肋耳、耶勒得、
Enosi n’azaala Kenani, Kenani n’azaala Makalaleri, Makalaleri n’azaala Yaledi;
3 哈諾客、默突舍拉、
Yaledi n’azaala Enoka, Enoka n’azaala Mesuseera, Mesuseera n’azaala Lameka, Lameka n’azaala Nuuwa.
4 諾厄、閃、含和耶斐特。
Nuuwa n’azaala Seemu, ne Kaamu ne Yafeesi.
5 耶斐特的子孫:哥默爾、瑪哥格、瑪待、雅汪、突巴耳、默舍客和提辣斯。
Batabani ba Yafeesi baali: Gomeri, ne Magogi, ne Madayi, ne Yavani, ne Tubali, ne Meseki, ne Tirasi.
6 哥默爾的子孫:阿市革納次、黎法特和托加爾瑪。
Batabani ba Gomeri baali: Asukenaazi, ne Difasi ne Togaluma.
7 雅汪的子孫:厄里沙、塔爾史士、基廷和多丹。
Batabani ba Yavani baali: Erisa, ne Talusiisi, ne Kittimu, ne Lodanimu.
8 含的子孫:雇士、米茲辣殷、普特和客納罕。
Batabani ba Kaamu baali: Kuusi, ne Mizulayimu, ne Puuti, ne Kanani.
9 雇士的子孫;色巴、哈威拉、撒貝達、辣阿瑪和撒貝特加。辣阿瑪的子孫:舍巴和德丹。
Batabani ba Kuusi baali: Seeba, ne Kavira, ne Sabuta, ne Laama, ne Sabuteka. Ne batabani ba Laama baali: Seeba ne Dedani.
10 雇士生尼默洛得;他是世界上第一個強人。
Kuusi n’azaala Nimuloodi, Nimuloodi n’akula n’afuuka omusajja omuzira ow’amaanyi mu nsi.
11 米茲辣殷生路丁人、阿納明人、肋哈賓人、納斐突歆人、
Mizulayimu n’azaala Ludimu, ne Anamimu, ne Lekabimu, ne Nafutukimu;
12 帕特洛斯人、加斯路人和加非托爾人,即培肋舍特的祖先。
ne Pasulusimu, ne Kasulukimu (Abafirisuuti mwe basibuka), ne Kafutolimu.
13 克納罕生長子漆冬,次為赫特、
Kanani n’azaala Sidoni, ye mutabani we omukulu, ne Keesi;
14 耶步斯人、阿摩黎人、基爾加史人、
n’Abayebusi, n’Abamoli, n’Abagirugaasi;
15 希威人、阿爾克人、息尼人、
n’Abakiivi, n’Abaluki, n’Abasiini;
16 阿爾瓦得人、責瑪黎人和哈瑪特人。
n’Aballuvadi, n’Abazemali n’Abakamasi.
17 閃的子孫:厄藍、亞述、阿帕革沙得、路得、阿蘭。阿蘭的子孫:伍茲胡耳、革特爾和默舍客。
Batabani ba Seemu baali: Eramu, ne Asuli, ne Alupakusaadi, ne Ludi ne Alamu. Ate batabani ba Alamu baali: Uzi, ne Kuuli, ne Geseri, ne Meseki.
18 阿帕革沙得生舍特,舍特生厄貝爾。
Alupakusaadi n’azaala Seera, Seera n’azaala Eberi.
19 厄貝爾生了兩個兒子:長子名叫培肋格,因為在他的時代,世界分裂了;他的兄弟明叫約刻堂。
Eberi yazaala abaana babiri aboobulenzi, erinnya ly’omu nga ye Peregi, amakulu nti ensi yali egabiddwamu, n’erinnya ly’omulala nga ye Yokutaani.
20 約刻堂生阿耳摩達得、舍肋夫、哈匝瑪委特、耶辣、
Yokutaani n’azaala Alumodaadi, ne Serefu, ne Kazalumaveesi, ne Yera;
21 哈多蘭、烏匝耳、狄刻拉、
ne Kadolaamu, ne Uzali, ne Dikula;
22 厄巴耳、阿彼瑪耳、舍巴、
ne Ebali, ne Abimayeeri, ne Seeba;
23 敖非爾、哈威拉和約巴布:這些人都是約刻堂的子孫。
ne Ofiri, ne Kavira ne Yobabu. Era abo bonna be baali batabani ba Yokutaani.
24 閃阿帕革沙得、舍拉、
Enda ya Seemu okutuuka ku Ibulaamu ye yali eno; Seemu n’azaala Alupakusaadi, Alupakusaadi n’azaala Seera,
25 厄貝爾、培肋格、勒伍、
Seera n’azaala Eberi, Eberi n’azaala Peregi, ne Peregi n’azaala Lewu.
26 色魯格、納曷爾、特辣黑、
Lewu n’azaala Serugi, Serugi n’azaala Nakoli, ne Nakoli n’azaala Teera,
27 亞巴郎即亞貝辣罕。[亞巴郎的後代]
Teera n’azaala wa Ibulaamu, oyo ye Ibulayimu.
28 亞巴郎的兒子是依撒格和依市瑪耳。
Batabani ba Ibulayimu baali Isaaka ne Isimayiri.
29 以下是他們的後裔:依市瑪耳的長子是乃巴約特,次為刻達爾、阿德貝米、米貝散、
Luno lwe lulyo lwabwe: Nebayoosi ye yali mutabani wa Isimayiri omukulu, ne kulyoka kuddako Kedali, ne Adubeeri, ne Mibusamu,
30 米市瑪、杜瑪、瑪薩、哈達得、特瑪、
ne Misuma, ne Duma, ne Massa, ne Kadadi, ne Teema,
31 耶突爾、納菲士和刻德瑪:以上是依市瑪耳的兒子。
ne Yetuli, ne Nafisi ne Kedema. Eyo y’enda ya Isimayiri.
32 亞巴郎的妾刻突辣所生的兒子:齊默郎、約刻商、默丹、米德楊、依市巴克和叔哈;約刻商的兒子:舍巴和德丹。
Batabani ba Ketula, omuweereza omukazi owa Ibulayimu be baali Zimulaani, ne Yokusaani, ne Medani, ne Midiyaani, ne Isubaki ne Suwa. Ate batabani ba Yokusaani baali Seeba ne Dedani.
33 米德楊的兒子:厄法、厄斐爾、哈諾客、阿彼達和厄耳達阿:以上都是刻突辣的子孫。
Batabani ba Midiyaani baali Efa, ne Eferi, ne Kanoki, ne Abida ne Eruda. Abo bonna be baali bazzukulu ba Ketula.
34 亞巴郎生依撒格;依撒格生厄撒烏和以色列。
Ibulayimu n’azaala Isaaka; batabani ba Isaaka baali Esawu ne Isirayiri.
35 厄撒烏的兒子:厄里法次、勒烏耳、耶烏士、雅藍和科辣黑。
Batabani ba Esawu baali Erifaazi, ne Leweri, ne Yewusi, ne Yalamu ne Koola.
36 厄里法次的子孫:特曼、敖瑪爾、則非、加堂、刻納次、提默納和阿瑪肋克。
Batabani ba Erifaazi baali Temani, ne Omali, ne Zeefi, ne Gatamu, ne Kenozi, ne Timuna ne Amaleki.
37 勒烏耳的子孫:納哈特、則辣黑、沙瑪和米匝。[色依爾的後裔]
Batabani ba Leweri baali Nakasi, ne Zeera, ne Samma ne Mizza.
38 色依爾的子孫:羅堂、芍巴耳、漆貝紅、阿納、狄雄、厄責爾和狄商。
Batabani ba Seyiri baali Lotani, ne Sobali, ne Zibyoni, ne Ana, ne Disoni, ne Ezeri ne Disani.
39 羅堂的兒子:曷黎和曷曼;羅堂的姊妹:提默納。
Batabani ba Lotani baali Kooli, ne Komamu; Timuna yali mwannyina Lotani.
40 芍巴耳的兒子:阿里楊、瑪納哈特、厄巴耳、舍非和敖南。漆貝紅的兒子:阿雅和阿納。
Batabani ba Sobali baali Aliyani, ne Manakasi, ne Ebali, ne Seefi ne Onamu. Ne batabani ba Zibyoni baali Aya ne Ana.
41 阿納的兒子:狄雄;狄雄的兒子:哈默郎、厄市班、依特郎和革郎。
Mutabani wa Ana yali Disoni, batabani ba Disoni nga be ba Kamulani, ne Esubani, ne Isulani ne Kerani.
42 厄責爾的兒子:彼耳漢、匝汪和阿甘。狄商的兒子:伍茲和阿郎。[厄東的君王]
Batabani ba Ezeri baali Birukani, ne Zaavani ne Yaakani; batabani ba Disani baali Uzi ne Alani.
43 以下是在以色列子民未有君王統治以前,統治厄東地的君王:貝敖爾的兒子貝拉;他的京城名叫丁哈巴。
Bano be bakabaka abaafuga mu Edomu nga tewannabaawo kabaka mu Isirayiri abafuga: Bera mutabani wa Byoli n’erinnya ly’ekibuga kye lyali Dinukaba.
44 貝拉死後,波責辣人則辣黑的兒子約巴布繼他為王。
Bera bwe yafa, Yokabu mutabani wa Zeera ow’e Bozula n’amusikira okuba kabaka.
45 約巴布死後,特曼地人胡商繼他為王。
Yokabu bwe yafa, Kusamu eyava mu nsi y’Abatemani, n’amusikira okuba kabaka.
46 胡商死後,貝達得的兒子哈達得繼他為王。他曾在摩阿布平原擊敗了米德楊人;他的京城名叫阿威特。
Kusamu bwe yafa, Kadadi mutabani wa Bedadi, eyali awangudde Midiyaani mu nsi Mowaabu, n’afuga mu kifo kye n’erinnya ly’ekibuga kye lyali Avisi.
47 哈達得死後,瑪斯勒卡人撒默拉繼他為王。
Kadadi bwe yafa, Samula ow’e Masuleka n’afuga mu kifo kye.
48 撒默拉死後,河間的勒曷波特人沙烏耳繼他為王。
Samula bwe yafa, Sawuli ow’e Lekobosi ekiri okumpi n’omugga Fulaati, n’afuga mu kifo kye.
49 沙烏耳死後,阿革波爾的兒子巴耳哈南繼他為王。
Sawuli bwe yafa, Baalukanani mutabani wa Akubooli n’afuga mu kifo kye.
50 巴耳哈南死後,哈達得繼他為王,他的京城名叫帕依,他的妻子名叫默塔貝耳,是默匝哈布人瑪特勒得的女兒。[厄東的族長]
Baalukanani bwe yafa, Kadadi n’afuga mu kifo kye, n’erinnya ly’ekibuga kye lyali Payi, ate nga mukyala we ye Meketaberi muwala wa Matuledi, ate era nga ye muzzukulu wa Mezakabu.
51 哈達得死後,為厄東族長的是:提默納族長,阿里雅族長,耶太特族長,
Kadadi naye n’afa. Abakungu ba Edomu baali Timuna, ne Aliya, Yesesi,
52 敖曷里巴族長,厄拉族長,丕農足長,
ne Okolibama, ne Era, ne Pinoni,
53 刻納次族長,特曼族長,米貝匝爾族長,
ne Kenozi, ne Temani, ne Mibuzali,
54 瑪革狄耳族長和依蘭族長:以上是厄東的族長。
ne Magudyeri, ne Iramu. Abo be baali abakungu ba Edomu.

< 歷代志上 1 >