< 路加福音 16 >

1 耶稣向门徒讲了一个故事:“从前有个财主,有人指控他的管家浪费主人的财物。
Awo Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Waaliwo omusajja omugagga ng’alina omuwanika we amulabiririra ebintu bye. Ne wabaawo abaamuloopera nti omuwanika oyo yali asaasaanya ebintu bye, ng’abidiibuuda.
2 主人把管家叫来,对他说:‘我听说了关于你的事情,怎么会这样?把你管的账目拿来,你不能再做管家了。’
Mukama we n’amuyita n’amubuuza nti, ‘Biki ebyo bye nkuwulirako? Kale genda otegeke lipoota y’ebintu byange nga bwe biri ogindeetere. Omulimu gukufudde.’
3 管家心想:‘主人不让我继续做管家,我又该做什么呢?去锄地没有力气!去讨饭又太羞耻了!
“Omuwanika n’alowooza mu mutima gwe, nga yeebuuza nti, ‘Kale kaakano nkole ntya? Mukama wange wuuno angoba ku mulimu. Sirina maanyi galima, n’okusabiriza kunkwasa ensonyi.
4 对了,我知道该做什么了。这样做,如果我不再当管家,就会有人让我去他们家做工。’
Ekinaasobozesa abantu okunsembeza mu maka gaabwe, nga bwe ngobeddwa ku mulimu, nkifunye.’
5 于是他找来欠他主人债的人。他问第一个人:‘你欠我主人多少?’
“N’agenda ng’ayita buli eyalina ebbanja ku mukama we. Gwe yasookerako n’amubuuza nti, ‘Ebbanja mukama wange ly’akubanja lyenkana wa obunene?’”
6 那人说:‘一百桶油。’管家说:‘那快坐下来,拿着你的欠条,把它改成五十桶。’
“Omusajja n’addamu nti, ‘Ammanja endebe z’omuzigo kikumi mu ataano.’ Omuwanika n’amugamba nti, ‘Kwako empapula zo kw’obanjirwa ogende owandiike endebe amakumi ataano.’
7 他又问另外一人:‘你欠多少?’那人说:‘一百包麦子。’管家说:‘给你欠条,改成八十包。’
“Omuwanika n’adda ku wookubiri n’amubuuza nti, ‘Ggwe obanjibwa ki?’ “N’addamu nti, ‘Ebigera by’obuwunga bw’eŋŋaano kikumi.’” “Omuwanika n’amugamba nti, ‘Kwako empapula zo kw’obanjirwa, owandiike endala osseeko ebigera kinaana.’
8 他的主人夸奖了这位不诚实的管家,称他做事机警,因为现世之子在对待彼此的时候,比光之子更狡诈。 (aiōn g165)
“Mukama we n’atenda nnyo omuwanika we atali mwesigwa olw’obukalabakalaba bwe. Kubanga abaana b’omulembe guno bagezigezi okusinga abaana b’omusana ab’omu mulembe gwabwe.” (aiōn g165)
9 我告诉你们,用现世的财富去结交你的朋友,这样当你失去钱财后,就可以进入永恒之家。 (aiōnios g166)
“Era mbategeeza nti mwefunire emikwano mu bugagga obutali butuukirivu, bwe buliggwaawo balyoke babasembeze mu weema ezitaggwaawo. (aiōnios g166)
10 如果你在极小的事情上可以获得信任,大事也是如此。如果你在极小的事情上不诚实,大事也会不诚实。
Omuntu omwesigwa mu kintu ekitono, abeera mwesigwa ne mu kinene; n’oyo ataba mwesigwa mu kitono era ne mu kinene taba mwesigwa.
11 如果你在现世财富方面不值得信任,谁还会把真实的财富托付给你们?
Kale obanga temwesigibwa mu bugagga obutali butuukirivu, ani agenda okubeesiga mu bugagga obw’amazima?
12 如果你们对别人的东西不忠心,谁还把自己的东西交给你们呢?
Obanga toli mwesigwa ku by’omulala, kale ani alikwesiga n’akukwasa ebibyo?
13 一个仆人不能服侍两个主人,他必会喜欢一人,讨厌另一人,或忠于一人而背离另一人。你们不能同时服侍上帝和金钱。”
“Tewali muddu ayinza kuweereza bakulu babiri. Kubanga alikyawako omu n’ayagala omulala, oba aliwulirako omu n’anyooma omulala. Toyinza kuweereza Katonda na mamona.”
14 视财如命的法利赛人听见这些话,便开始嘲笑耶稣。
Awo Abafalisaayo, abaali abaluvu b’ensimbi, bwe baawulira ebigambo ebyo ne banyooma Yesu.
15 但耶稣对他们说:“你们在人前自称善人,上帝却知道你们在想什么。因为人所看中的,正是上帝所憎恶的。
N’abagamba nti, “Mmwe mweraga mu bantu, naye Katonda amanyi emitima gyammwe. Okwerimbalimba kwammwe kubaweesa ekitiibwa mu maaso g’abantu, naye nga kya muzizo eri Katonda.
16 律法和先知所写的,持续到约翰为止。此后所传递的就是上帝之国的福音,人人都努力想要挤进上帝之国。
“Yokaana Omubatiza bwe yali nga tannabuulira, amateeka n’obubaka bwa bannabbi byabuulirwa. Naye okuva olwo obwakabaka bwa Katonda bubuulirwa, ne buli muntu ayitibwa abuyingiremu mu bwangu ddala.
17 但相比天地终会消散,律法文字中哪怕是最小的一个点,也更不容易消失。
Naye kyangu eggulu n’ensi okuggwaawo okusinga n’akatundu k’ennukuta emu ey’amateeka okuggwaawo.
18 如果你休妻另娶,就犯了奸淫之罪。如果你娶了被休之妻,同样也是犯了奸淫之罪。
“Omusajja yenna agoba mukazi we n’awasa omulala aba ayenze; n’oyo awasa omukazi agobeddwa, naye aba ayenze.”
19 从前有一个财主很富有,总是身穿紫袍和精致的麻衣,过着奢华无度的日子。
Awo Yesu n’abagamba nti, “Waaliwo omusajja omugagga ennyo, eyayambalanga engoye ez’effulungu ne linena era bulijjo ng’abeera mu masanyu era ng’alya ebyassava.
20 有个满身长疮的乞丐名叫拉撒路,他经常坐在财主门口,
Waaliwo n’omusajja omwavu erinnya lye nga ye Laazaalo nga mulwadde ng’ajjudde amabwa ku mubiri gwe, eyateekebwanga ku mulyango gw’omusajja omugagga.
21 希望用财主饭桌上掉下的残渣充饥,甚至还有狗跑来舔他的疮。
Laazaalo ne yeegombanga okulya obukunkumuka obwagwanga wansi nga buva ku mmeeza ya nnaggagga. N’embwa zajjanga ne zikomberera amabwa ga Laazaalo.
22 后来乞丐死了,天使们将他送到亚伯拉罕那里。财主也死了,被埋在土里。
“Ekiseera kyatuuka omusajja omwavu n’afa, bamalayika ne bamutwala mu kifuba kya Ibulayimu. Oluvannyuma n’omugagga naye n’afa, n’aziikibwa.
23 财主在阴间受尽折磨,于是向上望去,看到了亚伯拉罕和他身边的拉撒路。 (Hadēs g86)
Naye ng’ali eyo mu magombe mu kubonaabona, n’atunula waggulu n’alaba Laazaalo ng’ali mu kifuba kya Ibulayimu. (Hadēs g86)
24 于是财主喊着说:‘我父亚伯拉罕啊,可怜可怜我吧!派拉撒路来用手指蘸点水,冰冰我的舌头!我在这火焰炙烤的太难熬了。’
N’akoowoola nti, ‘Kitange Ibulayimu, nsaasira, ontumire Laazaalo oyo annyike olugalo Lwe mu mazzi, nkombeko, naye olulimi lumbabuukirira nnyo mu muliro guno ogumbonyaabonya!’
25 但亚伯拉罕回复道:‘我的孩子,想想你生前享过的福,那时拉撒路过着穷苦的生活。现在他在这里过得很舒适,你就要受苦。
“Naye Ibulayimu n’amuddamu nti, ‘Mwana wange, jjukira nga mu biseera byo ng’okyali mulamu wafuna ebirungi bye weetaaganga, naye nga Laazaalo ye afuna bibi. Kaakano Laazaalo asanyusibwa naye gwe oli mu kubonaabona.
26 不仅如此,我们和你们之间还隔着一道深渊,从我这边根本无法去你那边,你们那边也无法到我们这边。’
Ate n’ekirala, wakati waffe nammwe waliwo olukonko luwanvu nnyo olutwawula, omuntu ali eno bw’ayagala okujja eyo akoma awo ku mugo gwalwo, n’oyo ali eyo ayagala okujja eno tasobola.’
27 财主说:‘我父啊,那么求你派拉撒路到我父亲的家里去,
“Awo nnaggagga n’ayaziirana nti, ‘Ayi kitange Ibulayimu, nkwegayiridde ntumira Laazaalo oyo mu maka ga kitange,
28 因为我有五个兄弟,他可以警告他们,免得他们最终也到这痛苦之地。’
kubanga nninayo abooluganda bataano, abandabulire, bwe balifa baleme kujja mu kifo kino ekirimu okubonaabona okwenkanidde wano.’
29 亚伯拉罕说:‘摩西和先知都在他们那边,你的兄弟应该听他们的。’
Naye Ibulayimu n’amugamba nti, ‘Balina Musa ne bannabbi, kale bawulire abo.’
30 财主说:‘不行啊,我父亚伯拉罕。如果出现在他们面前的人是死而复生,他们必定会悔改!’
“Omugagga n’addamu nti, ‘Nedda, kitange Ibulayimu, singa batumirwa omuntu ng’ava mu bafu, bajja kwenenya.’
31 亚伯拉罕对他说:‘如果他们不听从摩西和先知的话,就算有人死而复生,他们也不会信服。’”
“Awo Ibulayimu n’amugamba nti, ‘Obanga tebagondera Musa ne bannabbi, newaakubadde alizuukira okuva mu bafu talibakkirizisa.’”

< 路加福音 16 >